አሞጽ 4 – NASV & LCB

New Amharic Standard Version

አሞጽ 4:1-13

እስራኤል ወደ እግዚአብሔር አልተመለሰም

1እናንተ በሰማርያ ተራራ የምትኖሩ የባሳን ላሞች፤

ድኾችን የምትጨቍኑና ችግረኞችን የምታስጨንቁ፣

ባሎቻችሁንም፣ “መጠጥ አቅርቡልን”

የምትሉ ሴቶች ይህን ቃል ስሙ፤

2ጌታ እግዚአብሔር በቅድስናው እንዲህ ሲል ምሏል፤

“እነሆ፤ በመንጠቆ ተይዛችሁ የምትወሰዱበት

ትሩፋናችሁ እንኳ፣ በዓሣ መንጠቆ

የሚወሰድበት ጊዜ ይመጣል።

3እያንዳንዳችሁ በቅጥሩ በተነደለው መሽሎኪያ

ወደ ሬማንም4፥3 በተለያዩ የዕብራይስጥ ቃላት የተከፈለው የመጀመሪያው የዕብራይስጥ ቅጅ (የሰብዓ ሊቃናት ትርጕም ይመ) የጭቈና ተራራ ሆይ ራቅ ይላል። ትጣላላችሁ፤”

ይላል እግዚአብሔር

4“ወደ ቤቴል ሂዱና ኀጢአትን ሥሩ፤

ወደ ጌልገላም ሂዱና ኀጢአትን አብዙ፤

በየማለዳው መሥዋዕቶቻችሁን፣

በየሦስቱ4፥4 በየሦስቱ ቀናት ዐሥራታችሁን የሚሉ አሉ። ዓመት ዐሥራታችሁን አቅርቡ።

5እርሾ ያለበትን እንጀራ የምስጋና

መሥዋዕት አድርጋችሁ አቅርቡ፤

በፈቃዳችሁም በምታቀርቡት ቍርባን ተመኩ፤

እናንት እስራኤላውያን በእነርሱም ተኵራሩ፤ ማድረግ የምትወድዱት ይህን ነውና፤”

ይላል ጌታ እግዚአብሔር

6“በየከተማው ሆዳችሁን4፥6 ዕብራይስጡ ጥርሳችሁን አጠራለሁ ይላል። ባዶ አደረግሁት፤

በየመንደሩም የምትበሉትን

አሳጣኋችሁ፤ እናንተ ግን ወደ እኔ አልተመለሳችሁም”

ይላል እግዚአብሔር

7“መከር ሊደርስ ሦስት ወር ሲቀረውም፣

ዝናብ ከለከልኋችሁ፤

በአንዱ ከተማ ላይ አዘነብሁ፤

በሌላው ላይ ግን እንዳይዘንብ

አደረግሁ፤ አንዱ ዕርሻ ሲዘንብለት፣

ሌላው ዝናብ ዐጥቶ ደረቀ።

8ሰዎች ውሃ ፍለጋ ከከተማ ወደ ከተማ ባዘኑ፣

ይሁን እንጂ ጠጥተው አልረኩም፤

እናንተ ግን ወደ እኔ አልተመለሳችሁም፤”

ይላል እግዚአብሔር

9“የአትክልትና የወይን ቦታዎቻችሁን ብዙ ጊዜ መታሁ፤

በዋግና በአረማሞም አጠፋኋቸው፤

አንበጦችም የበለስና የወይራ ዛፎቻችሁን በሉ፤

እናንተ ግን ወደ እኔ አልተመለሳችሁም፤”

ይላል እግዚአብሔር

10“በግብፅ ላይ እንዳደረግሁት፣

መቅሠፍትን ላክሁባችሁ፤

ከተማረኩት ፈረሶቻችሁ ጋር፣

ጕልማሶቻችሁን በሰይፍ ገደልሁ፤

የሰፈራችሁ ግማት አፍንጫችሁ እንዲገባ አደረግሁ፤

እናንተ ግን ወደ እኔ አልተመለሳችሁም”

ይላል እግዚአብሔር

11“ሰዶምንና ገሞራን እንደ ገለበጥኋቸው፣

አንዳንዶቻችሁን ገለበጥሁ፤

ከእሳት እንደ ተነጠቀ ትንታግ ሆናችሁ፤

እናንተ ግን ወደ እኔ4፥11 ዕብራይስጡ አምላክ ይላል። አልተመለሳችሁም፤”

ይላል እግዚአብሔር

12“ስለዚህ እስራኤል ሆይ፤ እንደዚህ አደርግብሃለሁ፤

እንደዚህም ስለማደርግብህ፣ እስራኤል ሆይ፤

አምላክህን ለመገናኘት ተዘጋጅ።”

13ተራሮችን የሚሠራ፣

ነፋስን የሚፈጥር፣

ሐሳቡንም ለሰው የሚገልጥ፣

ንጋትን ጨለማ የሚያደርግ፣

የምድርንም ከፍታዎች የሚረግጥ፣

ስሙ የሰራዊት አምላክ እግዚአብሔር ነው።

Luganda Contemporary Bible

Amosi 4:1-13

Katonda Yeerayirira Okuzikiriza Abantu

1Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya,

mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku,

era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”

2Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti,

“Ekiseera kijja

lwe balibasika n’amalobo,

era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.

3Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe

ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe,

musuulibwe ku Kalumooni,

bw’ayogera Mukama.

4Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana;

era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi.

Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya,

n’ekimu eky’ekkumi buli myaka esatu.

5Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa,

mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire;

mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri

kubanga ekyo kye mwagala,”

bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

6“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga,

ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga,

naye era ne mugaana okudda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

7“Ne mbamma enkuba

ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke.

Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu

ne ngiziyiza mu kirala.

Yatonnyanga mu nnimiro emu,

mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.

8Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko,

naye ne gababula;

naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

9“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza.

Nabileetako obulwadde.

Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe,

naye era temwadda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

10“Nabasindikira kawumpuli

nga gwe nasindika mu Misiri.

Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala

awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.

Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo

naye era ne mugaana okudda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

11“Nazikiriza abamu ku mmwe

nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola,

ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka

naye era ne mulema okudda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

12“Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri,

era ndikwongerako ebibonoobono.

Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”

13Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi

era ye yatonda n’embuyaga

era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.

Yafuula enkya okubeera ekiro,

era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.