Књига пророка Исаије 32 – NSP & LCB

New Serbian Translation

Књига пророка Исаије 32:1-20

Царска праведност

1Ево, по правди царује цар,

праведно владају владари.

2И сваки је као заветрина,

те заклања од олује,

и он је као потоци водени у сушној земљи,

као хладовина иза велике стене у жедној пустињи.

3И очи оних који виде неће више бити замућене,

и уши оних који чују слушаће пажљиво,

4и срце брзоплетих схватиће знање,

и муцавци ће пожурити да говоре разговетно.

5Покварењака више неће звати племићем,

варалицу више неће сматрати угледним.

Ко је покварен, а ко је племенит?

6Наиме, безумник говори безумно,

и срце његово смишља безакоње,

да почини злодела,

да о Господу охоло говори,

да гладнога остави празна желуца,

да жедноме ускрати пиће.

7И варалица је наоружан злобом;

он сплетке смишља

да упропасти понизне речима лажљивим,

и сиромаха кад тражи право.

8А племић смишља племенитости,

и он племенитости остварује.

Опомена и промена

9Устајте, жене лакомислене,

почујте глас мој;

ћерке лаковерне,

послушајте беседу моју.

10Кроз годину и нешто дана

дрхтаћете, лаковерне,

јер пропада берба,

не долази жетва.

11Стрепите, лакомислене!

Дрхћите, лаковерне!

Свуците се и разголитите се,

и опашите се по бедрима.

12Ударајте се у груди и наричите за пољима љупким,

за виноградима родним.

13Над тлом народа мога

трње бодљикаво ће расти,

као и над свим домовима веселим,

насељем раздраганим.

14Јер двор је напуштен, град бучни запуштен.

Уместо насипа и куле биће пећина довека,

уживање за дивље магарце,

пашњак за стада.

15Док се на нас не излије Дух с висина,

те претвори пустињу у воћњак,

а воћњак ће се рачунати као шума.

16Тад ће у пустињи становати право,

а у воћњаку боравити праведност.

17Из праведности ће се мир родити,

а праведности ће на служби бити

поуздање и спокојство довека.

18Мој ће народ тада боравити у зградама мирним,

и у становима безбедним,

и у почивалиштима поузданим,

19иако ће шума бити оборена

и град ниско спуштен.

20Благо вама,

сејете поред свих вода,

пуштате волове и магарце.

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 32:1-20

Obwakabaka obw’Obutuukirivu

1Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,

n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.

2Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo,

ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga,

ng’emigga gy’amazzi mu ddungu,

ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.

3Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,

n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.

4Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera,

n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.

5Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa,

newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.

6Omusirusiru ayogera bya busirusiru,

n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.

Akola eby’obutatya Katonda,

era ayogera bya bulimba ku Mukama,

n’abayala abaleka tebalina kintu,

n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.

7Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.

8Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,

era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.

9Mmwe abakazi abateefiirayo,

mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;

mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,

muwulire bye ŋŋamba.

10Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,

mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,

amakungula g’emizabbibu galifa,

n’amakungula g’ebibala tegalijja.

11Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,

mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.

Muggyeko engoye zammwe,

mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.

12Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,

olw’emizabbibu egyabalanga,

13n’olw’ensi ey’abantu bange,

ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.

Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,

na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.

14Weewaawo ekigo kirirekebwawo,

ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa.

Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna,

ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,

15okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,

n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,

n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.

16Obwenkanya bulituula mu ddungu,

n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.

17Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,

n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.

18Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,

mu maka amateefu

mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.

19Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,

n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,

20ggwe oliraba omukisa,

ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,

n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.