حبقوق 1 – NAV & LCB

Ketab El Hayat

حبقوق 1:1-17

شكوى حبقوق

1هَذِهِ رُؤْيَا حَبَقُّوقَ النَّبِيِّ: 2إِلَى مَتَى يَا رَبُّ أَسْتَغِيثُ وَأَنْتَ لَا تَسْتَجِيبُ؟ وَأَصْرُخُ إِلَيْكَ مُسْتَجِيراً مِنَ الظُّلْمِ وَأَنْتَ لَا تُخَلِّصُ؟ 3لِمَاذَا تُرِينِي الإِثْمَ، وَتَتَحَمَّلُ رُؤْيَةَ الظُّلْمِ؟ أَيْنَمَا تَلَفَّتُّ أَشْهَدُ أَمَامِي جَوْراً وَاغْتِصَاباً، وَيَثُورُ حَوْلِي خِصَامٌ وَنِزَاعٌ. 4لِذَلِكَ بَطَلَتِ الشَّرِيعَةُ، وَبَادَ الْعَدْلُ لأَنَّ الأَشْرَارَ يُحَاصِرُونَ الصِّدِّيقَ فَيَصْدُرُ الْحُكْمُ مُنْحَرِفاً عَنِ الْحَقِّ.

جواب الرب

5تَأَمَّلُوا الأُمَمَ وَأَبْصِرُوا. تَعَجَّبُوا وَتَحَيَّرُوا لأَنِّي مُقْبِلٌ عَلَى إِنْجَازِ أَعْمَالٍ فِي عَهْدِكُمْ إِذَا حُدِّثْتُمْ بِها لَا تُصَدِّقُونَهَا. 6فَهَا أَنَا أُثِيرُ الْكَلْدَانِيِّينَ، هَذِهِ الأُمَّةَ الْحَانِقَةَ الْمُنْدَفِعَةَ الزَّاحِفَةَ فِي رِحَابِ الأَرْضِ، لِتَسْتَوْلِيَ عَلَى مَسَاكِنَ لَيْسَتْ لَهَا. 7أُمَّةٌ مُخِيفَةٌ مُرْعِبَةٌ، تَسْتَمِدُّ حُكْمَهَا وَعَظَمَتَهَا مِنْ ذَاتِهَا. 8خُيُولُهَا أَسْرَعُ مِنَ النُّمُورِ، وَأَكْثَرُ ضَرَاوَةً مِنْ ذِئَابِ الْمَسَاءِ. فُرْسَانُهَا يَنْدَفِعُونَ بِكِبْرِيَاءَ قَادِمِينَ مِنْ أَمَاكِنَ بَعِيدَةٍ، مُتَسَابِقِينَ كَالنَّسْرِ الْمُسْرِعِ لِلانْقِضَاضِ عَلَى فَرِيسَتِهِ. 9يُقْبِلُونَ جَمِيعُهُمْ لِيَعِيثُوا فَسَاداً، وَيَطْغَى الرُّعْبُ مِنْهُمْ عَلَى قُلُوبِ النَّاسِ قَبْلَ وُصُولِهِمْ، فَيَجْمَعُونَ أَسْرَى كَالرَّمْلِ. 10يَهْزَأُونَ بِالْمُلُوكِ وَيَعْبَثُونَ بِالْحُكَّامِ. يَسْخَرُونَ مِنَ الْحُصُونِ، يُكَوِّمُونَ حَوْلَهَا تِلالاً مِنَ التُّرَابِ، وَيَسْتَوْلُونَ عَلَيْهَا. 11ثُمَّ يَجْتَاحُونَ كَالرِّيحِ وَيَرْحَلُونَ، فَقُوَّةُ هَؤُلاءِ الرِّجَالِ هِيَ إِلَهُهُمْ.

شكوى حبقوق الثانية

12أَلَسْتَ أَنْتَ مُنْذُ الأَزَلِ أَيُّهَا الرَّبُّ إِلَهِي، قُدُّوسِي؟ لِهَذَا لَنْ نَفْنَى. لَقَدْ أَقَمْتَ الْكَلْدَانِيِّينَ لِمُقَاضَاتِنَا وَاخْتَرْتَهُمْ يَا صَخْرَتِي لِتُعَاقِبَنَا. 13إِنَّ عَيْنَيْكَ أَطْهَرُ مِنْ أَنْ تَشْهَدَا الشَّرَّ، وَأَنْتَ لَا تُطِيقُ رُؤْيَةَ الظُّلْمِ، فَكَيْفَ تَحْتَمِلُ مُشَاهَدَةَ الأَثَمَةِ، وَتَصْمُتُ عِنْدَمَا يَبْتَلِعُ الْمُنَافِقُونَ مَنْ هُمْ أَبَرُّ مِنْهُمْ؟ 14وَكَيْفَ تَجْعَلُ النَّاسَ كَأَسْمَاكِ الْبَحْرِ، أَوْ كَأَسْرَابِ الْحَشَرَاتِ الَّتِي لَا قَائِدَ لَهَا؟ 15إِنَّ الْكَلْدَانِيِّينَ يَسْتَخْرِجُونَهُمْ بِالشُّصُوصِ، وَيَصْطَادُونَهُمْ بِالشَّبَكَةِ، وَيَجْمَعُونَهُمْ فِي مِصْيَدَتِهِمْ مُتَهَلِّلِينَ فَرِحِينَ. 16لِهَذَا هُمْ يُقَرِّبُونَ ذَبَائِحَ لِشِبَاكِهِمْ، وَيُحْرِقُونَ بَخُوراً لِمَصَائِدِهِمْ، لأَنَّهُمْ بِفَضْلِهَا يَتَمَتَّعُونَ بِالرَّفَاهِيَةِ وَيَتَلَذَّذُونَ بِأَطَايِبِ الطَّعَامِ. 17أَمِنْ أَجْلِ هَذَا يَظَلُّونَ يُفْرِغُونَ شِبَاكَهُمْ وَلا يَكُفُّونَ عَنْ إِهْلاكِ الأُمَمِ إِلَى الأَبَدِ؟

Luganda Contemporary Bible

Kaabakuuku 1:1-17

1Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.

Kaabakuuku Yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya

2Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira

naye nga tompuliriza?

Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”

naye n’otonnyamba?

3Lwaki ondaga obutali bwenkanya

era lwaki ogumiikiriza obukyamu?

Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,

empaka n’ennyombo byeyongede.

4Amateeka kyegavudde gatagonderwa

era n’obwenkanya ne butakolebwa.

Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,

n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.

Okuddamu kwa Mukama

5“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo.

Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe

gwe mutalikkiriza

newaakubadde nga mugubuuliddwa.

6Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya,

eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe,

ababunye ensi eno n’eri

nga bawamba amawanga agatali gaabwe.

7Ba ntiisa, batiibwa,

be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola,

nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.

8Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo,

era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro.

Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala

era bajja beesaasaanyizza

ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.

9Bajja n’eryanyi bonna,

ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu;

ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.

10Weewaawo, basekerera bakabaka

ne baduulira n’abakungu.

Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo

ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.

11Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga;

abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”

Kaabakuuku Yeemulugunya Ogwokubiri

12Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe,

ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa.

Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango.

Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.

13Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi,

so toyinza kugumiikiriza bukyamu.

Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe,

n’osirika ng’omubi amalirawo ddala

omuntu amusinga obutuukirivu?

14Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja,

ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.

15Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo,

oluusi n’abawalula mu katimba ke,

n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye

n’alyoka asanyuka n’ajaguza.

16Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke

n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane;

akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya,

n’alya emmere ey’ekigagga.

17Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe,

n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?