مزمور 119 – NAV & LCB

Ketab El Hayat

مزمور 119:1-176

الْمَزْمُورُ الْمِئَةُ وَالتَّاسِعُ عَشَرَ

أَلِفٌ

1طُوبَى لِلسَّالِكِينَ فِي طَرِيقِ الكَمَالِ، طَرِيقِ شَرِيعَةِ الرَّبِّ. 2طُوبَى لِمَنْ يَحْفَظُونَ وَصَايَا الرَّبِّ، الَّذِينَ يَطْلُبُونَهُ بِكُلِّ الْقَلْبِ، 3وَلَا يَرْتَكِبُونَ إِثْماً، إِنَّمَا فِي طُرُقِهِ يَسِيرُونَ. 4أَنْتَ أَوْصَيْتَ بِحِفْظِ وَصَايَاكَ وَالعَمَلِ بِها كُلِّهَا. 5لَيْتَكَ تُوَجِّهُ طُرُقِي لِمُمَارَسَةِ فَرَائِضِكَ. 6عِنْدَئِذٍ لَا أَخْزَى إِذَا تَأَمَّلْتُ فِي جَمِيعِ وَصَايَاكَ. 7أَحْمَدُكَ بِقَلْبٍ مُسْتَقِيمٍ لأَنِّي أَدْرَكْتُ أَحْكَامَكَ الْعَادِلَةَ. 8سَأَحْفَظُ وَصَايَاكَ، فَلَا تَتْرُكْنِي أَبَداً.

بَاءٌ

9بِمَاذَا يُزَكِّي الشَّابُّ مَسْلَكَهُ؟ بِطَاعَتِهِ لِكَلِمَتِكَ. 10لِذَلِكَ طَلَبْتُكَ بِكُلِّ قَلْبِي، فَلَا تَدَعْنِي أَضِلُّ عَنْ وَصَايَاكَ. 11خَبَأْتُ كَلامَكَ فِي قَلْبِي، لِئَلّا أُخْطِئَ إِلَيْكَ. 12مُبَارَكٌ أَنْتَ يَا رَبُّ. عَلِّمْنِي فَرَائِضَكَ. 13بِشَفَتَيَّ أَعْلَنْتُ جَمِيعَ الأَحْكَامِ الَّتِي نَطَقْتَ بِها. 14بِطَرِيقِ شَهَادَاتِكَ قَدْ سُرِرْتُ أَكْثَرَ مِنْ سُرُورِ الْحَائِزِ عَلَى كُلِّ غِنىً. 15أَتَأَمَّلُ وَصَايَاكَ، وَأَحْفَظُ سُبُلَكَ. 16بِفَرائِضِكَ أَتَلَذَّذُ، وَلَا أَنْسَى كَلِمَتَكَ.

جِيمٌ

17أَحْسِنْ إِلَيَّ أَنَا عَبْدِكَ، فَأَحْيَا وَأَعْمَلَ بِكَلِمَتِكَ. 18افْتَحْ عَيْنَيَّ فَأَرَى عَجَائِبَ مِنْ شَرِيعَتِكَ. 19غَرِيبٌ أَنَا فِي الأَرْضِ فَلَا تَحْجُبْ عَنِّي وَصَايَاكَ. 20تَتَلَهَّفُ نَفْسِي شَوْقاً إِلَى أَحْكَامِكَ دَائِماً. 21أَنْتَ تَزْجُرُ الْمُتَكَبِّرِينَ الْمَلْعُونِينَ الَّذِينَ يَضِلُّونَ عَنْ وَصَايَاكَ. 22انْتَزِعْ عَارِي وَهَوَانِي، لأَنَّنِي أُرَاعِي وَصَايَاكَ. 23جَلَسَ الرُّؤَسَاءُ وَتَآمَرُوا عَلَيَّ. أَمَّا أَنَا، عَبدَكَ، فَبَقِيتُ أَتَأَمَّلُ فِي فَرَائِضِكَ. 24وَصَايَاكَ الشَّاهِدَةُ أَيْضاً هِيَ مَسَرَّتِي، وَأَنَا أَسْتَشِيرُهَا دَائِماً.

دَالٌ

25(أَنَا يَائِسٌ) أَرْقُدُ مُلْتَصِقاً بالتُّرَابِ، فَأَحْيِنِي حَسَبَ وَعْدِكَ. 26اعْتَرَفْتُ بِمَا جَنَيْتُ فَاسْتَجَبْتَ لِي. عَلِّمْنِي فَرَائِضَكَ. 27فَهِّمْنِي طَرِيقَ أَوَامِرِكَ، فَأَتَأَمَّلَ فِي أَعْمَالِكَ الْعَجِيبَةِ. 28نَفْسِي ذَائِبَةٌ مِنَ الْحُزْنِ. قَوِّنِي بِحَسَبِ وَعْدِكَ. 29أَبْعِدْ عَنِّي طَرِيقَ الْغَوَايَةِ وَبِرَحْمَتِكَ لَقِّنِّي شَرِيعَتَكَ. 30قَدِ اخْتَرْتُ طَرِيقَ الْحَقِّ، إذْ وَضَعْتُ أَحْكَامَكَ أَمَامِي. 31الْتَزَمْتُ بِوَصَايَاكَ الشَّاهِدَةِ لَكَ يَا رَبُّ فَلَا تُخْزِنِي. 32أَجِدُّ مُسْرِعاً فِي طَرِيقِ وَصَايَاكَ، لأَنَّكَ تَشْرَحُ قَلْبِي.

هَاءٌ

33يَا رَبُّ، عَلِّمْنِي طَرِيقَ فَرَائِضِكَ فَأُرَاعِيَهَا إِلَى النِّهَايَةِ. 34أَعْطِنِي فَهْماً لأَحْفَظَ شَرِيعَتَكَ وَأَعْمَلَ بِها بِكُلِّ قَلْبِي. 35اهْدِنِي فِي سَبِيلِ وَصَايَاكَ، فَفِيهَا بَهْجَتِي. 36اجْتَذِبْ قَلْبِي نَحْوَ شَهَادَاتِكَ بَعِيداً عَنْ مَطَامِعِ الْمَالِ. 37حَوِّلْ عَيْنَيَّ عَنْ رُؤْيَةِ الْبَاطِلِ، وَفِي طَرِيقِكَ أَحْيِنِي. 38حَقِّقْ لِعَبْدِكَ قَوْلَكَ، الَّذِي وَعَدْتَ بِهِ مُتَّقِيكَ. 39أَزِلْ عَنِّي الْعَارَ الَّذِي أَخْشَاهُ، لأَنَّ أَحْكَامَكَ صَالِحَةٌ. 40هَا قَدْ رَغِبْتُ فِي وَصَايَاكَ. بِعَدْلِكَ أَحْيِنِي.

وَاوٌ

41أَنْعِمْ عَلَيَّ يَا رَبُّ بِرَحْمَتِكَ وَخَلاصِكَ حَسَبَ كَلامِكَ. 42فَأَرُدَّ عَلَى مُعَيِّرِيَّ، لأَنِّي أَثِقُ بِوَعْدِكَ. 43لَا تَنْزِعْ كَلِمَةَ الْحَقِّ مِنْ فَمِي لأَنَّ رَجَائِي فِي أَحْكَامِكَ، 44فَأَحْفَظَ شَرِيعَتَكَ دَائِماً، إِلَى الدَّهْرِ وَالأَبَدِ، 45وَأَسْلُكَ فِي رَحَابَةِ الْحُرِّيَّةِ، لأَنِّي الْتَمَسْتُ أَوَامِرَكَ. 46سَأَتَحَدَّثُ بِشَهَادَاتِكَ أَمَامَ الْمُلُوكِ وَلَا يَعْتَرِينِي الْخِزْيُ، 47وَأَتَلَذَّذُ بِوَصَايَاكَ الَّتِي أَحْبَبْتُهَا، 48وَأَرْفَعُ كَفَّيَّ إِلَى وَصَايَاكَ الَّتِي أَحْبَبْتُهَا وَأَتَأَمَّلُ فِي فَرَائِضِكَ.

زايٌ

49حَقِّقْ لِعَبْدِكَ وَعْدَكَ الَّذِي جَعَلْتَنِي أَنْتَظِرُهُ. 50وَعْدُكَ يُنْعِشُنِي إِذْ هُوَ تَعْزِيَتِي فِي ضِيقِي. 51جَاوَزَ الْمُتَكَبِّرُونَ الْحَدَّ فِي السُّخْرِيَةِ بِي، لَكِنْ عَنْ شَرِيعَتِكَ لَمْ أَمِلْ. 52تَذَكَّرْتُ أَحْكَامَكَ مُنْذُ الدَّهْرِ يَا رَبُّ، فَتَعَزَّيْتُ. 53تَوَلّانِي الْغَيْظُ مِنَ الأَشْرَارِ الَّذِينَ نَبَذُوا شَرِيعَتَكَ. 54صَارَتْ فَرَائِضُكَ تَرْنِيمَاتٍ لِي فِي أَرْضِ غُرْبَتِي. 55ذَكَرْتُ فِي اللَّيْلِ اسْمَكَ يَا رَبُّ، وَحَفِظْتُ شَرِيعَتَكَ. 56هَذَا مَا حَظِيتُ بِهِ لأَنِّي رَاعَيْتُ وَصَايَاكَ.

حَاءٌ

57أَنْتَ يَا رَبُّ نَصِيبِي، فَأَعِدُكَ بِطَاعَةِ شَرِيعَتِكَ. 58طَلَبْتُ وَجْهَكَ مِنْ كُلِّ قَلْبِي: ارْحَمْنِي حَسَبَ وَعْدِكَ. 59تَأَمَّلْتُ فِي انْحِرَافِي فَعُدْتُ وَتَحَوَّلْتُ نَحْوَ شَهَادَاتِكَ. 60أَسْرَعْتُ مِنْ غَيْرِ تَوَانٍ إِلَى الْعَمَلِ بِوَصَايَاكَ. 61قَامَ الأَشْرَارُ بِالإِيقَاعِ بِي، وَلَكِنِّي لَمْ أَنْسَ شَرِيعَتَكَ. 62أَسْتَيْقِظُ فِي مُنْتَصَفِ اللَّيْلِ لأَحْمَدَكَ مِنْ أَجْلِ أَحْكَامِكَ الْعَادِلَةِ. 63رَفِيقٌ أَنَا لِكُلِّ الَّذِينَ يَتَّقُونَكَ، وَلِحَافِظِي وَصَايَاكَ. 64رَحْمَتُكَ يَا رَبُّ قَدْ عَمَّتِ الأَرْضَ فَعَلِّمْنِي فَرَائِضَكَ.

طَاءٌ

65صَنَعْتَ خَيْراً يَا رَبُّ مَعِي أَنَا عَبْدَكَ كَمَا وَعَدْتَ. 66هَبْنِي رُوحَ تَمْيِيزٍ وَمَعْرِفَةً، لأَنِّي آمَنْتُ بِوَصَايَاكَ. 67ضَلَلْتُ قَبْلَ أَنْ أَدَّبْتَنِي، أَمَّا الآنَ فَحَفِظْتُ كَلامَكَ. 68أَنْتَ صَالِحٌ وَمُحْسِنٌ فَعَلِّمْنِي فَرَائِضَكَ. 69لَفَّقَ الْمُتَكَبِّرُونَ عَلَيَّ أَقْوَالاً كَاذِبَةً، أَمَّا أَنَا فَبِكُلِّ قَلْبِي أَحْفَظُ وَصَايَاكَ. 70غَلُظَ قَلْبُهُمْ وَتَقَسَّى، أَمَّا أَنَا فَأَتَمَتَّعُ بِشَرِيعَتِكَ. 71كَانَ مَا ذُقْتُ مِنْ هَوَانٍ لِخَيْرِي فَتَعَلَّمْتُ فَرَائِضَكَ. 72شَرِيعَةُ فَمِكَ خَيْرٌ لِي مِنْ كُلِّ ذَهَبِ الْعَالَمِ وَفِضَّتِهِ.

يَاءٌ

73يَدَاكَ صَنَعَتَانِي وَكَوَّنَتَانِي، فَهَبْنِي فَهْماً لأَتَعَلَّمَ وَصَايَاكَ. 74فَيَرَانِي مُتَّقُوكَ وَيَفْرَحُونَ، لأَنِّي انْتَظَرْتُ كَلامَكَ. 75قَدْ عَلِمْتُ يَا رَبُّ أَنَّ أَحْكَامَكَ عَادِلَةٌ، وَأَنَّكَ بِالْحَقِّ أَدَّبْتَنِي. 76فَلْتَكُنْ رَحْمَتُكَ تَعْزِيَةً لِي، بِمُقْتَضَى وَعْدِكَ لِعَبْدِكَ. 77لِتَأْتِنِي مَرَاحِمُكَ فَأَحْيَا، لأَنَّ شَرِيعَتَكَ هِيَ مُتْعَتِي. 78لِيَخْزَ الْمُتَكَبِّرُونَ لأَنَّهُمُ افْتَرَوْا عَلَيَّ زُوراً، أَمَّا أَنَا فَأَتَأَمَّلُ فِي وَصَايَاكَ. 79لِيَنْضَمَّ إِلَيَّ مُتَّقُوكَ وَعَارِفُو شَهَادَاتِكَ. 80لِيَكُنْ قَلْبِي مُتَعَلِّقاً بِكَامِلِ فَرَائِضِكَ، فَلَا أَخْزَى.

كَافٌ

81تَتَلَهَّفُ نَفْسِي إِلَى خَلاصِكَ. رَجَائِي هُوَ كَلِمَتُكَ. 82كَلَّتْ عَيْنَايَ فِي انْتِظَارِ كَلامِكَ، وَأَنَا أَقُولُ: مَتَى تُعَزِّينِي؟ 83أَصْبَحْتُ كَقِرْبَةِ خَمْرٍ أَتْلَفَتْهَا الْحَرَارَةُ وَالدُّخَانُ، وَلَكِنِّي لَمْ أَنْسَ فَرَائِضَكَ. 84كَمْ هِي أَيَّامُ عُمْرِ عَبْدِكَ؟ مَتَى تُنْزِلُ الْقَضَاءَ بِالَّذِينَ يَضْطَهِدُونَنِي؟ 85الْمُتَكَبِّرُونَ الَّذِينَ يَعْصَوْنَ شَرِيعَتَكَ حَفَرُوا لِي حُفَراً. 86وَصَايَاكَ كُلُّهَا صَادِقَةٌ. زُوراً يَضْطَهِدُونَنِي فَأَغِثْنِي. 87لَوْلَا قَلِيلٌ لأَفْنَوْنِي مِنَ الأَرْضِ، لَكِنِّي لَمْ أَتْرُكْ شَرِيعَتَكْ. 88أَحْيِنِي بِمُقْتَضَى رَحْمَتِكَ، فَأُطِيعَ شَرَائِعَكَ.

لامٌ

89يَا رَبُّ كَلِمَتُكَ تَدُومُ ثَابِتَةً فِي السَّمَاوَاتِ إِلَى الأَبَدِ. 90مِنْ جِيلٍ إِلَى جِيلٍ أَمَانَتُكَ. أَنْتَ أَسَّسْتَ الأَرْضَ فَلَنْ تَتَزَعْزَعَ. 91بِمُوْجِبِ أَحْكَامِكَ تَثْبُتُ الْيَوْمَ، لأَنَّ الْكُلَّ خُدَّامٌ لَكَ. 92لَوْ لَمْ تَكُنْ شَرِيعَتُكَ مُتْعَتِي، لَهَلَكْتُ فِي مَذَلَّتِي، 93لَنْ أَنْسَى وَصَايَاكَ أَبَداً، لأَنَّكَ بِها وَهَبْتَنِي الْحَيَاةَ. 94أَنَا لَكَ، فَخَلِّصْنِي، لأَنِّي الْتَمَسْتُ وَصَايَاكَ. 95تَرَبَّصَ بِيَ الأَشْرَارُ لِيُهْلِكُونِي، لَكِنِّي أَتَأَمَّلُ فِي شَهَادَاتِكَ. 96رَأَيْتُ لِكُلِّ كَمَالٍ حَدّاً، أَمَّا وَصِيَّتُكَ فَلَا حَدَّ لَهَا.

مِيمٌ

97كَمْ أَحْبَبْتُ شَرِيعَتَكَ، إِنَّهَا مَوْضُوعُ تَأَمُّلِي طُولَ النَّهَارِ. 98وَصِيَّتُكَ جَعَلَتْنِي أَحْكَمَ مِنْ أَعْدَائِي، لأَنَّهَا نَصِيبِي إِلَى الأَبَدِ. 99صِرْتُ أَكْثَرَ فَهْماً مِنْ مُعَلِّمِيَّ، لأَنَّ شَهَادَاتِكَ هِيَ مَوْضُوعُ تَأَمُّلِي. 100صِرْتُ أَكْثَرَ فِطْنَةً مِنَ الشُّيُوخِ، لأَنِّي رَاعَيْتُ وَصَايَاكَ. 101مَنَعْتُ قَدَمَيَّ عَنْ سُلُوكِ كُلِّ طَرِيقِ شَرٍّ، لِكَيْ أَحْفَظَ كَلامَكَ. 102لَمْ أَبْتَعِدْ عَنْ أَحْكَامِكَ لأَنَّكَ هَكَذَا عَلَّمْتَنِي. 103مَا أَحْلَى أَقْوَالَكَ لِمَذَاقِي. إِنَّهَا أَحْلَى مِنَ الْعَسَلِ فِي فَمِي. 104مِنْ وَصَايَاكَ اكْتَسَبْتُ فِطْنَةً لِذَلِكَ أَبْغَضْتُ كُلَّ طَرِيقٍ بَاطِلٍ.

نُونٌ

105سِرَاجٌ لِرِجْلِي كَلامُكَ وَنُورٌ لِسَبِيلِي. 106أَقْسَمْتُ يَمِيناً مُوَثَّقَةً أَنْ أَحْفَظَ أَحْكَامَكَ الْعَادِلَةَ. 107قَاسَيْتُ جِدّاً فَأَنْعِشْنِي يَا رَبُّ بِمُقْتَضَى وَعْدِكَ. 108تَقَبَّلْ يَا رَبُّ صَلَوَاتِ شُكْرِي، وَعَلِّمْنِي أَحْكَامَكَ. 109نَفْسِي دَائِماً فِي كَفِّي، لَكِنِّي لَا أَنْسَى شَرِيعَتَكَ. 110نَصَبَ الأَشْرَارُ لِي فَخّاً فَتَفَادَيْتُهُ لأَنِّي لَمْ أَضِلَّ عَنْ وَصَايَاكَ. 111اتَّخَذْتُ شَهَادَاتِكَ مِيرَاثاً إِلَى الأَبَدِ، لأَنَّهَا بَهْجَةُ قَلْبِي. 112لَقَدْ عَزَمْتُ أَنْ أُتَمِّمَ فَرَائِضَكَ إِلَى أَنْ أَمُوتَ.

سِينٌ

113أَبْغَضْتُ ذَوِي الرَّأْيِ الْمُتَقَلِّبِ، أَمَّا شَرِيعَتُكَ فَأَحْبَبْتُ. 114أَنْتَ مَلْجَإِي وَتُرْسِي، وَأَمَلِي فِي كَلِمَتِكَ. 115ابْتَعِدُوا عَنِّي يَا فَاعِلِي الشَّرِّ، فَأَحْفَظَ وَصَايَا إِلَهِي. 116كُنْ سَنَدِي كَمَا وَعَدْتَ، فَأَحْيَا وَلَا يَخِيبَ رَجَائِي. 117اعْضُدْنِي فَأَخْلُصَ، وَأُرَاعِيَ فَرَائِضَكَ دَائِماً. 118احْتَقَرْتَ الضَّالِّينَ عَنْ فَرَائِضِكَ، وَمَكْرُهُمْ لَا يُجْدِيهِمْ نَفْعاً. 119رَذَلْتَ جَمِيعَ أَشْرَارِ الأَرْضِ كَأَنَّهُمْ نُفَايَةٌ، لِذَلِكَ أَحْبَبْتُ شَهَادَاتِكَ. 120اقْشَعَرَّ بَدَنِي رُعْباً مِنْكَ وَجَزِعْتُ مِنْ أَحْكَامِكَ.

عَيْنٌ

121أَجْرَيْتُ قَضَاءً وَعَدْلاً، فَلَا تُسْلِمْنِي إِلَى ظَالِمِيَّ. 122كُنْ ضَامِناً لِخَيْرِ عَبْدِكَ، فَلَا يَجُورَ عَلَيَّ الْمُتَكَبِّرُونَ. 123كَلَّتْ عَيْنَايَ اشْتِيَاقاً إِلَى خَلاصِكَ وَإِلَى تَحْقِيقِ وَعْدِكَ الأَمِينِ. 124عَامِلْ عَبْدَكَ بِمُقْتَضَى رَحْمَتِكَ، وَعَلِّمْنِي فَرَائِضَكَ. 125عَبْدُكَ أَنَا، فَهَبْنِي فَهْماً لأَعْرِفَ شَهَادَاتِكَ. 126يَا رَبُّ آنَ لَكَ أَنْ تَعْمَلَ، فَقَدْ نَقَضُوا شَرِيعَتَكَ. 127لِذَلِكَ أُحِبُّ وَصَايَاكَ أَكْثَرَ مِنَ الذَّهَبِ الْخَالِصِ، 128وَلأَنِّي أَحْسِبُ كُلَّ فَرَائِضِكَ مُسْتَقِيمَةً فِي كُلِّ شَيْءٍ، أُبْغِضُ كُلَّ طَرِيقٍ بَاطِلٍ.

فَاءٌ

129مَا أَعْجَبَ شَهَادَاتِكَ. لِذَلِكَ تُرَاعِيهَا نَفْسِي. 130فَتْحُ كَلامِكَ يُنِيرُ الذِّهْنَ، وَيَهِبُ الْبُسَطَاءَ فَهْماً. 131فَغَرْتُ فَمِي لاهِثاً اشْتِيَاقاً إِلَى وَصَايَاكَ. 132الْتَفِتْ إِلَيَّ وَتَحَنَّنْ عَلَيَّ، كَمَا تَفْعَلُ دَائِماً مَعَ مُحِبِّيكَ. 133ثَبِّتْ خُطْوَاتِي فِي كَلِمَتِكَ، وَلَا تَدَعْ أَيَّ إِثْمٍ يَتَسَلَّطُ عَلَيَّ. 134حَرِّرْنِي مِنْ ظُلْمِ الإِنْسَانِ، فَأَحْفَظَ وَصَايَاكَ. 135أَضِئْ بِوَجْهِكَ عَلَى عَبْدِكَ، وَعَلِّمْنِي فَرَائِضَكَ. 136فَاضَتْ مِنْ عَيْنَيَّ يَنَابِيعُ دَمْعٍ، لأَنَّهُمْ لَمْ يُرَاعُوا شَرِيعَتَكَ.

صَادٌ

137عَادِلٌ أَنْتَ يَا رَبُّ، وَأَحْكَامُكَ مُسْتَقِيمَةٌ. 138أَصْدَرْتَ أَوَامِرَكَ بِعَدْلٍ وَبِأَقْصَى الأَمَانَةِ. 139أَتَمَيَّزُ غَيْرَةً فِي دَاخِلِي، لأَنَّ أَعْدَائِي تَغَاضَوْا عَنْ كَلامِكَ. 140أَقْوَالُكَ مُمَحَّصَةٌ نَقِيَّةٌ، وَعَبْدُكَ أَحَبَّهَا. 141صَغِيرُ الشَّأْنِ أَنَا وَحَقِيرٌ وَمَعَ ذَلِكَ لَمْ أَنْسَ وَصَايَاكَ. 142عَدْلُكَ عَدْلٌ أَبَدِيٌّ وَشَرِيعَتُكَ حَقٌّ. 143اسْتَوْلَى عَلَيَّ الضِّيقُ وَالشِّدَّةُ، وَلَا لَذَّةَ لِي إِلّا بِوَصَايَاكَ. 144شَهَادَاتُكَ عَدْلٌ إِلَى الأَبَدِ. فَهِّمْنِي إِيَّاهَا فَأَحْيَا.

قَافٌ

145صَرَخْتُ إِلَيْكَ مِنْ كُلِّ قَلْبِي، فَاسْتَجِبْ لِي يَا رَبُّ، وَسَأُرَاعِي شَرَائِعَكَ. 146إِيَّاكَ دَعَوْتُ فَخَلِّصْنِي لأُطِيعَ شَهَادَاتِكَ. 147اسْتَيْقَظْتُ قَبْلَ الْفَجْرِ وَاسْتَغَثْتُ؛ رَجَائِي فِي كَلامِكَ. 148اللَّيْلَ كُلَّهُ أَظَلُّ مُسْتَيْقِظاً، أَتَأَمَّلُ فِي أَقْوَالِكَ 149اسْتَمِعْ لِي يَا رَبُّ بِمُقْتَضَى رَحْمَتِكَ، وَأَحْيِنِي بِمُوْجِبِ أَحْكَامِكَ. 150اقْتَرَبَ مِنِّي السَّاعُونَ وَرَاءَ الرَّذِيلَةِ، الْبَعِيدُونَ عَنْ شَرِيعَتِكَ. 151إِنَّمَا أَنْتَ يَا رَبُّ أَقْرَبُ إِلَيَّ، وَوَصَايَاكَ كُلُّهَا حَقٌّ. 152مُنْذُ الْقَدِيمِ عَرَفْتُ مِنْ شَهَادَاتِكَ أَنَّكَ وَضَعْتَهَا لِتَثْبُتَ إِلَى الأَبَدِ.

رَاءٌ

153انْظُرْ إِلَى مَذَلَّتِي وَأَنْقِذْنِي، لأَنِّي لَمْ أَنْسَ شَرِيعَتَكَ. 154تَوَلَّ قَضِيَّتِي وَافْدِنِي، أَحْيِنِي حَسَبَ كَلِمَتِكَ. 155الْخَلاصُ بَعِيدٌ عَنِ الأَشْرَارِ، لأَنَّهُمْ لَا يَطْلُبُونَ فَرَائِضَكَ. 156مَا أَكْثَرَ مَرَاحِمَكَ يَا رَبُّ. أَحْيِنِي بِمُقْتَضَى أَحْكَامِكَ. 157كَثِيرُونَ هُمْ أَعْدَائِي وَمُضْطَهِدِيَّ، وَلَكِنِّي لَمْ أَحِدْ عَنْ شَهَادَاتِكَ. 158نَظَرْتُ إِلَى الْغَادِرِينَ شَزْراً، لأَنَّهُمْ لَمْ يُطِيعُوا كَلِمَتَكَ. 159انْظُرْ كَيْفَ أَحْبَبْتُ وَصَايَاكَ فَأَحْيِنِي يَا رَبُّ بِمُقْتَضَى رَحْمَتِكَ. 160كَلامُكَ بِأَسْرِهِ حَقٌّ، وَكُلُّ أَحْكَامِكَ إِلَى الأَبَدِ عَادِلَةٌ.

شِينٌ

161اضْطَهَدَنِي رُؤَسَاءُ مِنْ غَيْرِ عِلَّةٍ، لَكِنَّ قَلْبِي لَا يَهَابُ سِوَى كَلامِكَ. 162أَبْتَهِجُ بِكَلامِكَ كَبَهْجَةِ مَنْ عَثَرَ عَلَى غَنِيمَةٍ جَزِيلَةٍ. 163أَبْغَضْتُ الْكَذِبَ وَمَقَتُّهُ، أَمَّا شَرِيعَتُكَ فَأَحْبَبْتُهَا. 164سَبْعَ مَرَّاتٍ سَبَّحْتُكَ فِي النَّهَارِ عَلَى أَحْكَامِكَ الْعَادِلَةِ. 165سَلامٌ جَزِيلٌ لِمُحِبِّي شَرِيعَتِكَ، وَلَنْ يُعْثِرَهُمْ بِفَضْلِهَا شَيْءٌ 166رَجَوْتُ خَلاصَكَ يَا رَبُّ وَوَصَايَاكَ عَمِلْتُ. 167حَفِظَتْ نَفْسِي شَهَادَاتِكَ وَأَنَا أُحِبُّهَا جِدّاً. 168رَاعَيْتُ وَصَايَاكَ وَشَهَادَاتِكَ، وَجَمِيعُ أَعْمَالِي مَاثِلَةٌ أَمَامَكَ.

تَاءٌ

169لِيَصِلْ صُرَاخِي إِلَيْكَ يَا رَبُّ. هَبْنِي فَهْماً حَسَبَ كَلامِكَ. 170لِتَمْثُلْ طِلْبَتِي أَمَامَكَ. أَنْقِذْنِي بِمُوجِبِ وَعْدِكَ. 171تَفِيضُ شَفَتَايَ تَسْبِيحاً إذْ تُعَلِّمُنِي فَرَائِضَكَ. 172يَشْدُو لِسَانِي بِأَقْوَالِكَ، لأَنَّ جَمِيعَ وَصَايَاكَ عَدْلٌ. 173لِتُغِثْنِي يَدُكَ لأَنِّي اخْتَرْتُ وَصَايَاكَ. 174اشْتَقْتُ إِلَى خَلاصِكَ يَا رَبُّ؛ شَرِيعَتُكَ هِيَ مَسَرَّتِي. 175لِتَحْيَ نَفْسِي فَتُسَبِّحَكَ وَلْتَكُنْ أَحْكَامُكَ لِي عَوْناً. 176تِهْتُ كَخَرُوفٍ ضَالٍّ. فَابْحَثْ عَنْ عَبْدِكَ، فَإِنِّي لَمْ أَنْسَ وَصَايَاكَ.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 119:1-176

Zabbuli 119

א Alefu

1Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;

abatambulira mu mateeka ga Mukama.

2Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,

era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.

3Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.

4Ggwe wateekawo ebiragiro byo;

n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.

5Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;

nga nkuuma bye walagira.

6Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga

ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.

7Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,

nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.

8Nnaakwatanga amateeka go;

Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

9Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?

Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.

10Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;

tonzikiriza kuva ku mateeka go.

11Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;

ndyoke nneme okwonoona.

12Ogulumizibwe, Ayi Mukama;

onjigirize amateeka go.

13Njatula n’akamwa kange

amateeka go gonna ge walagira.

14Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,

ng’asanyukira eby’obugagga.

15Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,

ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.

16Nnaasanyukiranga amateeka go,

era siigeerabirenga.

ג Gimero

17Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,

ngobererenga ekigambo kyo.

18Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba

eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.

19Nze ndi muyise ku nsi;

tonkisa bye walagira.

20Bulijjo emmeeme yange

eyaayaanira amateeka go.

21Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,

abaleka amateeka go.

22Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;

kubanga bye walagira mbigondera.

23Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;

naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.

24Amateeka go lye ssanyu lyange,

era ge gannuŋŋamya.

ד Daleeti

25Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;

nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.

26Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;

onjigirize amateeka go.

27Njigiriza amateeka go bye gagamba,

nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.

28Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;

onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.

29Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;

olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.

30Nonzeewo okubeera omwesigwa;

ntambulire mu ebyo bye walagira.

31Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,

tondeka kuswazibwa.

32Bw’onoosumulula omutima gwange,

nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.

ה Eh

33Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;

ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.

34Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go

era ngakwate n’omutima gwange gwonna.

35Ntambuliza mu mateeka go,

kubanga mwe nsanyukira.

36Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;

so si eri eby’okufuna ebitaliimu.

37Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;

obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.

38Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,

kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.

39Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,

kubanga ebiragiro byo birungi.

40Laba, njayaanira ebiragiro byo;

onkomyewo mu butuukirivu bwo.

ו Waawu

41Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;

ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;

42ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;

kubanga neesiga kigambo kyo.

43Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;

kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.

44Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,

emirembe n’emirembe.

45Era nnaatambulanga n’emirembe,

kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.

46Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,

nga sikwatibwa nsonyi.

47Kubanga nsanyukira amateeka go,

era ngaagala.

48Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.

Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.

ז Zayini

49Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,

kubanga gwe wampa essuubi.

50Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi

kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.

51Ab’amalala banduulira obutamala,

naye nze siva ku mateeka go.

52Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,

biwummuza omutima gwange.

53Nkyawa nnyo abakola ebibi,

abaleka amateeka go.

54Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba

buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.

55Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,

ne neekuuma amateeka go.

56Olw’okukugonderanga

nfunye emikisa gyo mingi.

ח Esi

57Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;

nasuubiza okukugonderanga.

58Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,

ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.

59Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,

ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.

60Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,

so seekunya.

61Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,

naye seerabirenga mateeka go.

62Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,

olw’ebiragiro byo ebituukirivu.

63Ntambula n’abo abakutya,

abo bonna abakwata amateeka go.

64Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;

onjigirize amateeka go.

ט Teesi

65Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,

ng’ekigambo kyo bwe kiri.

66Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;

kubanga nzikiririza mu mateeka go.

67Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,

naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.

68Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;

onjigirize amateeka go.

69Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,

naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.

70Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;

naye nze nsanyukira amateeka go.

71Okubonerezebwa kwangasa,

ndyoke njige amateeka go.

72Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi

okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.

י Yoodi

73Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,

mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.

74Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,

kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

75Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,

era wali mutuufu okumbonereza.

76Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,

nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.

77Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;

kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.

78Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.

Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.

79Abo abakutya bajje gye ndi,

abategeera amateeka go.

80Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,

nneme kuswazibwa!

כ Kaafu

81Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,

essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

82Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;

ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”

83Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka119:83 Ensawo ez’eddiba eza wayini atanakaatuuka, zaawanikibwanga waggulu omukka guziyiteko, wayini akaatuuke mangu. Oluvannyuma, ensawo ey’eddiba teyakozesebwanga nate, era yasuulibwanga,

naye seerabira bye walagira.

84Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi

nga tonnabonereza abo abanjigganya?

85Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;

be bo abatagondera mateeka go.

86Amateeka go gonna geesigibwa;

abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!

87Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;

naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.

88Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,

ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.

ל Lamedi

89Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,

kya mirembe gyonna.

90Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;

watonda ensi era enyweredde ddala.

91Amateeka go na buli kati manywevu;

kubanga ebintu byonna bikuweereza.

92Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,

nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.

93Siyinza kwerabira biragiro byo;

kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.

94Ndi wuwo, ndokola,

kubanga neekuumye bye walagira.

95Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;

naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.

96Ebintu byonna biriko we bikoma

naye amateeka go tegakugirwa.

מ Meemu

97Amateeka go nga ngagala nnyo!

Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.

98Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,

kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.

99Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,

kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.

100Ntegeera okusinga abakadde;

kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.

101Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,

nsobole okugondera ekigambo kyo.

102Sivudde ku mateeka go,

kubanga ggwe waganjigiriza.

103Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!

Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.

104Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;

kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.

נ Nuuni

105Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,

era kye kimulisa ekkubo lyange.

106Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza

nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.

107Nnumizibwa nnyo;

nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.

108Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;

era onjigirize amateeka go.

109Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,

naye seerabira mateeka go.

110Abakola ebibi banteze omutego,

naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.

111Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;

weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.

112Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo

ennaku zonna ez’obulamu bwange.

ס Sameki

113Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,

naye nze njagala amateeka go.

114Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;

essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

115Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,

mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.

116Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;

nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.

117Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,

era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.

118Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;

weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.

119Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;

nze kyenva njagala ebyo bye walagira.

120Nkankana nzenna nga nkutya,

era ntya amateeka go.

ע Ayini

121Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;

tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.

122Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,

oleme kukkiriza ababi okunjooganga.

123Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo

n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.

124Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;

era onjigirize amateeka go.

125Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;

ndyoke ntegeere ebiragiro byo.

126Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,

kubanga amateeka go gamenyeddwa.

127Naye nze njagala amateeka go

okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.

128Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;

nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.

פ Pe

129Ebiragiro byo bya kitalo;

kyenva mbigondera.

130Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;

n’atategeera bulungi bimugeziwaza.

131Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja

nga njaayaanira amateeka go.

132Nkyukira, onkwatirwe ekisa,

nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.

133Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,

era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.

134Mponya okujooga kw’abantu,

bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.

135Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,

era onjigirizenga amateeka go.

136Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,

olw’abo abatakwata mateeka go.

צ Tisade

137Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,

era amateeka go matuufu.

138Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,

era byesigibwa.

139Nnyiikadde nnyo munda yange,

olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.

140Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,

kyenva mbyagala.

141Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.

142Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,

n’amateeka go ga mazima.

143Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,

amateeka go ge gansanyusa.

144Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;

onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.

ק Koofu

145Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!

Nnaagonderanga amateeka go.

146Nkukaabirira, ondokole,

nkwate ebiragiro byo.

147Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;

essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

148Seebaka ekiro kyonna

nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.

149Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,

ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.

150Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,

kyokka bali wala n’amateeka go.

151Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,

era n’amateeka go gonna ga mazima.

152Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,

nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

ר Leesi

153Tunuulira okubonaabona kwange omponye,

kubanga seerabira mateeka go.

154Ompolereze, onnunule,

onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.

155Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,

kubanga tebanoonya mateeka go.

156Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,

onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.

157Abalabe abanjigganya bangi,

naye nze siivenga ku biragiro byo.

158Nnakuwalira abo abatakwesiga,

kubanga tebakwata biragiro byo.

159Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!

Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.

160Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;

n’amateeka go ga lubeerera.

ש Sini ne Sikini

161Abafuzi banjigganyiza bwereere,

naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.

162Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana

ng’oyo afunye obugagga obungi.

163Nkyawa era ntamwa obulimba,

naye amateeka go ngagala.

164Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu

olw’amateeka go amatuukirivu.

165Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;

tewali kisobola kubeesittaza.

166Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,

era mu biragiro byo mwe ntambulira.

167Ŋŋondera ebiragiro byo,

mbyagala nnyo nnyini.

168Buli kye nkola okimanyi,

era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.

ת Taawu

169Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,

ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.

170Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,

onnunule nga bwe wasuubiza.

171Akamwa kange kanaakutenderezanga,

kubanga gw’onjigiriza amateeka go.

172Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,

kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.

173Omukono gwo gumbeerenga,

kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.

174Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,

era amateeka go lye ssanyu lyange.

175Ompe obulamu nkutenderezenga,

era amateeka go gampanirirenga.

176Ndi ng’endiga ebuze.

Onoonye omuddu wo,

kubanga seerabidde mateeka go.