መዝሙር 138 – NASV & LCB

New Amharic Standard Version

መዝሙር 138:1-8

መዝሙር 138

የምስጋና መዝሙር

የዳዊት መዝሙር።

1እግዚአብሔር ሆይ፤ በፍጹም ልቤ አመሰግንሃለሁ፤

በአማልክት ፊት በመዝሙር አወድስሃለሁ።

2ወደ ቅዱስ መቅደስህ እሰግዳለሁ፤

ስለ ምሕረትህና ስለ ታማኝነትህ፣

ለስምህ ምስጋና አቀርባለሁ፤

ስምህንና ቃልህን፣

ከሁሉ በላይ ከፍ ከፍ አድርገሃልና።

3በጠራሁህ ቀን መልስ ሰጠኸኝ፤

ነፍሴን በማደፋፈርም ብርቱ አደረግኸኝ።

4እግዚአብሔር ሆይ፤ የአፍህን ቃል በሰሙ ጊዜ፣

የምድር ነገሥታት ሁሉ ያመስግኑህ።

5የእግዚአብሔር ክብር ታላቅ ነውና፣

ስለ እግዚአብሔር መንገድ ይዘምሩ።

6እግዚአብሔር በከፍታ ስፍራ ቢሆንም፣ ዝቅ ያለውን ይመለከተዋል፤

ትዕቢተኛውን ከሩቅ ያውቀዋል።

7በመከራ መካከል ብሄድም፣

አንተ ሕይወቴን ትጠብቃታለህ፤

በጠላቶቼ ቍጣ ላይ እጅህን ትዘረጋለህ፤

በቀኝ እጅህም ታድነኛለህ።

8እግዚአብሔር በእኔ ላይ ያለውን ዐላማ ይፈጽማል፤

እግዚአብሔር ሆይ፤ ምሕረትህ ለዘላለም ነው።

የእጅህንም ሥራ ቸል አትበል።

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 138:1-8

Zabbuli 138

Zabbuli Ya Dawudi.

1Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;

ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.

2Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,

ne ntendereza erinnya lyo

olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;

kubanga wagulumiza ekigambo kyo

n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.

3Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;

n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

4Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,

nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.

5Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;

kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

6Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,

naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.

7Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,

naye ggwe okuuma obulamu bwange;

ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,

era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.

8Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;

kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.

Tolekulira ebyo bye watonda.