Daily Manna for Wednesday, April 7, 2021

Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.

Verse of the Day

2 Samwiri 22:1-7

22:1 Kuv 15:1; Bal 5:1; Zab 18:2-50Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo. 22:2 a Ma 32:4; Zab 71:3 b Zab 31:3; 91:2 c Zab 144:2N’ayogera nti,

Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;

22:3 a Ma 32:37; Yer 16:19 b Lub 15:1 c Luk 1:69 d Zab 9:9Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,

ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.

Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;

ggwe ondokola eri abantu ababi.

22:4 Zab 48:1; 96:4Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa,

n’andokola eri abalabe bange.

22:5 Zab 69:14-15; 93:4; Yon 2:3“Amayengo ag’okufa ganzingiza;

embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.

22:6 Zab 116:3Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;

n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.

22:7 a Zab 120:1 b Zab 34:6, 15; 116:4Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;

nakoowoola Katonda wange.

Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;

n’okukaaba kwange kwamutuukako.