Psalms 52 – NIV & LCB

New International Version

Psalms 52:1-9

Psalm 52In Hebrew texts 52:1-9 is numbered 52:3-11.

For the director of music. A maskilTitle: Probably a literary or musical term of David. When Doeg the Edomite had gone to Saul and told him: “David has gone to the house of Ahimelek.”

1Why do you boast of evil, you mighty hero?

Why do you boast all day long,

you who are a disgrace in the eyes of God?

2You who practice deceit,

your tongue plots destruction;

it is like a sharpened razor.

3You love evil rather than good,

falsehood rather than speaking the truth.52:3 The Hebrew has Selah (a word of uncertain meaning) here and at the end of verse 5.

4You love every harmful word,

you deceitful tongue!

5Surely God will bring you down to everlasting ruin:

He will snatch you up and pluck you from your tent;

he will uproot you from the land of the living.

6The righteous will see and fear;

they will laugh at you, saying,

7“Here now is the man

who did not make God his stronghold

but trusted in his great wealth

and grew strong by destroying others!”

8But I am like an olive tree

flourishing in the house of God;

I trust in God’s unfailing love

for ever and ever.

9For what you have done I will always praise you

in the presence of your faithful people.

And I will hope in your name,

for your name is good.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 52:1-9

Zabbuli 52

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”

1Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?

Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.

2Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.

Olulimi lwo lwogi nga kkirita

era buli kiseera lwogera bya bulimba.

3Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,

n’okulimba okusinga okwogera amazima.

4Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.

Ggwe olulimi kalimbira!

5Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;

alikusikula, akuggye mu maka go;

alikugoba mu nsi y’abalamu.

6Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.

Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,

7“Mumulabe omusajja

ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,

naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,

ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

8Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni

ogukulira mu nnyumba ya Katonda.

Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo

emirembe n’emirembe.

9Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.

Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;

era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.