Josua 16 – NUB & LCB

Swedish Contemporary Bible

Josua 16:1-10

Manasse och Efraim

1Josefs ättlingar fick ett område från floden Jordan vid Jeriko öster om Jerikos vatten genom öknen och från Jeriko upp genom bergsbygden till Betel. 2Från Betel gick gränsen mot Lus och sedan till Atarot i arkéernas område. 3Därefter gick den västerut ner till jafletéernas område ända ner till Nedre Bet-Horons område, sedan till Geser och vidare ut mot Medelhavet.

4Detta fick Josefs söner Manasse och Efraim till sin egendom.

5Detta område fick Efraims ättlingar, efter sina släkter:

Gränsen för Efraims område gick i öster från Atarot Addar till Övre Bet Horon. 6Därifrån gick den ut mot Medelhavet. Från Mikmetat i norr fortsatte den sedan förbi Taanat Shilo och vidare österut till Janoach. 7Från Janoach gick den ner till Atarot och Naara, nuddade Jeriko och gick ut vid Jordan. 8Från Tappuach gick gränsen västerut och följde Kanabäcken till Medelhavet. Detta är området som Efraims stam fick efter sina släkter. 9Efraim fick också en del av de städer som låg inom det område som tillhörde Manasses stam.

10Men efraimiterna drev inte bort de kanaanéer som bodde i Geser och därför bor de kvar bland efraimiterna än idag och utför tvångsarbete.

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 16:1-10

Omugabo gwa Yusufu, Efulayimu ne Manase

1N’omugabo gw’ettaka ly’abaana ba Yusufu ne guva ku Yoludaani awali Yeriko ku ludda olw’ebuvanjuba olw’amazzi g’e Yeriko, okutuuka mu ddungu, n’erinnya okuva e Yeriko n’eyita mu nsi ey’ensozi n’etuuka e Beseri 2N’eyita e Beseri okutuuka e Eruzi n’okuyita ku nsalo ey’Abaluki mu Atalosi 3n’okukka ku luuyi olw’ebugwanjuba ku nsalo ey’Abayafuleti ku nsalo ey’e Besukolooni eky’emmanga ku Gezeri n’ekoma ku nnyanja.

4Bwe batyo abaana ba Yusufu: Manase ne Efulayimu ne batwala omugabo gwabwe.

Omugabo gw’abaana ba Efulayimu

5Ettaka ly’abaana ba Efulayimu ng’enju zaabwe bwe zaali eno gye lyayitanga;

ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Atalosuaddali n’okutuuka ku Besukolooni ey’Ekyengulu, 6ne yeeyongera ku nnyanja ne ku Mikumesasi mu bukiikakkono ne yeetooloola ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Taanasi Siiro, n’olwebuvanjuba olw’e Yanoa, 7n’ekka ku Atalosi ne ku Naala n’ekwata ku Yeriko n’etuuka ku Yoludaani. 8N’eva ku Tappua n’eyita ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku mugga Kana n’ekoma ku nnyanja. Bino bye bitundu ekika ky’abaana ba Efulayimu bye baagabana ng’enju zaabwe bwe zaali.

9Ku bino kwaliko ebibuga n’ebyalo byakwo byonna ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu abaali mu kitundu kya Manase ebibuga byonna n’ebyalo byabwe.

10Wabula tebaagoba Bakanani abaali mu Gezeri, baasigala wakati mu Efulayimu n’okutuusa leero nga balimu ng’abaddu nga bakola.