Daily Manna for Thursday, January 14, 2021

Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.

Verse of the Day

Zabbuli 95:1-7

Zabbuli 95

95:1 a Zab 81:1 b 2Sa 22:47Mujje tuyimbire Mukama;

tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.

95:2 a Mi 6:6 b Zab 81:2; Bef 5:19Tujje mu maaso ge n’okwebaza;

tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.

95:3 a Zab 48:1; 145:3 b Zab 96:4; 97:9Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;

era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.

Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;

n’entikko z’ensozi nazo zize.

95:5 Lub 1:9; Zab 146:6Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;

n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.

95:6 a Baf 2:10 b 2By 6:13 c Zab 100:3; 149:2; Is 17:7; Dan 6:10-11; Kos 8:14Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;

tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.

95:7 Zab 74:1; 79:13Kubanga ye Katonda waffe,

naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,

era tuli ndiga ze z’alabirira.

Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,