ዘሌዋውያን 2 – NASV & LCB

New Amharic Standard Version

ዘሌዋውያን 2:1-16

የእህል ቍርባን

1“ ‘ማንኛውም ሰው የእህል ቍርባን ለእግዚአብሔር (ያህዌ) በሚያቀርብበት ጊዜ፣ ዱቄቱ የላመ ይሁን፤ ዘይት ያፍስስበት፤ ዕጣንም ይጨምርበት፤ 2ወደ ካህናቱም ወደ አሮን ልጆች ያምጣው። ካህኑ ከላመው ዱቄትና ከዘይቱ አንድ ዕፍኝ ሙሉ ያንሣለት፤ ዕጣኑንም ሁሉ ይውሰደው፤ ይህንም በእሳት የሚቀርብ፣ ሽታውም እግዚአብሔርን (ያህዌ) ደስ የሚያሰኝ መሥዋዕት አድርጎ ለመታሰቢያ በመሠዊያው ላይ ያቃጥለው። 3የተረፈውም የእህሉ ቍርባን ለአሮንና ለልጆቹ ይሰጥ፤ ይህም ለእግዚአብሔር (ያህዌ) በእሳት ከሚቀርበው ቍርባን እጅግ የተቀደሰ ክፍል ነው።

4“ ‘በማብሰያ ምድጃ የተጋገረ የእህል ቍርባን በምታቀርብበት ጊዜ፣ ከላመ ዱቄት ተዘጋጅቶ እርሾ ሳይገባበት በዘይት ተለውሶ የተጋገረ ኅብስት ይሁን፤ አለዚያም2፥4 ወይም እንዲሁም ያለ እርሾ በስሱ ተጋግሮ ዘይት የተቀባ ቂጣ ይሁን። 5የእህል ቍርባንህ በምጣድ የሚጋገር ከሆነ፣ እርሾ ሳይገባበት በዘይት ከተለወሰ ከላመ ዱቄት ይዘጋጅ። 6ቈራርሰህ ዘይት አፍስስበት፤ ይህ የእህል ቍርባን ነው። 7የእህል ቍርባንህ በመጥበሻ የሚበስል ከሆነ፣ ከላመ ዱቄትና ከዘይት ይዘጋጅ። 8በዚህ ሁኔታ የተዘጋጀውን የእህል ቍርባን ወደ እግዚአብሔር (ያህዌ) አምጥተህ ለካህኑ አስረክብ፤ ካህኑም ወደ መሠዊያው ይወስደዋል፤ 9ከእህሉም ቍርባን ላይ ለመታሰቢያ የሚሆነውን ክፍል ያነሣና በእሳት የሚቃጠል፣ ሽታውም እግዚአብሔርን (ያህዌ) ደስ የሚያሰኝ መሥዋዕት አድርጎ በመሠዊያው ላይ ያቃጥለዋል። 10የተረፈውም ቍርባን ለአሮንና ለልጆቹ ይሰጥ፤ ይህም ለእግዚአብሔር (ያህዌ) በእሳት ከሚቀርበው ቍርባን እጅግ የተቀደሰ ክፍል ነው።

11“ ‘ለእግዚአብሔር (ያህዌ) በእሳት በምታቀርቡት ቍርባን ውስጥ እርሾ ወይም ማር ጨምራችሁ ማቃጠል ስለማይገባችሁ፣ በምታቀርቡት በማንኛውም የእህል ቍርባን እርሾ አይኑርበት። 12እነዚህን የበኵራት ቍርባን አድርጋችሁ ለእግዚአብሔር (ያህዌ) ማቅረብ ትችላላችሁ፤ ነገር ግን ሽታው ደስ የሚያሰኝ ቍርባን ሆነው በመሠዊያ ላይ ለመቃጠል አይቀርቡም። 13የምታቀርበውን የእህል ቍርባን ሁሉ በጨው ቀምመው፤ የአምላክህ (ኤሎሂም) የቃል ኪዳን ጨው ከእህል ቍርባንህ አይታጣ፤ በቍርባንህም ላይ ጨው ጨምርበት።

14“ ‘የእህል በኵራት ቍርባን ለእግዚአብሔር (ያህዌ) በምታመጣበት ጊዜ፣ የተፈተገና በእሳት የተጠበሰ እሸት አቅርብ። 15ዘይት ጨምርበት፤ ዕጣንም በላዩ አስቀምጥ፤ ይህ የእህል ቍርባን ነው። 16ካህኑም ከተፈተገው እህልና ከዘይቱ ወስዶ፣ ከዕጣኑ ሁሉ ጋር ለእግዚአብሔር (ያህዌ) በእሳት የሚቀርብ መታሰቢያ አድርጎ ያቃጥል።

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 2:1-16

Etteeka ery’Ekiweebwayo eky’Empeke

1“ ‘Omuntu yenna bw’anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke; empeke anaamalanga kuzisa, n’aleeta obuwunga obulungi. Anaabufukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ateekako n’obubaane, 2n’alyoka abuleetera batabani ba Alooni, bakabona. Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, n’abwokya mu kyoto ng’ekijjukizo, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 3Obuwunga obunaasigalangawo ku kiweebwayo, bunaatwalibwanga Alooni ne batabani be, nga kye kitundu ekitukuvu ennyo eky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.

4“ ‘Bw’onooleetanga emigaati egifumbiddwa mu oveni nga kye kiweebwayo, ginaabanga emigaati egikoleddwa mu buwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni nga tegiriimu kizimbulukusa, oba bunaabanga obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 5Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kitegekeddwa ku lukalango, kinaakolebwanga mu buwunga obulungi obutaliimu kizimbulukusa nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. 6Onookimenyaamenyanga mu butundutundu, n’okifukako amafuta ag’omuzeeyituuni. Ekyo kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 7Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kyakufumbirwa mu fulampeni, kinaateekebwateekebwanga mu buwunga obulungi n’amafuta ag’omuzeeyituuni. 8Onooleeteranga Mukama ekiweebwayo ekyo eky’emmere ey’empeke ekitabuddwa mu bintu ebyo; bwe kinaakwasibwanga kabona, ye anaakireetanga ku kyoto. 9Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 10Era ekinaafikkanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, Alooni ne batabani be, be banaakitwalanga; nga kye kitundu ekitukuvu ennyo ekibalirwa ku biweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.

Ekizimbulukusa n’Omunnyo

11“ ‘Temuleeteranga Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kiteekeddwamu n’ekizimbulukusa; kubanga temuuyokyenga kizimbulukusa wadde omubisi gw’enjuki ng’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. 12Munaabireetanga eri Mukama ng’ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye, naye tebiiweerwengayo ku kyoto okubeera evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 13Ebiweebwayo byo byonna eby’emmere ey’empeke onoobirungangamu omunnyo2:13 omunnyo Omunnyo guyamba emmere obutavunda.: tokkirizanga munnyo ogw’endagaano ne Katonda wo okubula mu biweebwayo byo eby’emmere ey’empeke; mu biweebwayo byo byonna ossangamu omunnyo.

14“ ‘Bw’onooleetanga eri Mukama ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye eby’emmere ey’empeke, binaabanga ebirimba ebibisi ebibereberye eby’emmere ey’empeke nga bibetenteddwa era nga byokeddwako mu muliro. 15Onoobifukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’obiteekangako n’obubaane; ekyo nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 16Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekimaze okubetentebwa nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya; ekyo nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.