عاموس 7 – NAV & LCB

Ketab El Hayat

عاموس 7:1-17

الجراد والنار وميزان البناء

1وَهَذَا مَا أَرَانِي السَّيِّدُ الرَّبُّ: هَا هُوَ يُعِدُّ أَسْرَابَ جَرَادٍ فِي بَدْءِ نُمُوِّ الأَعْشَابِ الْمُتَأَخِّرَةِ بَعْدَ أَنْ تَمَّ جَزُّ نَصِيبِ الْمَلِكِ مِنْهَا. 2وَبَعْدَ أَنْ فَرَغَ الْجَرَادُ مِنِ الْتِهَامِ عُشْبِ الأَرْضِ، قُلْتُ: «أَيُّهَا السَّيِّدُ الرَّبُّ، اصْفَحْ عَنْ شَعْبِكَ. إِذْ كَيْفَ يُمْكِنُ لِيَعْقُوبَ أَنْ يَنْهَضَ، فَإِنَّهُ صَغِيرٌ؟» 3فَعَفَا الرَّبُّ عَنْ هَذَا وَقَالَ: «لَنْ يَحْدُثَ مَا رَأَيْتَهُ».

4ثُمَّ هَذَا مَا أَرَانِي السَّيِّدُ الرَّبُّ: شَاهَدْتُ السَّيِّدَ الرَّبَّ يَدْعُو لِلْمُحَاكَمَةِ بِالنَّارِ الَّتِي لَعَقَتِ الْبَحْرَ الْعَظِيمَ فَجَفَّ، وَأَكَلَتِ الْحُقُولَ. 5عِنْدَئِذٍ قُلْتُ: «أَيُّهَا السَّيِّدُ الرَّبُّ، كُفَّ عَنْ هَذَا، إِذْ كَيْفَ يُمْكِنُ لِيَعْقُوبَ أَنْ يَنْهَضَ، فَإِنَّهُ صَغِيرٌ؟» 6فَعَفَا الرَّبُّ عَنْ هَذَا، وَقَالَ: «لَنْ يَحْدُثَ مَا رَأَيْتَهُ».

7ثُمَّ رَأَيْتُ، وَإذَا الرَّبُّ وَاقِفٌ بِجِوَارِ حَائِطٍ مَبْنِيٍّ، وَفِي يَدِهِ مِيزَانُ الْبِنَاءِ. 8فَقَالَ لِي الرَّبُّ: «يَا عَامُوسُ، مَاذَا تَرَى؟» فَأَجَبْتُ: «مِيزَانَ الْبِنَاءِ». فَقَالَ الرَّبُّ: «هَا أَنَا أَمُدُّ مِيزَانَ الْبِنَاءِ فِي وَسَطِ شَعْبِي إِسْرَائِيلَ، وَلَنْ أَعْفُوَ عَنْهُمْ. 9فَتُقْفِرُ مُرْتَفَعَاتُ إِسْحَاقَ وَيَعْتَرِي الْخَرَابُ مَقَادِسَ إِسْرَائِيلَ، وَأَثُورُ عَلَى بَيْتِ يَرُبْعَامَ بِالسَّيْفِ».

عاموس وأمصيا

10فَأَرْسَلَ أَمَصْيَا كَاهِنُ بَيْتِ إِيلَ إِلَى يَرُبْعَامَ مَلِكِ إِسْرَائِيلَ قَائِلاً: «قَدْ تَآمَرَ عَلَيْكَ عَامُوسُ فِي وَسَطِ بَيْتِ إِسْرَائِيلَ، وَلا تُطِيقُ الأَرْضُ تَحَمُّلَ كُلِّ تَنَبُّؤَاتِهِ 11لأَنَّ هَذَا مَا يَقُولُهُ عَامُوسُ: إِنَّ يَرُبْعَامَ يَمُوتُ بِحَدِّ السَّيْفِ، وَيُسْبَى إِسْرَائِيلُ بَعِيداً عَنْ دِيَارِهِ». 12ثُمَّ قَالَ أَمَصْيَا لِعَامُوسَ: «اهْرُبْ أَيُّهَا الرَّائِي إِلَى أَرْضِ يَهُوذَا، وَكُلْ خُبْزاً هُنَاكَ وَتَنَبَّأْ فِيهَا. 13أَمَّا بَيْتُ إِيلَ فَلا تَعُدْ لِلتَّنَبُّؤِ فِيهَا، لأَنَّهَا مَقْدِسُ الْمَلِكِ وَمَقَرُّ الْمَمْلَكَةِ».

14فَأَجَابَ عَامُوسُ: «أَنَا لَمْ أَكُنْ نَبِيًّا وَلا ابْنَ نَبِيٍّ، إِنَّمَا أَنَا رَاعِي غَنَمٍ وَجَانِي جُمَّيْزٍ، 15فَاصْطَفَانِي الرَّبُّ مِنْ وَرَاءِ الْغَنَمِ وَأَمَرَنِي قَائِلاً: اذْهَبْ تَنَبَّأْ لِشَعْبِي إِسْرَائِيلَ. 16لِذَلِكَ اسْمَعِ الآنَ كَلِمَةَ الرَّبِّ: أَنْتَ تَقُولُ لَا تَتَنَبَّأْ ضِدَّ إِسْرَائِيلَ وَلا تُهَاجِمْ بَيْتَ إِسْحَاقَ. 17لِهَذَا يَقُولُ الرَّبُّ: سَتُصْبِحُ امْرَأَتُكَ عَاهِرَةً فِي الْمَدِينَةِ، وَيُقْتَلُ أَبْنَاؤُكَ وَبَنَاتُكَ بِالسَّيْفِ، وَتُقْسَمُ أَرْضُكَ بِالْحَبْلِ. أَمَّا أَنْتَ فَتَمُوتُ فِي أَرْضِ الأُمَمِ الْوَثَنِيَّةِ، وَيُسْبَى إِسْرَائِيلُ إِلَى أَرْضٍ بَعِيدَةٍ عَنْ دِيَارِهِ».

Luganda Contemporary Bible

Amosi 7:1-17

Okwolesebwa ku by’Omusango

1Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja by’enzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kw’afuna omusolo. 2Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”

3Mukama bwe yawulira okukaaba kuno n’akyusa ekirowoozo kye.

N’agamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”

4Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu. 5Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”

6Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, n’akyusa ekirowoozo kye.

Era n’agamba nti, “Era n’ekyo tekijja kubeerawo.”

7Ate Mukama n’andaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe. 8Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”

Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.”

Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.

9“Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa,

n’ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo.

N’ennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa n’ekitala.”

Amosi ne Amaziya

10Awo Amaziya kabona w’e Beseri n’aweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ng’agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.” 11Bw’ati Amosi bw’ayogera nti,

“ ‘Yerobowaamu alifa kitala,

ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse

bave mu nsi yaboobwe.’ ”

12Awo Amaziya n’alyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi7:12 omulabi ye nnabbi. Ddayo mu nsi ya Yuda gy’oba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo. 13Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”

14Amosi n’amuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli. 15Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo n’aŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’ ” 16Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti,

“ ‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri,

era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’ 

17Mukama kyava akuddamu nti,

“ ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga

era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala.

Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala

naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri.

Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse,

ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’ ”