أيوب 37 – NAV & LCB

Ketab El Hayat

أيوب 37:1-24

1لِذَلِكَ يَرْتَعِدُ قَلْبِي وَيَثِبُ فِي مَوْضِعِهِ. 2فَأَنْصِتْ، وَأَصْغِ إِلَى زَئِيرِ صَوْتِهِ، وَإِلَى زَمْجَرَةِ فَمِهِ. 3يَسْتَلُّ بُرُوقَهُ مِنْ تَحْتِ كُلِّ السَّمَاوَاتِ وَيُرْسِلُهَا إِلَى جَمِيعِ أَقَاصِي الأَرْضِ، 4فَتُدَوِّي زَمْجَرَةُ زَئِيرِهِ، وَيُرْعِدُ بِصَوْتِ جَلالِهِ، وَحِينَ تَتَرَدَّدُ أَصْدَاؤُهُ لَا يَكْبَحُ جِمَاحَهَا شَيْءٌ. 5يُرْعِدُ اللهُ بِصَوْتِهِ صَانِعاً عَجَائِبَ وَآيَاتٍ تَفُوقُ إِدْرَاكَنَا. 6يَقُولُ لِلثَّلْجِ اهْطِلْ عَلَى الأَرْضِ، وَلِلأَمْطَارِ: انْهَمِرِي بِشِدَّةٍ. 7يُوْقِفُ كُلَّ إِنْسَانٍ عَنْ عَمَلِهِ، لِيُدْرِكَ كُلُّ النَّاسِ الَّذِينَ خَلَقَهُمْ حَقِيقَةَ قُوَّتِهِ. 8فَتَلْجَأُ الْوُحُوشُ إِلَى أَوْجِرَتِهَا، وَتَمْكُثُ فِي مَآوِيهَا. 9تُقْبِلُ الْعَاصِفَةُ مِنَ الْجَنُوبِ، وَالْبَرَدُ مِنَ الشِّمَالِ، 10مِنْ نَسَمَةِ اللهِ يَتَكَوَّنُ الْجَلِيدُ، وَتَتَجَمَّدُ بِسُرْعَةٍ الْمِيَاهُ الْغَزِيرَةُ. 11يَشْحَنُ السُّحُبَ الْمُتَكَاثِفَةَ بِالنَّدَى، وَيُبَعْثِرُ بَرْقَهُ بَيْنَهَا. 12فَتَتَحَرَّكُ كَمَا يَشَاءُ هُوَ، لِتُنَفِّذَ كُلَّ مَا يَأْمُرُهَا بِهِ عَلَى وَجْهِ الْمَسْكُونَةِ. 13يُرْسِلُهَا سَوَاءٌ لِلتَّأْدِيبِ أَوْ لأَرْضِهِ أَوْ رَحْمَةً مِنْهُ.

14فَاسْتَمِعْ إِلَى هَذَا يَا أَيُّوبُ. وَتَوَقَّفْ وَتَأَمَّلْ فِي عَجَائِبِ اللهِ. 15هَلْ تَدْرِي كَيْفَ يَتَحَكَّمُ اللهُ فِي السُّحُبِ، وَكَيْفَ يَجْعَلُ بُرُوقَهُ تُوْمِضُ؟ 16هَلْ تَعْرِفُ كَيْفَ تَتَعَلَّقُ السُّحُبُ بِتَوَازُنٍ؟ هَذِهِ الْعَجَائِبُ الصَّادِرَةُ عَنْ كَامِلِ الْمَعْرِفَةِ! 17أَنْتَ يَا مَنْ تَسْخُنُ ثِيَابُهُ عِنْدَمَا تَرِينُ سَكِينَةٌ عَلَى الأَرْضِ بِتَأْثِيرِ رِيحِ الْجَنُوبِ. 18هَلْ يُمكِنُكَ مِثْلَهُ أَنْ تُصَفِّحَ الْجَلَدَ الْمُمْتَدَّ وَكَأَنَّهُ مِرْآةٌ مَسْبُوكَةٌ؟ 19أَنْبِئْنَا مَاذَا عَلَيْنَا أَنْ نَقُولَ لَهُ، فَإِنَّنَا لَا نُحْسِنُ عَرْضَ قَضِيَّتِنَا بِسَبَبِ الظُّلْمَةِ (أَيِ الْجَهْلِ) 20هَلْ أَطْلُبُ مِنَ اللهِ أَنْ أَتَكَلَّمَ مَعَهُ؟ أَيُّ رَجُلٍ يَتَمَنَّى لِنَفْسِهِ الْهَلاكَ؟ 21لَا يَقْدِرُ أَحَدٌ أَنْ يُحَدِّقَ إِلَى النُّورِ عِنْدَمَا يَكُونُ مُتَوَهِّجاً فِي السَّمَاءِ، بَعْدَ أَنْ تَكُونَ الرِّيحُ قَدْ بَدَّدَتْ عَنْهُ السُّحُبَ. 22يُقْبِلُ مِنَ الشِّمَالِ بَهَاءٌ ذَهَبِيٌّ، إِنَّ اللهَ مُسَرْبَلٌ بِجَلالٍ مُرْهِبٍ. 23وَلا يُمْكِنُنَا إِدْرَاكُ الْقَدِيرِ، فَهُوَ مُتَعَظِّمٌ بِالْقُوَّةِ وَالْعَدْلِ وَالْبِرِّ وَلا يَجُورُ، 24لِذَلِكَ يَرْهَبُهُ الْجَمِيعُ، لأَنَّهُ يَحْتَقِرُ أَدْعِيَاءَ الْحِكْمَةِ».

Luganda Contemporary Bible

Yobu 37:1-24

1“Kino kikankanya omutima gwange,

ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.

2Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye,

n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.

3Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna,

n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.

4Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako,

abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka,

era eddoboozi lye bwe liwulirwa,

tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.

5Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo;

akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.

6Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’

ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’

7Emirimu gya buli muntu giyimirira,

buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.

8Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo,

ne zigenda zeekukuma.

9Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo,

n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.

10Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda

n’amazzi amangi ne gekwata kitole.

11Ebire abijjuza amatondo g’amazzi,

n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.

12Byetooloolatooloola nga y’abiragira,

ne bituukiriza byonna by’abiragira,

ku nsi yonna okubeera abantu.

13Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi

oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.

14“Wuliriza kino Yobu;

sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo.

15Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire,

n’aleetera eggulu okumyansa?

16Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga,

amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya?

17Ggwe alina ebyambalo ebibuguma,

ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo,

18oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu,

eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse?

19“Tubuulire kye tunaamugamba;

tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu.

20Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera?

Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?

21Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba,

olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu,

ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire.

22Mu bukiikakkono evaayo zaabu;

Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.

23Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi,

mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.

24Noolwekyo abantu bamutya,

takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”