Mateo 1 – NVI & LCB

Nueva Versión Internacional

Mateo 1:1-25

Los antepasados de Jesucristo

1Lista de antepasados de Jesucristo, que fue descendiente de David y de Abraham:

2Abraham fue el padre de Isaac;

Isaac, padre de Jacob;

Jacob, padre de Judá y de sus hermanos;

3Judá, padre de Fares y de Zera, cuya madre fue Tamar;

Fares, padre de Jezrón;

Jezrón, padre de Aram;

4Aram, padre de Aminadab;

Aminadab, padre de Naasón;

Naasón, padre de Salmón;

5Salmón, padre de Booz, cuya madre fue Rajab;

Booz, padre de Obed, cuya madre fue Rut;

Obed, padre de Isaí;

6e Isaí, padre del rey David.

David fue el padre de Salomón, cuya madre había sido la esposa de Urías;

7Salomón, padre de Roboán;

Roboán, padre de Abías;

Abías, padre de Asá;

8Asá, padre de Josafat;

Josafat, padre de Jorán;

Jorán, padre de Uzías;

9Uzías, padre de Jotán;

Jotán, padre de Acaz;

Acaz, padre de Ezequías;

10Ezequías, padre de Manasés;

Manasés, padre de Amón;

Amón, padre de Josías;

11y Josías, padre de Jeconías y de sus hermanos en tiempos del destierro a Babilonia.

12Después del destierro a Babilonia, la lista continúa así:

Jeconías fue el padre de Salatiel;

Salatiel, padre de Zorobabel;

13Zorobabel, padre de Abiud;

Abiud, padre de Eliaquín;

Eliaquín, padre de Azor;

14Azor, padre de Sadoc;

Sadoc, padre de Aquín;

Aquín, padre de Eliud;

15Eliud, padre de Eleazar;

Eleazar, padre de Matán;

Matán, padre de Jacob;

16y Jacob, padre de José, que fue el esposo de María, de la cual nació Jesús, llamado el Cristo.

17En total hubo catorce generaciones desde Abraham hasta David, catorce desde David hasta el destierro a Babilonia, y catorce desde el destierro hasta el Cristo.

El nacimiento de Jesucristo

18El nacimiento de Jesucristo fue así: María, su madre, estaba comprometida para casarse con José, pero, antes de unirse a él, resultó que estaba embarazada por obra del Espíritu Santo. 19Como José, su esposo, era un hombre justo y no quería exponerla a vergüenza pública, decidió divorciarse de ella en secreto.

20Pero, cuando él estaba pensando hacer esto, un ángel del Señor se le apareció en sueños. El ángel le dijo: «José, hijo de David, no temas recibir a María por esposa, porque ella ha quedado embarazada por obra del Espíritu Santo. 21Dará a luz un hijo, y le pondrás por nombre Jesús, porque él salvará a su pueblo de sus pecados».

22Todo esto sucedió para que se cumpliera lo que el Señor había dicho por medio del profeta: 23«La virgen quedará embarazada y dará a luz un hijo, y lo llamarán Emanuel» (que significa «Dios con nosotros»).

24Cuando José se despertó, hizo lo que el ángel del Señor le había mandado y recibió a María por esposa. 25Pero no tuvo relaciones íntimas con ella hasta que dio a luz un hijo, a quien le puso por nombre Jesús.

Luganda Contemporary Bible

Matayo 1:1-25

Ekitabo ky’Olulyo lwa Yesu Kristo

1Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:

2Ibulayimu yazaala Isaaka,

Isaaka n’azaala Yakobo,

Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.

3Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,

Pereezi n’azaala Kezirooni,

Kezirooni n’azaala Laamu.

4Laamu yazaala Aminadaabu,

Aminadaabu n’azaala Nasoni,

Nasoni n’azaala Salumooni.

5Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,

Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi.

Obedi n’azaala Yese.

6Yese yazaala Kabaka Dawudi.

Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.

7Sulemaani yazaala Lekobowaamu,

Lekobowaamu n’azaala Abiya,

Abiya n’azaala Asa.

8Asa n’azaala Yekosafaati,

Yekosafaati n’azaala Yolaamu,

Yolaamu n’azaala Uzziya.

9Uzziya n’azaala Yosamu,

Yosamu n’azaala Akazi,

Akazi n’azaala Keezeekiya.

10Keezeekiya n’azaala Manaase,

Manaase n’azaala Amosi,

Amosi n’azaala Yosiya.

11Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.

12Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:

Yekoniya n’azaala Seyalutyeri,

Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.

13Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,

Abiwuudi n’azaala Eriyakimu,

Eriyakimu n’azaala Azoli.

14Azoli n’azaala Zadooki,

Zadooki n’azaala Akimu,

Akimu n’azaala Eriwuudi.

15Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,

Eriyazaali n’azaala Mataani,

Mataani n’azaala Yakobo.

16Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

17Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.

Okuzaalibwa kwa Yesu

18Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. 19Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.

20Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 21Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”

22Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, 23“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”

24Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. 25Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.