Ezekiel 27 – NIVUK & LCB

New International Version – UK

Ezekiel 27:1-36

A lament over Tyre

1The word of the Lord came to me: 2‘Son of man, take up a lament concerning Tyre. 3Say to Tyre, situated at the gateway to the sea, merchant of peoples on many coasts, “This is what the Sovereign Lord says:

‘ “You say, Tyre,

‘I am perfect in beauty.’

4Your domain was on the high seas;

your builders brought your beauty to perfection.

5They made all your timbers

of juniper from Senir27:5 That is, Mount Hermon;

they took a cedar from Lebanon

to make a mast for you.

6Of oaks from Bashan

they made your oars;

of cypress wood27:6 Targum; the Masoretic Text has a different division of the consonants. from the coasts of Cyprus

they made your deck, adorned with ivory.

7Fine embroidered linen from Egypt was your sail

and served as your banner;

your awnings were of blue and purple

from the coasts of Elishah.

8Men of Sidon and Arvad were your oarsmen;

your skilled men, Tyre, were aboard as your sailors.

9Veteran craftsmen of Byblos were on board

as shipwrights to caulk your seams.

All the ships of the sea and their sailors

came alongside to trade for your wares.

10‘ “Men of Persia, Lydia and Put

served as soldiers in your army.

They hung their shields and helmets on your walls,

bringing you splendour.

11Men of Arvad and Helek

guarded your walls on every side;

men of Gammad

were in your towers.

They hung their shields around your walls;

they brought your beauty to perfection.

12‘ “Tarshish did business with you because of your great wealth of goods; they exchanged silver, iron, tin and lead for your merchandise.

13‘ “Greece, Tubal and Meshek did business with you; they traded human beings and articles of bronze for your wares.

14‘ “Men of Beth Togarmah exchanged chariot horses, cavalry horses and mules for your merchandise.

15‘ “The men of Rhodes27:15 Septuagint; Hebrew Dedan traded with you, and many coastlands were your customers; they paid you with ivory tusks and ebony.

16‘ “Aram27:16 Most Hebrew manuscripts; some Hebrew manuscripts and Syriac Edom did business with you because of your many products; they exchanged turquoise, purple fabric, embroidered work, fine linen, coral and rubies for your merchandise.

17‘ “Judah and Israel traded with you; they exchanged wheat from Minnith and confections,27:17 The meaning of the Hebrew for this word is uncertain. honey, olive oil and balm for your wares.

18‘ “Damascus did business with you because of your many products and great wealth of goods. They offered wine from Helbon, wool from Zahar 19and casks of wine from Izal in exchange for your wares: wrought iron, cassia and calamus.

20‘ “Dedan traded in saddle blankets with you.

21‘ “Arabia and all the princes of Kedar were your customers; they did business with you in lambs, rams and goats.

22‘ “The merchants of Sheba and Raamah traded with you; for your merchandise they exchanged the finest of all kinds of spices and precious stones, and gold.

23‘ “Harran, Kanneh and Eden and merchants of Sheba, Ashur and Kilmad traded with you. 24In your market-place they traded with you beautiful garments, blue fabric, embroidered work and multicoloured rugs with cords twisted and tightly knotted.

25‘ “The ships of Tarshish serve

as carriers for your wares.

You are filled with heavy cargo

as you sail the sea.

26Your oarsmen take you

out to the high seas.

But the east wind will break you to pieces

far out at sea.

27Your wealth, merchandise and wares,

your mariners, sailors and shipwrights,

your merchants and all your soldiers,

and everyone else on board

will sink into the heart of the sea

on the day of your shipwreck.

28The shorelands will quake

when your sailors cry out.

29All who handle the oars

will abandon their ships;

the mariners and all the sailors

will stand on the shore.

30They will raise their voice

and cry bitterly over you;

they will sprinkle dust on their heads

and roll in ashes.

31They will shave their heads because of you

and will put on sackcloth.

They will weep over you with anguish of soul

and with bitter mourning.

32As they wail and mourn over you,

they will take up a lament concerning you:

‘Who was ever silenced like Tyre,

surrounded by the sea?’

33When your merchandise went out on the seas,

you satisfied many nations;

with your great wealth and your wares

you enriched the kings of the earth.

34Now you are shattered by the sea

in the depths of the waters;

your wares and all your company

have gone down with you.

35All who live in the coastlands

are appalled at you;

their kings shudder with horror

and their faces are distorted with fear.

36The merchants among the nations scoff at you;

you have come to a horrible end

and will be no more.” ’

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 27:1-36

Okukungubagira Ttuulo

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2“Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo. 3Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti,

“Natuukirira mu bulungi.”

4Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati,

era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.

5Baakola embaawo zo zonna

mu miberosi gya Seniri,

ne baddira emivule egy’e Lebanooni

ne bakolamu omulongooti.

6Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,

n’emmanga zo, bazikola mu nzo,

ez’oku bizinga ebya Kittimu,

nga bazaaliiridde n’amasanga.

7Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,

era lyakozesebwanga ebendera;

n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu

ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.

8Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,

n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.

9Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,

era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;

ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;

nga bagula ebyamaguzi byo.

10“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti27:10 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya,

baali mu ggye lyo,

era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo

ne bakuwa ekitiibwa.

11Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe

be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;

abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo

nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,

era be baakulabisanga obulungi.

12“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.

13“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.

14“ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.

15“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.

16“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.

17“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.

18“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.

20“ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.

21“ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.

22“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.

23“ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.

25“ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi

bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.

Era wajjula n’oba n’ebintu bingi

wakati mu nnyanja.

26Abakubi b’enkasi bakutwala

awali amayengo amangi.

Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera

wakati mu nnyanja.

27Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,

n’abalunnyanja bo,

n’abagoba bo,

n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna

na buli muntu ali ku kyombo balibbira

wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.

28Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo,

kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.

29Abakubi b’enkasi bonna

balyabulira ebyombo byabwe;

n’abagoba n’abalunnyanja bonna

baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.

30Baliyimusa amaloboozi gaabwe

ne bakukaabira nnyo;

era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe

ne beevulunga mu vvu.

31Balikumwera emitwe gyabwe,

era Balyambala ebibukutu.

Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde

nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.

32Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe

nga boogera nti,

Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo

eyeetooloddwa ennyanja?

33Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja,

amawanga mangi gamalibwanga;

era ne bakabaka b’ensi

baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.

34Kaakano ennyanja ekumazeewo,

mu buziba bw’amazzi;

ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo

bonna babbidde naawe.

35Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja

bafunye ensisi,

era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa

tebafaananika mu maaso olw’entiisa.

36Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa;

otuuse ku nkomerero embi,

so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”