Deuteronomy 26 – NIV & LCB

New International Version

Deuteronomy 26:1-19

Firstfruits and Tithes

1When you have entered the land the Lord your God is giving you as an inheritance and have taken possession of it and settled in it, 2take some of the firstfruits of all that you produce from the soil of the land the Lord your God is giving you and put them in a basket. Then go to the place the Lord your God will choose as a dwelling for his Name 3and say to the priest in office at the time, “I declare today to the Lord your God that I have come to the land the Lord swore to our ancestors to give us.” 4The priest shall take the basket from your hands and set it down in front of the altar of the Lord your God. 5Then you shall declare before the Lord your God: “My father was a wandering Aramean, and he went down into Egypt with a few people and lived there and became a great nation, powerful and numerous. 6But the Egyptians mistreated us and made us suffer, subjecting us to harsh labor. 7Then we cried out to the Lord, the God of our ancestors, and the Lord heard our voice and saw our misery, toil and oppression. 8So the Lord brought us out of Egypt with a mighty hand and an outstretched arm, with great terror and with signs and wonders. 9He brought us to this place and gave us this land, a land flowing with milk and honey; 10and now I bring the firstfruits of the soil that you, Lord, have given me.” Place the basket before the Lord your God and bow down before him. 11Then you and the Levites and the foreigners residing among you shall rejoice in all the good things the Lord your God has given to you and your household.

12When you have finished setting aside a tenth of all your produce in the third year, the year of the tithe, you shall give it to the Levite, the foreigner, the fatherless and the widow, so that they may eat in your towns and be satisfied. 13Then say to the Lord your God: “I have removed from my house the sacred portion and have given it to the Levite, the foreigner, the fatherless and the widow, according to all you commanded. I have not turned aside from your commands nor have I forgotten any of them. 14I have not eaten any of the sacred portion while I was in mourning, nor have I removed any of it while I was unclean, nor have I offered any of it to the dead. I have obeyed the Lord my God; I have done everything you commanded me. 15Look down from heaven, your holy dwelling place, and bless your people Israel and the land you have given us as you promised on oath to our ancestors, a land flowing with milk and honey.”

Follow the Lord’s Commands

16The Lord your God commands you this day to follow these decrees and laws; carefully observe them with all your heart and with all your soul. 17You have declared this day that the Lord is your God and that you will walk in obedience to him, that you will keep his decrees, commands and laws—that you will listen to him. 18And the Lord has declared this day that you are his people, his treasured possession as he promised, and that you are to keep all his commands. 19He has declared that he will set you in praise, fame and honor high above all the nations he has made and that you will be a people holy to the Lord your God, as he promised.

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 26:1-19

Ebibala eby’Amakungula ag’Olubereberye

1Awo olulituuka bw’omalanga okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’omaze okugyefunira era ng’otebenkedde bulungi, 2oddiranga ebimu ku bibala ebibereberye by’oliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka ery’oku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye. 3Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri Mukama Katonda wo nti ntuuse mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.” 4Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo n’akitereeza mu maaso g’ekyoto kya Mukama Katonda wo. 5Kale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe26:5 Jjajja ayogerebwako wano ye Yakobo. yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo. 6Naye Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, nga batukozesa emirimu emikakanyavu. 7Bwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna. 8Bw’atyo Mukama n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo. 9Yatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10Bwe ntyo ndeese gy’oli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka ery’omu nsi gy’ompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo n’ovuunama mu maaso ge. 11Kale nno, ggwe awamu n’Abaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ng’osanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo by’anaabanga akuwadde ggwe n’amaka go gonna.

12Mu mwaka ogwokusatu bw’onoomalanga okuggyako ku makungula go ekitundu eky’ekkumi n’okissa wabbali, kubanga ogwo gwe mwaka ogw’ekitundu eky’ekkumi, onoddiranga ekitundu ekyo n’okiwa Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, ne baliiranga mu bibuga byo ne bakkuta. 13Awo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Ekitundu ekimu eky’ekkumi ekyatukuzibwa nkiggyayo mu maka gange ne nkigabira Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga byonna bye wandagira bwe biri. Sikyamyeko kuva ku biragiro byo newaakubadde okwerabira n’ekimu ku byo. 14Ekitundu ekyo sikiriddeeko nga ndi mu biseera eby’okukungubaga, wadde okukikwatako nga siri mulongoofu, era sikitoddeeko ne mpaayo eri abafu. Ŋŋondedde Mukama Katonda wange, ne nkola nga bwe yandagira. 15Otutunuulire ng’osinziira mu kifo kyo ekitukuvu gy’obeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri n’ensi gy’otuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga y’ensi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”

Mugonderenga Amateeka ga Mukama

16Mukama Katonda wo akulagira leero okugonderanga amateeka ago gonna n’ebiragiro ebyo; noolwekyo obigonderanga byonna n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna. 17Ku lunaku lwa leero oyatudde nga Mukama bw’ali Katonda wo, era nga naawe bw’onootambuliranga mu makubo ge, era ng’onookuumanga ebiragiro bye n’amateeka ge gonna, era ng’onoomugonderanga. 18Ku lunaku lwa leero Mukama alangiridde nga bw’oli owuwe, eggwanga lye ku bubwe ery’omuwendo omungi nga bwe yasuubiza, era nga ojjanga kukwatanga ebiragiro bye byonna. 19Alangiridde nga bw’anaakujjuzanga ettendo n’okwatiikirira n’ekitiibwa okusukkirira amawanga gonna ge yatonda, era ng’olibeera eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yasuubiza.