1 Chronicles 29 – NIVUK & LCB

New International Version – UK

1 Chronicles 29:1-30

Gifts for building the temple

1Then King David said to the whole assembly: ‘My son Solomon, the one whom God has chosen, is young and inexperienced. The task is great, because this palatial structure is not for man but for the Lord God. 2With all my resources I have provided for the temple of my God – gold for the gold work, silver for the silver, bronze for the bronze, iron for the iron and wood for the wood, as well as onyx for the settings, turquoise,29:2 The meaning of the Hebrew for this word is uncertain. stones of various colours, and all kinds of fine stone and marble – all of these in large quantities. 3Besides, in my devotion to the temple of my God I now give my personal treasures of gold and silver for the temple of my God, over and above everything I have provided for this holy temple: 4three thousand talents29:4 That is, about 100 metric tons of gold (gold of Ophir) and seven thousand talents29:4 That is, about 235 metric tons of refined silver, for the overlaying of the walls of the buildings, 5for the gold work and the silver work, and for all the work to be done by the craftsmen. Now, who is willing to consecrate themselves to the Lord today?’

6Then the leaders of families, the officers of the tribes of Israel, the commanders of thousands and commanders of hundreds, and the officials in charge of the king’s work gave willingly. 7They gave towards the work on the temple of God five thousand talents29:7 That is, about 170 metric tons and ten thousand darics29:7 That is, about 84 kilograms of gold, ten thousand talents29:7 That is, about 340 metric tons of silver, eighteen thousand talents29:7 That is, about 610 metric tons of bronze and a hundred thousand talents29:7 That is, about 3,400 metric tons of iron. 8Anyone who had precious stones gave them to the treasury of the temple of the Lord in the custody of Jehiel the Gershonite. 9The people rejoiced at the willing response of their leaders, for they had given freely and wholeheartedly to the Lord. David the king also rejoiced greatly.

David’s prayer

10David praised the Lord in the presence of the whole assembly, saying,

‘Praise be to you, Lord,

the God of our father Israel,

from everlasting to everlasting.

11Yours, Lord, is the greatness and the power

and the glory and the majesty and the splendour,

for everything in heaven and earth is yours.

Yours, Lord, is the kingdom;

you are exalted as head over all.

12Wealth and honour come from you;

you are the ruler of all things.

In your hands are strength and power

to exalt and give strength to all.

13Now, our God, we give you thanks,

and praise your glorious name.

14‘But who am I, and who are my people, that we should be able to give as generously as this? Everything comes from you, and we have given you only what comes from your hand. 15We are foreigners and strangers in your sight, as were all our ancestors. Our days on earth are like a shadow, without hope. 16Lord our God, all this abundance that we have provided for building you a temple for your Holy Name comes from your hand, and all of it belongs to you. 17I know, my God, that you test the heart and are pleased with integrity. All these things I have given willingly and with honest intent. And now I have seen with joy how willingly your people who are here have given to you. 18Lord, the God of our fathers Abraham, Isaac and Israel, keep these desires and thoughts in the hearts of your people for ever, and keep their hearts loyal to you. 19And give my son Solomon the wholehearted devotion to keep your commands, statutes and decrees and to do everything to build the palatial structure for which I have provided.’

20Then David said to the whole assembly, ‘Praise the Lord your God.’ So they all praised the Lord, the God of their fathers; they bowed down, prostrating themselves before the Lord and the king.

Solomon acknowledged as king

21The next day they made sacrifices to the Lord and presented burnt offerings to him: a thousand bulls, a thousand rams and a thousand male lambs, together with their drink offerings, and other sacrifices in abundance for all Israel. 22They ate and drank with great joy in the presence of the Lord that day.

Then they acknowledged Solomon son of David as king a second time, anointing him before the Lord to be ruler and Zadok to be priest. 23So Solomon sat on the throne of the Lord as king in place of his father David. He prospered and all Israel obeyed him. 24All the officers and warriors, as well as all of King David’s sons, pledged their submission to King Solomon.

25The Lord highly exalted Solomon in the sight of all Israel and bestowed on him royal splendour such as no king over Israel ever had before.

The death of David

26David son of Jesse was king over all Israel. 27He ruled over Israel for forty years – seven in Hebron and thirty-three in Jerusalem. 28He died at a good old age, having enjoyed long life, wealth and honour. His son Solomon succeeded him as king.

29As for the events of King David’s reign, from beginning to end, they are written in the records of Samuel the seer, the records of Nathan the prophet and the records of Gad the seer, 30together with the details of his reign and power, and the circumstances that surrounded him and Israel and the kingdoms of all the other lands.

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 29:1-30

Ebirabo eby’Okuzimba Yeekaalu

1Awo Kabaka Dawudi n’ayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gw’alonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa Mukama Katonda. 2Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo. 3Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange; 4ttani kikumi mu kkumi eza zaabu eya Ofiri, ne ttani bibiri mu nkaaga eza ffeeza omulongoosemu okugibissa ku bisenge by’ekizimbe, 5n’olw’omulimu ogwa zaabu n’ogwa ffeeza, n’omulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri Mukama?”

6Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa. 7Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, n’ebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, n’ebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olw’omulimu gwa yeekaalu ya Katonda. 8Abo abaalina amayinja ag’omuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni. 9Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini.

Essaala ya Dawudi

10Awo Dawudi n’atendereza Mukama mu lujjudde lw’abantu bonna, n’ayogera nti,

“Weebazibwe, Ayi Mukama Katonda,

Katonda wa jjajjaffe Isirayiri,

emirembe n’emirembe.

11Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi,

n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda,

kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo.

Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda,

era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.

12Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,

era ggwe ofuga ebintu byonna;

omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza

era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.

13Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza

era tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.

14“Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo. 15Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi. 16Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo. 17Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu. 18Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe. 19Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.”

20Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka.

Sulemaani Atikkirwa Okuba Kabaka

21Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ng’omwo mwe muli seddume lukumi, n’endiga ennume lukumi, n’obwana bw’endiga obulume lukumi, era n’ebiweebwayo eby’okunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna. 22Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo.

Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona. 23Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera. 24Abakungu bonna n’abasajja abazira bonna, ne batabani ba kabaka Dawudi bonna ne bawera eri kabaka Sulemaani.

25Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.

Okufa kwa Dawudi

26Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna. 27Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, n’emirala amakumi asatu n’agifugira mu Yerusaalemi. 28N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira.

29Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi, 30era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.