مزمور 51 – NAV & LCB

Ketab El Hayat

مزمور 51:1-19

الْمَزْمُورُ الْحَادِي وَالْخَمْسُونَ

لِقَائِدِ الْمُنْشِدِينَ. مَزْمُورٌ لِدَاوُدَ عِنْدَمَا جَاءَ إِلَيْهِ النَّبِيُّ نَاثَانُ بَعْدَ دُخُولِهِ إِلَى بَثْشَبَعَ.

1ارْحَمْنِي يَا اللهُ حَسَبَ رَحْمَتِكَ، وَامْحُ مَعَاصِيَّ حَسَبَ كَثْرَةِ رَأْفَتِكَ. 2اغْسِلْنِي كُلِّيًّا مِنْ إِثْمِي، وَطَهِّرْنِي مِنْ خَطِيئَتِي. 3فَإِنَّنِي أُقِرُّ بِمَعَاصِيَّ، وَخَطِيئَتِي مَاثِلَةٌ أَمَامِي دَائِماً. 4إِلَيْكَ وَحْدَكَ أَخْطَأْتُ، وَالشَّرَّ قُدَّامَ عَيْنَيْكَ صَنَعْتُ. لِكَي تَتَبَرَّرَ إِذَا حَكَمْتَ وَتَزْكُوَ إِذَا قَضَيْتَ. 5هَا إِنِّي بِالإِثْمِ قَدْ وُلِدْتُ وَفِي الْخَطِيئَةِ حَبِلَتْ بِي أُمِّي.

6هَا أَنْتَ تَرْغَبُ أَنْ تَرَى الْحَقَّ فِي دَخِيلَةِ الإِنْسَانِ، فَتُعَرِّفُنِي الْحِكْمَةَ فِي قَرَارَةِ نَفْسِي. 7طَهِّرْنِي بِالزُّوفَا فَأَتَنَقَّى. اغْسِلْنِي فَأَبْيَضَّ أَكْثَرَ مِنَ الثَّلْجِ. 8أَسْمِعْنِي صَوْتَ السُّرُورِ وَالْفَرَحِ، فَتَبْتَهِجَ عِظَامِي الَّتِي سَحَقْتَهَا. 9احْجُبْ وَجْهَكَ عَنْ خَطَايَايَ وَامْحُ كُلَّ آثَامِي.

10قَلْباً نَقِيًّا اخْلُقْ فِيَّ يَا اللهُ وَرُوحاً مُسْتَقِيماً جَدِّدْ فِي دَاخِلِي. 11لَا تَطْرُدْنِي مِنْ حَضْرَتِكَ، وَلَا تَنْزِعْ مِنِّي رُوحَكَ القُدُّوسَ. 12رُدَّ لِي بَهْجَتِي بِخَلاصِكَ، وَبِرُوحٍ رَضِيَّةٍ آزِرْنِي 13عِنْدَئِذٍ أُعَلِّمُ الأَثَمَةَ طُرُقَكَ، فَيَتُوبُ إِلَيْكَ الْخَاطِئُونَ.

14أَنْقِذْنِي مِنْ سَفْكِ الدِّمَاءِ يَا اللهُ، يَا إِلَهَ خَلاصِي، فَيُرَنِّمَ لِسَانِي بِبِرِّكَ. 15يَا رَبُّ افْتَحْ شَفَتَيَّ فَيُذِيعَ فَمِي تَسْبِيحَكَ. 16فَإِنَّكَ لَا تُسَرُّ بِذَبِيحَةٍ، وَإلَّا كُنْتُ أُقَدِّمُهَا. بِمُحْرَقَةٍ لَا تَرْضَى. 17إِنَّ الذَّبَائِحَ الَّتِي يَطْلُبُهَا اللهُ هِيَ رُوحٌ مُنْكَسِرَةٌ. فَلَا تَحْتَقِرَنَّ الْقَلْبَ الْمُنْكَسِرَ وَالْمُنْسَحِقَ يَا اللهُ.

18أَحْسِنْ إِلَى صِهْيَوْنَ بِمُقْتَضَى مَسَرَّتِكَ. وَابْنِ أَسْوَارَ أُورُشَلِيمَ. 19عِنْدَئِذٍ تَرْضَى بِذَبَائِحِ الْبِرِّ، وَمُحْرَقَةٍ وَتَقْدِمَةٍ تَامَّةٍ. حِينَئِذٍ يُقَرِّبُونَ عَلَى مَذْبَحِكَ عُجُولاً.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 51:1-19

Zabbuli 51

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

1Onsaasire, Ayi Mukama,

ggwe alina okwagala okutaggwaawo.

Olw’okusaasira kwo okungi

nziggyaako ebyonoono byange byonna.

2Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,

ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

3Ebyonoono byange mbikkiriza,

era ebibi byange mbimanyi bulijjo.

4Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,

ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;

noolwekyo by’oyogera bituufu,

era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.

5Ddala, nazaalibwa mu kibi;

kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.

6Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.

Ompe amagezi munda ddala mu nze.

7Onnaaze n’ezobu51:7 Ezobu kimera ekisangibwa mu Asiya, era kikozesebwa okutuukiriza obulombolombo obw’enjawulo okutukuzibwa, mu Baebbulaniya ntukule

onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.

8Onzirize essanyu n’okwesiima,

amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.

9Totunuulira bibi byange,

era osangule ebyonoono byange byonna.

10Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,

era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.

11Tongoba w’oli,

era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.

12Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,

era ompe omutima ogugondera by’oyagala,

13ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,

n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.

14Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,

ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;

olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.

15Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,

n’akamwa kange kanaakutenderezanga.

16Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;

n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.

17Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.

Omutima ogumenyese era oguboneredde,

Ayi Katonda, toogugayenga.

18Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.

Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.

19Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,

ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;

n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.