Daily Manna for Thursday, November 7, 2019

Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.

Verse of the Day

Ebikolwa by’Abatume 3:22-26

Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba. Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’

“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno. Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’ Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”