Daily Manna for Saturday, August 1, 2020

Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.

Verse of the Day

Zabbuli 18:16-20

18:16 Zab 144:7Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,

n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.

18:17 Zab 35:10Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,

abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.

18:18 Zab 59:16Bannumba nga ndi mu buzibu,

naye Mukama n’annyamba.

18:19 a Zab 31:8 b Zab 118:5N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,

kubanga yansanyukira nnyo.

18:20 Zab 24:4Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,

ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.