दरसन 21 – NCA & LCB

New Chhattisgarhi Translation (नवां नियम छत्तीसगढ़ी)

दरसन 21:1-27

नवां यरूसलेम

1तब मेंह एक “नवां अकास अऊ एक नवां धरती”21:1 यसायाह 65:17 देखेंव। पहिली अकास अऊ पहिली धरती दूनों लोप हो गे रिहिन, अऊ कोनो समुंदर घलो नइं रिहिस। 2अऊ मेंह पबितर सहर नवां यरूसलेम ला परमेसर के इहां ले स्‍वरग ले उतरत देखेंव। ओह अपन घरवाला खातिर दुल्हिन के सहीं सुघर सजे रहय। 3अऊ मेंह सिंघासन ले ऊंचहा अवाज म, ए कहत सुनेंव, “देखव! अब परमेसर के निवास मनखेमन के बीच हवय, अऊ ओह ओमन के संग रहिही। ओमन ओकर मनखे होहीं, अऊ परमेसर ह खुद ओमन के संग रहिही। 4ओह ओमन के आंखी के जम्मो आंसू ला पोंछही। उहां न मिरतू होही, न कोनो सोक मनाही या रोही, अऊ न ही कोनो ला कोनो किसम के पीरा होही, काबरकि पुराना बातमन खतम हो गे हवंय।”

5जऊन ह सिंघासन म बिराजे रिहिस ओह कहिस, “मेंह हर एक चीज ला नवां बनावत हवंव।” तब ओह कहिस, “एला लिख ले, काबरकि ए बात ह बिसवास लइक अऊ सत ए।”

6ओह मोला कहिस, “एह पूरा होईस। मेंह अलफा अऊ ओमेगा, आदि अऊ अंत अंव। जऊन ह पियासा हवय, ओला मेंह जिनगी के पानी के सोता म ले मुफत म पीये बर दूहूं। 7जऊन ह जय पाही, ओला ए जम्मो चीज मिलही, अऊ मेंह ओकर परमेसर होहूं, अऊ ओह मोर बेटा होही। 8पर डरपोक, अबिसवासी, दुस्‍ट, हतियारा, छिनारी करइया, जादू-टोनहा करइया, मूरती पूजा करइया अऊ जम्मो लबरामन ओ कुन्‍ड म जगह पाहीं, जऊन ह आगी अऊ गंधक ले धधकत हवय। एह दूसरा मिरतू ए।”

9तब ओ सात स्वरगदूतमन, जेमन करा सात ठन आखिरी महामारी ले भरे सात ठन कटोरा रहय, ओम ले एक झन मोर करा आईस अऊ कहिस, “आ, मेंह तोला दुल्हिन याने कि मेढ़ा-पीला के घरवाली ला देखाहूं।” 10ओ स्‍वरगदूत ह आतमा के सामरथ ले मोला एक बड़े अऊ ऊंच पहाड़ ऊपर ले गीस, अऊ ओ पबितर सहर – यरूसलेम ला देखाईस, जऊन ह स्‍वरग ले परमेसर के इहां ले उतरत रहय। 11ओह परमेसर के महिमा ले चमकत रहय अऊ ओकर चमक ह एक बहुंत महंगा पथरा – मनी सहीं एकदम साफ रहय। 12ओकर चारों कोति एक बड़े अऊ ऊंच दिवाल रहय। दिवाल म बारह ठन कपाट रहय अऊ ए कपाटमन म बारह झन स्‍वरगदूत ठाढ़े रहंय। ए कपाटमन म इसरायल के बारह गोत्र के नांव लिखाय रहय – हर कपाट म एक नांव। 13पूरब म तीन, उत्तर म तीन, दक्खिन म तीन अऊ पछिम म तीन कपाट रिहिन। 14सहर के दिवाल के बारह ठन नींव के पथरा रहय अऊ ओमन म मेढ़ा-पीला के बारह प्रेरितमन के नांव लिखाय रहय – हर पथरा म एक नांव।

15जऊन स्‍वरगदूत ह मोर ले गोठियावत रिहिस, ओकर करा सहर, ओकर कपाट अऊ दिवाल ला नापे बर नापे के सोन के एक छड़ रहय। 16ओ सहर ह चौखट्टा आकार म बसे रिहिस। ओकर लम्‍बई ह ओकर चौड़ई के बरोबर रहय। स्‍वरगदूत ह सहर ला सोन के छड़ म नापिस, त ओह करीब दू हजार दू सौ चालीस किलोमीटर निकरिस। ओकर लम्‍बई, चौड़ई अऊ ऊंचई बरोबर रिहिस। 17ओह सहर के दिवाल ला घलो नापिस। स्‍वरगदूत ह मनखे के नाप के हिसाब म नापिस, अऊ सहर के दिवाल के ऊंचई ह करीब 65 मीटर निकरिस। 18सहर के दिवाल ह मनी के बने रिहिस अऊ सहर ह चोखा सोना के बने रिहिस, जऊन ह कांच सहीं सुध रिहिस। 19सहर के दिवाल के नींव ह जम्मो किसम के कीमती पथरा ले सजे रहय। पहिली नींव ह मनी के रिहिस, दूसरा ह नीलम, तीसरा ह सुलेमानी, चौथा ह पन्ना, 20पांचवां ह गोमेदक, छठवां ह मानिक्‍य, सातवां ह पीतमनी, आठवां ह फिरोजा, नौवां ह पुखराज, दसवां ह लहसनिये, गियारहवां ह नगीना अऊ बारहवां ह नीलमनी के बने रिहिस। 21बारह कपाटमन बारह मोतीमन ले बने रिहिन। एक-एक कपाट ह एक-एक मोती के बने रिहिस। सहर के गली ह आर-पार दिखइया साफ कांच सहीं चोखा सोना के बने रिहिस।

22मेंह सहर म कोनो मंदिर नइं देखेंव, काबरकि सर्वसक्तिमान परभू परमेसर अऊ मेढ़ा-पीला एकर मंदिर अंय। 23अऊ सहर ला सूरज या चंदा के अंजोर के जरूरत नइं रिहिस, काबरकि परमेसर के महिमा ओला अंजोर देवत रिहिस अऊ मेढ़ा-पीला ओकर दीया रिहिस। 24संसार के मनखेमन ओकर अंजोर म रेंगही अऊ संसार के राजामन ओम अपन सोभा लानहीं। 25ओ सहर के कपाटमन कभू बंद नइं होही, अऊ उहां कभू रात नइं होही। 26जम्मो देस के महिमा अऊ आदर ओम लाने जाही। 27कोनो असुध चीज कभू ओ सहर म घुसरे नइं पाही अऊ न ही ओ मनखे, जऊन ह लज्‍जा के काम करथे या धोखा देवइया काम करथे; पर सिरिप ओमन घुसरे पाहीं, जेमन के नांव मेढ़ा-पीला के जिनगी के किताब म लिखाय हवय।

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 21:1-27

Yerusaalemi Ekiggya

1Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo. 2Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe. 3Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. 4Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

5Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era n’aŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”

6N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa. 7Buli awangula alifuna ebyo byonna ng’omugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. 8Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

9Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu eby’enkomerero n’ajja n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole w’Omwana gw’Endiga.” 10N’antwala ku ntikko y’olusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; n’andaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, 11nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ng’ejjinja ery’omuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja. 12Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ng’aliko emiryango kkumi n’ebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, n’amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo. 13Ku luuyi olw’ebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olw’obugwanjuba nga kuliko emiryango esatu. 14Bbugwe yaliko amayinja ag’omusingi kkumi n’abiri ag’abatume b’Omwana gw’Endiga.

15Malayika eyali ayogera nange yali akutte mu mukono gwe omuggo ogwa zaabu ogupimisibwa, apime ekibuga, emiryango gyakyo era ne bbugwe waakyo. 16Ekibuga kyali kyenkanankana enjuuyi zonna, n’obuwanvu nabwo nga bwenkana n’obugazi awamu n’obukiika. Byonna byali bipima kilomita enkumi bbiri mu ebikumi bina, buli kimu nga kyenkanankana ne kinnaakyo. 17Ate n’apima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ng’ekipimo ky’omuntu bwe kiri ng’apimye, awamu n’eky’abamalayika. 18Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n’amayinja agayesipi nga n’ekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ng’endabirwamu ennungi. 19Emisingi gya bbugwe w’ekibuga nga giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n’amayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala, 20ogwokutaano aga sadonukisi, ogw’omukaaga sadiyo, ogw’omusanvu aga kerusoliso, ogw’omunaana aga berulo, ogw’omwenda aga topazi, ogw’ekkumi aga kerusoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu aga kuwakinso, n’ogw’ekkumi n’ebiri aga amesusito. 21Ate emiryango ekkumi n’ebiri gyakolebwa n’amayinja ag’omuwendo aga luulu ennungi kkumi n’abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n’ejjinja lya luulu limu. Ate lwo oluguudo olunene olw’ekibuga lwali lwa zaabu ennungi etangalijja ng’endabirwamu.

22Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu n’Omwana gw’Endiga, bo ye yeekaalu yaakyo. 23Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. 24Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. 25Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro. 26Kirifuna ekitiibwa n’ettendo eby’amawanga. 27Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.