4 Moseboken 21 – NUB & LCB

Swedish Contemporary Bible

4 Moseboken 21:1-35

Israel besegrar kungen i Arad

1När den kanaaneiske kungen i Arad i Negev hörde att Israel kom längs vägen till Atarim, anföll han dem och tog några av dem till fånga. 2Då lovade Israel Herren att om han hjälpte dem att besegra detta folk, skulle de viga deras städer åt förintelse. 3Herren hörde deras bön och lät dem besegra kanaanéerna. Israel vigde dem och deras städer åt förintelse. Efter detta kallades området Horma21:3 Betyder förstörelse, förintelse..

Kopparormen

4Sedan fortsatte de från berget Hor längs Sävhavet för att gå runt Edoms land. Folket blev otåligt 5och började protestera mot Gud och Mose. ”Varför har ni lett oss ut ur Egypten så att vi måste dö här i öknen?” gnällde de. ”Här finns ju ingenting att äta och ingenting att dricka, och vi avskyr denna smaklösa mat!”

6Då sände Herren giftiga ormar bland dem och många israeliter blev bitna och dog.

7Folket kom till Mose och sa: ”Vi syndade när vi talade mot Herren och mot dig. Be till Herren att han tar bort ormarna från oss!” Då bad Mose för folket 8och Herren sa till Mose: ”Gör dig en orm och sätt upp den på ett banér! Den som blir biten av en orm ska se på den, så får han leva.”

9Mose gjorde då en kopparorm och satte den upp på ett banér och när någon blev biten fick han leva, bara han såg på kopparormen.

10Israel vandrade därefter vidare och slog läger vid Ovot. 11Sedan fortsatte de till Ije Haavarim i öknen, inte långt från Moab som låg österut 12och därifrån vandrade de till Sereddalen där de slog läger. 13De fortsatte sedan över till andra sidan av floden Arnon till öknen nära amoréernas gräns. Floden Arnon är gränsen mellan moabiterna och amoréerna. 14Detta omtalas i ”Boken om Herrens krig”:

”Vahev i Sufa

och bäckravinerna.

Arnon, 15och bäckravinens sluttningar

som leder till landet kring Ar,

mot Moabs gräns.”

16De fortsatte till Beer, den källa där Herren sa till Mose: ”Kalla samman folket, så ska jag ge det vatten!”

17Där sjöng folket denna sång:

”Flöda, du källa!

Sjung om den,

18källan som grävdes av de förnämsta bland folket,

av furstar med spira och stav.”

De lämnade öknen och drog vidare mot Mattana, 19från Mattana till Nachaliel och därifrån till Bamot 20och från Bamot till dalen vid Moabs högslätt där man har utsikt över Jeshimon21:20 Betyder ödemark. från berget Pisga.

Israel besegrar kung Sichon

(5 Mos 2:24-37)

21Israel sände budbärare till kung Sichon, amoréernas kung:

22Låt oss få vandra genom ditt land. Vi ska inte trampa ner åkrar eller vingårdar eller dricka vatten ur källor. Vi går Kungsvägen21:22 Se not till 20:17. tills vi kommit igenom ditt område.

23Men kung Sichon inte bara vägrade Israel att tåga genom hans land, utan mobiliserade hela sin armé, anföll Israel i öknen och gav sig i strid med dem vid Jahas. 24Men Israel besegrade honom med svärd och ockuperade hans land från floden Arnon till floden Jabbok, bort till ammoniternas gräns som var befäst.

25Israel intog alla amoréernas städer och bosatte sig i dem, i Heshbon och dess lydstäder. 26Heshbon var amoréerkungen Sichons huvudstad. Han hade fört krig mot Moabs förre kung och tagit ifrån honom hela hans land ända till Arnon. 27Diktarna säger:

”Kom till Heshbon,

bygg och befäst Sichons stad,

28för en eld har flammat upp från Heshbon,

en låga från Sichons stad.

Den har förtärt Ar i Moab

och den som bodde på Arnons höjder.

29Ve dig, Moab!

Förlorat är du, Kemoshs folk.

Han har låtit sina söner fly

och sina döttrar tas till fånga

av Sichon, amoréernas kung.

30Vi har segrat.

Heshbon är ödelagt ända bort till Dibon,

ja, ända bort till Nofa och Medeba.”21:30 Versens innebörd är oklar och översättningen därför osäker.

Israel besegrar kung Og

(5 Mos 3:1-11)

31Israel bosatte sig i amoréernas land.

32Mose sände ut spejare att utforska Jasers område. Israeliterna anföll lydstäderna och drev ut de amoréer som fanns där. 33Därefter började de gå mot Bashan. Og, kungen i Bashan, mobiliserade genast sin armé för att anfalla dem vid Edrei.

34Men Herren uppmanade Mose att inte vara rädd för honom: ”Allt hans folk och hela hans land överlämnar jag åt dig. Du ska göra med honom likadant som du gjorde med amoréernas kung Sichon som härskade i Heshbon.” 35De dödade kung Og, hans söner och hela hans folk. Ingen enda överlevde och Israel ockuperade landet.

Luganda Contemporary Bible

Okubala 21:1-35

Yaladi Kizikirizibwa

1Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo, n’awulira nga Isirayiri ajjira mu kkubo lya Asalimu, n’alumba Isirayiri n’amulwanyisa n’awambamu abamu ku bo. 2Awo Isirayiri ne yeeyama eri Mukama Katonda obweyamo buno nti, “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.” 3Mukama Katonda n’awulira okwegayirira kw’Abayisirayiri, Abakanani n’abawaayo eri Abayisirayiri, ne bazikiriza ebibuga byabwe; ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma.

Omusota Ogw’Ekikomo

4Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza. 5Ne beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; n’obumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.”

6Awo Mukama n’asindikira abantu emisota emikambwe egy’obusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa. 7Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n’asabira abantu.

8Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.” 9Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu.

Olugendo Olwabatuusa mu Mowaabu

10Awo abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okutuuka mu Yebosi, ne basiisira omwo. 11Ne basitula okuva mu Yebosi ne batambula, ne basiisira mu Lye-Abalimu, mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba. 12Bwe baava awo, ne batambula okulaga mu kiwonvu kya Zeredi, ne basiisira omwo. 13Ne bava awo, ne batambula ne basiisira emitala w’omugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu n’Abamoli. 14Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo ky’Entalo za Mukama Katonda, nti,

“Zakabu ne Sufa,

n’ebiwonvu bya Alunoni, 15n’obuserengeto bw’ebiwonvu

ebituuka ku kibuga kya Ali,

ne byesigama ku nsalo ya Mowaabu.”

16Bwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi Mukama we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.”

17Isirayiri n’alyoka ayimba oluyimba luno, nti,

“Weetale, ggwe Oluzzi!

Muluyimbirire!

18Muyimbe ku luzzi abalangira lwe baasima,

abakungu n’abantu lwe baayiikuula,

abakungu, emiggo gyabwe.”

19Ne bava mu ddungu ne batambula okutuuka e Matana. Bwe baava e Matana ne balaga e Nakalieri, ne bava e Nakalieri ne balaga e Bamosi. 20Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi w’olusozi Pisuga, kw’osinziira okulengera eddungu.

Sikoni Awangulwa

21Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,

22“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”

23Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. 24Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe. 25Isirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde. 26Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.

27Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti,

“Mujje e Kesuboni kizimbibwe;

ekibuga kya Sikoni kizzibwewo.

28“Omuliro gwafuluma mu Kesuboni,

ennimi z’omuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni.

Gwayokya Ali ekya Mowaabu,

n’abatuula mu nsozi za Alunoni.

29Zikusanze, gwe Mowaabu!

Muzikirizibbwa, mmwe abantu ba Kemosi!

Batabani be abawaddeyo eri kabaka Sikoni ow’Abamoli

ne bafuuka ng’abanoonyi b’obubudamu

ne bawala be, ng’abawambe.

30“Naye tubawangudde

Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni.

Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa,

kwe kutuukira ddala ku Medeba.”

Ogi Awangulwa

31Bw’atyo Isirayiri n’atuula mu nsi y’Abamoli.

32Musa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu. 33Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei.

34Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”

35Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu21:35 Oluvannyuma lw’obuwanguzi obwo, Isirayiri yafuga ebuvanjuba bwa Yoludaani bwonna okuviira ddala mu Mowaabu okutuuka ku nsozi za Basani mu nsi y’e Kerumooni. Abayisirayiri baateranga okuyimba ennyimba n’okujaguza olw’okuwangula Sikoni ne Ogi (Zab 135:10-11; 136:19-20).. Ensi ye ne bagirya.