John 13 – NIV & LCB

New International Version

John 13:1-38

Jesus Washes His Disciples’ Feet

1It was just before the Passover Festival. Jesus knew that the hour had come for him to leave this world and go to the Father. Having loved his own who were in the world, he loved them to the end.

2The evening meal was in progress, and the devil had already prompted Judas, the son of Simon Iscariot, to betray Jesus. 3Jesus knew that the Father had put all things under his power, and that he had come from God and was returning to God; 4so he got up from the meal, took off his outer clothing, and wrapped a towel around his waist. 5After that, he poured water into a basin and began to wash his disciples’ feet, drying them with the towel that was wrapped around him.

6He came to Simon Peter, who said to him, “Lord, are you going to wash my feet?”

7Jesus replied, “You do not realize now what I am doing, but later you will understand.”

8“No,” said Peter, “you shall never wash my feet.”

Jesus answered, “Unless I wash you, you have no part with me.”

9“Then, Lord,” Simon Peter replied, “not just my feet but my hands and my head as well!”

10Jesus answered, “Those who have had a bath need only to wash their feet; their whole body is clean. And you are clean, though not every one of you.” 11For he knew who was going to betray him, and that was why he said not every one was clean.

12When he had finished washing their feet, he put on his clothes and returned to his place. “Do you understand what I have done for you?” he asked them. 13“You call me ‘Teacher’ and ‘Lord,’ and rightly so, for that is what I am. 14Now that I, your Lord and Teacher, have washed your feet, you also should wash one another’s feet. 15I have set you an example that you should do as I have done for you. 16Very truly I tell you, no servant is greater than his master, nor is a messenger greater than the one who sent him. 17Now that you know these things, you will be blessed if you do them.

Jesus Predicts His Betrayal

18“I am not referring to all of you; I know those I have chosen. But this is to fulfill this passage of Scripture: ‘He who shared my bread has turned13:18 Greek has lifted up his heel against me.’13:18 Psalm 41:9

19“I am telling you now before it happens, so that when it does happen you will believe that I am who I am. 20Very truly I tell you, whoever accepts anyone I send accepts me; and whoever accepts me accepts the one who sent me.”

21After he had said this, Jesus was troubled in spirit and testified, “Very truly I tell you, one of you is going to betray me.”

22His disciples stared at one another, at a loss to know which of them he meant. 23One of them, the disciple whom Jesus loved, was reclining next to him. 24Simon Peter motioned to this disciple and said, “Ask him which one he means.”

25Leaning back against Jesus, he asked him, “Lord, who is it?”

26Jesus answered, “It is the one to whom I will give this piece of bread when I have dipped it in the dish.” Then, dipping the piece of bread, he gave it to Judas, the son of Simon Iscariot. 27As soon as Judas took the bread, Satan entered into him.

So Jesus told him, “What you are about to do, do quickly.” 28But no one at the meal understood why Jesus said this to him. 29Since Judas had charge of the money, some thought Jesus was telling him to buy what was needed for the festival, or to give something to the poor. 30As soon as Judas had taken the bread, he went out. And it was night.

Jesus Predicts Peter’s Denial

31When he was gone, Jesus said, “Now the Son of Man is glorified and God is glorified in him. 32If God is glorified in him,13:32 Many early manuscripts do not have If God is glorified in him. God will glorify the Son in himself, and will glorify him at once.

33“My children, I will be with you only a little longer. You will look for me, and just as I told the Jews, so I tell you now: Where I am going, you cannot come.

34“A new command I give you: Love one another. As I have loved you, so you must love one another. 35By this everyone will know that you are my disciples, if you love one another.”

36Simon Peter asked him, “Lord, where are you going?”

Jesus replied, “Where I am going, you cannot follow now, but you will follow later.”

37Peter asked, “Lord, why can’t I follow you now? I will lay down my life for you.”

38Then Jesus answered, “Will you really lay down your life for me? Very truly I tell you, before the rooster crows, you will disown me three times!

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 13:1-38

Yesu Anaaza Abayigirizwa be Ebigere

1Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.

2Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe. 3Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda, 4n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, 5n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.

6Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”

7Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”

8Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”

9Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”

10Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.” 11Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”

12Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde? 13Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi. 14Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. 15Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze. 16Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye. 17Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola. 18Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’ 19Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize. 20Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma.”

21Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”

22Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako. 23Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu, 24Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, “Mutubuulize gw’ayogerako.”

25Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?” 26Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni. 27Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu.

Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!” 28Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo. 29Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu. 30Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.

31Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye. 32Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.

33“Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.

34“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. 35Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”

36Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?”

Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”

37Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”

38Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”