
Daily Manna for Friday, January 15, 2021
Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.
Makko 3:13-19
3:13 Mat 5:1Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali. 3:14 Mak 6:30N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. 3:15 Mat 10:1N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:
3:16 Yk 1:42Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano:
Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne
Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”
Andereya,
ne Firipo,
ne Battolomaayo,
ne Matayo,
ne Tomasi,
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo
ne Saddayo,
ne Simooni, Omukananaayo,
ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.