New Amharic Standard Version

ዕዝራ 10:1-44

ሕዝቡ ኀጢአቱን ተናዘዘ

1ዕዝራ በእግዚአብሔር ቤት ፊት ወድቆ በሚጸልይበት፣ በሚናዘዝበትና በሚያለቅስበት ጊዜ ወንዶች፣ ሴቶችና ልጆች የሚገኙበት እጅግ ብዙ የእስራኤል ማኅበር በዙሪያው ተሰበሰበ፤ እነርሱም እንደዚሁ አምርረው አለቀሱ። 2ከዚያም ከኤላም ዘሮች አንዱ የሆነው የይሒኤል ልጅ ሴኬንያ ዕዝራን እንዲህ አለው፤ “በዙሪያችን ካሉት አሕዛብ፣ ባዕዳን ሴቶችን በማግባታችን ለአምላካችን ታማኞች ሆነን አልተገኘንም፤ ይህም ሆኖ አሁንም ለእስራኤል ተስፋ አለ። 3አሁንም እንደ ጌታዬ ምክርና የአምላካችንን ትእዛዝ እንደሚፈሩ ሰዎች እነዚህን ሴቶችና ልጆቻቸውን ለመስደድ በአምላካችን ፊት ቃል ኪዳን እንግባ፤ በሕጉም መሠረት ይፈጸም። 4ዕዝራ፣ ነገሩ በእጅህ ነው፤ ተነሥ! እኛም እንደግፍሃለን፤ በርትተህም፤ አድርገው።”

5ዕዝራም ተነሥቶ ዋና ዋናዎቹ ካህናት፣ ሌዋውያንና እስራኤል ሁሉ የቀረበውን ሐሳብ እንዲፈጽሙ አስማላቸው፤ እነርሱም ማሉ። 6ከዚያም ዕዝራ ከእግዚአብሔር ቤት ፊት ተነሥቶ ወደ ኤልያሴብ ልጅ ወደ ዮሐናን ክፍል ገባ፤ ምርኮኞቹ ታማኞች ሆነው ባለ መገኘታቸው ያለቅስ ነበር፤ በዚያም ምግብ አልቀመሰም፤ ውሃም አልጠጣም።

7ከዚያም ምርኮኞቹ ሁሉ በኢየሩሳሌም እንዲሰበሰቡ በይሁዳና በኢየሩሳሌም ዐዋጅ ተነገረ፤ 8ዐዋጁም በሦስት ቀን ውስጥ ያልመጣ ማንም ሰው በሹማምቱና በሽማግሌዎቹ ውሳኔ መሠረት ንብረቱ ሁሉ እንዲወረስ፣ ራሱም ከምርኮኞቹ ጉባኤ እንዲወገድ የሚያዝ ነበር።

9ስለዚህ በሦስት ቀን ውስጥ የይሁዳና የብንያም ሰዎች ሁሉ በኢየሩሳሌም ተሰበሰቡ፤ በዘጠነኛው ወር በሃያኛውም ቀን ሕዝቡ ሁሉ ስለ ወቅቱ ጒዳይና ስለ ከባዱ ዝናብ በመጨነቅ በእግዚአብሔር ቤት ፊት ባለው አደባባይ ተቀምጠው ነበር። 10ከዚያም ካህኑ ዕዝራ ተነሥቶ እንዲህ አላቸው፤ “እናንተ ታማኞች አልነበራችሁም፤ በእስራኤል በደል ላይ በደል በመጨመር ባዕዳን ሴቶችን አገባችሁ። 11አሁንም ለአባቶቻችሁ አምላክ ለእግዚአብሔር ተናዘዙ፤ ፈቃዱን ፈጽሙ፤ በዙሪያችሁ ካሉት አሕዛብና ከባዕዳን ሚስቶቻችሁ ተለዩ።”

12ጉባኤውም ሁሉ እንዲህ ሲሉ በታላቅ ድምፅ መለሱ፤ “እውነት ብለሃል፤ ያልኸውን መፈጸም ይገባናል። 13ይሁን እንጂ በዚህ የተሰበሰበው ሕዝብ ብዙ ነው፤ ወቅቱም ክረምት ነው፤ ስለዚህ ውጭ መቆም አንችልም፤ ከዚህም በላይ በዚህ ነገር ብዙ ኀጢአት ስለ ሠራን፣ ይህ ጒዳይ በአንድና በሁለት ቀን የሚያልቅ አይደለም። 14ስለዚህ ሹሞቻችን በማኅበሩ ሁሉ ምትክ መደረግ ያለበትን ያድርጉ። ከዚያም በዚህ የተነሣ የመጣው የአምላካችን ብርቱ ቊጣ ከእኛ እስኪመለስ ድረስ፣ በየከተሞቻችን ያሉ ባዕዳን ሴቶችን ያገቡ ሁሉ በየከተማው ካሉት ሽማግሌዎችና ዳኞች ጋር በተወሰነው ቀን ይምጡ።” 15ይህንንም ነገር የተቃወሙት ከሜሱላምና ከሌዋዊው ከሳባታይ ድጋፍ ያገኙት የአሣሄል ልጅ ዮናታንና የቴቁዋ ልጅ የሕዝያ ብቻ ናቸው።

16ስለዚህ ምርኮኞቹ እንደ ተባለው አደረጉ፤ ካህኑ ዕዝራም ከእያንዳንዱ የቤተ ሰብ ምድብ አንዳንድ የቤተ ሰብ ኀላፊ የሆነ ሰው መረጠ፤ ሁሉም በየስማቸው ተመዘገቡ። ከዚያም በዐሥረኛው ወር በመጀመሪያው ቀን ጒዳዩን ለመመርመር ተቀመጡ፤ 17በመጀመሪያው ወር በመጀመሪያው ቀን ባዕዳን ሴቶችን ያገቡትን ወንዶች ሁሉ አጣርተው ጨረሱ።

ከባዕዳን ሴቶች ጋር የተጋቡት ሰዎች

18ከካህናት ዘሮች መካከል ባዕዳን ሴቶችን ያገቡት ከዚህ የሚከተሉት ናቸው፤

ከኢዮሴዴቅ ልጅ ከኢያሱ ዘሮችና ከወንድሞቹ መካከል፤ መዕሤያ፣ አልዓዛር፣ ያሪብና ጎዶልያስ። 19እነዚህ ሁሉ ሚስቶቻቸውን ለመፍታት ቃል በመግባት እጃቸውን ሰጡ፤ ስለ በደላቸውም እያንዳንዳቸው ከመንጋው አንዳንድ አውራ በግ ለበደል መሥዋዕት አቀረቡ።

20ከኢሜር ዘሮች፤

አናኒና ዝባድያ።

21ከካሪም ዘሮች፤

መዕሤያ፣ ኤልያስ፣ ሸማያ፣ ይሒኤልና ዖዝያ።

22ከፋስኩር ዘሮች፤

ኤልዮዔናይ፣ መዕሤያ፣ ይስማኤል፣ ናትናኤል፣ ዮዛባትና ኤልዓሣ።

23ከሌዋውያኑም መካከል፤

ዮዛባት፣ ሰሜኢ፣ ቆሊጣስ የሚባል ቆልያ፣ ፈታያ፣ ይሁዳ፣ አልዓዛር።

24ከመዘምራኑም መካከል፤

ኤልያሴብ።

ከበር ጠባቂቹም፣

ሰሎም፣ ጤሌም፣ ኡሪ።

25ከሌሎቹ እስራኤላውያን መካከል፤

ከፋሮስ ዘሮች፤ ራምያ፣ ይዝያ፣ መልክያ፣

ሚያሚን፣ አልዓዛር፣ መልክያና በናያስ።

26ከኤላም ዘሮች፤

መታንያ፣ ዘካርያስ፣ ይሒኤል፣ አብዲ፣ ይሬሞትና ኤልያ።

27ከዛቱዕ ዘሮች፤

ዒሊዮዔናይ፣ ኢልያሴብ፣ መታንያ፣ ይሬሞት፣ ዛባድና ዓዚዛ።

28ከቤባይ ዘሮች፤

ይሆሐናን፣ ሐናንያ፣ ዛባይና አጥላይ።

29ከባኒ ዘሮች፤

ሜሱላም፣ መሉክ፣ ዓዳያ፣ ያሱብ፣ ሸዓልና ራሞት።

30ከፈሐት ሞዓብ ዘሮች፤

ዓድና፣ ክላል፣ በናያስ፣ መዕሤያ፣ መታንያ፣ ባስልኤል፣ ቢንዊና ምናሴ።

31ከካሪም ዘሮች፤

አልዓዛር፣ ይሺያ፣ መልክያ፣ ሸማያ፣ ስምዖን፣ 32ብንያም፣ መሉክና ሰማራያ።

33ከሐሱም ዘሮች፤

መትናይ፣ መተታ፣ ዛባድ፣ ኤሊፋላት፣ ይሬማይ፣ ምናሴና ሰሜኢ።

34ከባኒ ዘሮች፤

መዕዳይ፣ ዓምራም፣ ኡኤል፣ 35በናያስ፣ ቤድያ፣ ኬልቅያ፣ 36ወንያ፣ ሜሪሞት፣ ኤልያሴብ፣ 37መታንያ፣ መትናይና የዕሡ።

38ከቢንዊ ዘሮች፤

ሰሜኢ10፥37-38 የሰብዓ ሊቃናት ትርጒም (እንዲሁም መጽሐፈ ዕዝራ ሱቱኤል 9፥34) ይመ፤ ዕብራይስጡ ግን፣ የዕሡ፣ ባኒና ቤኑዊ ይላል።39ሰሌምያ፣ ናታን፣ ዓዳያ፣

40መክነድባይ፣ ሴሴይ፣ ሸራይ፣ 41ኤዝርኤል፣

ሰሌምያ፣ ሰማራያ፣ 42ሰሎም፣ አማርያና ዮሴፍ።

43ከናባው ዘሮች፤

ይዒኤል፣ መቲትያ፣ ዛባድ፣ ዘቢና፣ ያዳይ፣ ኢዮኤልና በናያስ።

44እነዚህ ሁሉ ባዕዳን ሴቶችን ያገቡ ናቸው፤ ከእነርሱም ጥቂቶቹ ከእነዚህ ሴቶች ልጆችን ወልደው ነበር።10፥44 ወይም ከልጆቻቸው ጋር ላኩአቸው

Luganda Contemporary Bible

Ezera 10:1-44

Abantu Baatula Ekibi Kyabwe

110:1 2By 20:9; Dan 9:20Awo Ezera bwe yali ng’asaba, ng’ayatula ebibi mu lwatu, ng’akaaba, era ng’avunnamye mu maaso g’ennyumba ya Katonda, ekibiina ekinene eky’Abayisirayiri, abasajja, n’abakyala, n’abaana ne bakuŋŋaana gy’ali, nabo nga bakaaba nnyo nnyini. 210:2 a Ezr 9:2; Nek 13:27 b Ma 30:8-10Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri, omu ku bazzukulu ba Eramu n’agamba Ezera nti, “Tetubadde beesigwa eri Katonda waffe, kubanga twawasa abakazi bannaggwanga ab’oku mawanga agatwetoolodde. Naye newaakubadde nga twakola bwe tutyo, wakyaliwo essuubi eri Isirayiri. 310:3 a 2By 34:31 b Kuv 34:16; Ma 7:2-3; Ezr 9:4Noolwekyo tukole endagaano ne Katonda waffe tuve ku bakazi abo bonna n’abaana be twabazaalamu, ng’okuteesa kwa mukama wange n’abo abatya ebiragiro bya Katonda waffe bwe kuli, era kikolebwe ng’etteeka bwe litulagira. 4Golokoka kubanga obuvunaanyizibwa obwo buli mu mukono gwo era tuli beeteefuteefu okukuwagira, noolwekyo guma omwoyo okikole.”

510:5 Nek 5:12; 13:25Awo Ezera n’agolokoka n’alayiza bakabona abakulu n’Abaleevi ne Isirayiri yenna okukola nga bwe kyateesebwa. Ne balayira. 610:6 Kuv 34:28; Ma 9:18Ezera n’agolokoka n’ava mu maaso g’ennyumba ya Katonda n’agenda mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, naye n’atalya mmere newaakubadde okunywa amazzi ng’akyanakuwalidde obutali bwesigwa bw’abaawaŋŋangusibwa.

7Awo ekirango ne kiyisibwa mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi nti abawaŋŋangusibwa abaakomawo bakuŋŋaanire mu Yerusaalemi. 8Era ne kigambibwa nti omuntu yenna aliba tazze mu nnaku ssatu, alifiirwa ebintu bye byonna, ate n’agobebwa ne mu kuŋŋaaniro lya baawaŋŋangusibwa.

910:9 Ezr 1:5Mu nnaku ssatu, abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi. Awo ku lunaku olw’amakumi abiri olw’omwezi ogw’omwenda abantu bonna ne batuula mu luggya olugazi mu maaso g’ennyumba ya Katonda nga banakuwavu olw’ensonga eyo ate era n’olw’enkuba eyatonnya. 10Awo Ezera kabona n’ayimirira n’abagamba nti, “Mwayonoona bwe mwawasa abakazi bannamawanga ne mwongera ku musango gwa Isirayiri. 1110:11 nny 3; Ma 24:1; Nek 9:2; Mal 2:10-16Kaakano mwatule ebibi byammwe eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo by’asiima. Mweyawule ku mawanga agabeetoolodde era muleke n’abakazi bannamawanga.”

1210:12 Yos 6:5Awo ekibiina kyonna ne kiddamu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Oli mutuufu, tuteekwa okukola nga bw’ogambye. 13Naye abantu bangi, era n’ekiseera kya nkuba, tetuyinza kuyimirira bweru. N’ensonga eyookubiri, omulimu guno teguyinza kukolebwa mu lunaku lumu oba mu nnaku bbiri, kubanga twonoonye nnyo nnyini mu kigambo ekyo. 1410:14 a Ma 16:18 b Kbl 25:4; 2By 29:10; 30:8Abakulu baffe beeyimirire olukuŋŋaana lwonna, na buli muntu awamu n’abakadde n’abalamuzi aba buli kibuga mu bibuga byaffe eyawasa omukazi omunnaggwanga, ajje mu kiseera ekiragaane alongoose ensonga eyo, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe lwe bulituvaako olw’ekigambo ekyo.” 1510:15 Nek 11:16Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yozeya mutabani wa Tikuva, nga bawagirwa Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi be bokka abawakanya ekiteeso ekyo.

16Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola ng’ekiteeso bwe kyali. Ezera kabona n’abaalondebwa ku bakulu b’ennyumba, omu mu buli nnyumba ne baawulibwa mu mannya gaabwe. Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi ne batuula okunoonyereza ku bigambo ebyo; 17ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza ensonga eyo ey’abasajja bonna abaali bawasizza abakazi abannamawanga.

Abaasingibwa Omusango

1810:18 a Bal 3:6 b Ezr 2:2Mu lulyo olwa bakabona, abaali bawasizza abakazi bannamawanga baali:

Maaseya, ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya bazzukulu ba Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda be. 1910:19 a 2Bk 10:15 b Lv 5:15; 6:6Ne bamalirira okulekayo bakazi baabwe abo, n’omutango gwe baawaayo olw’omusango gwali ndiga nnume.

2010:20 1By 24:14Ku bazzukulu ba Immeri:

Kanani ne Zebadiya.

2110:21 1By 24:8Ku bazzukulu ba Kalimu:

Maaseya, ne Eriya, ne Semaaya, ne Yekyeri ne Uzziya.

2210:22 1By 9:12Ku bazzukulu ba Pasukuli:

Eriwenayi, ne Maaseya, ne Isimayiri, ne Nesaneri, ne Yozabadi ne Erasa.

2310:23 Nek 8:7; 9:4Ku Baleevi:

Yozabadi, ne Simeeyi, ne Keraya (era ye Kerita), ne Pesakiya, ne Yuda ne Eryeza.

2410:24 Nek 3:1; 12:10; 13:7, 28Ku bayimbi:

Eriyasibu,

ne ku baakuumanga wankaaki:

Sallumu, ne Teremu ne Uli.

2510:25 Ezr 2:3Mu Bayisirayiri abalala:

Ku bazzukulu ba Palosi:

Lamiya, ne Izziya, ne Malukiya, ne Miyamini, ne Eriyazaali, ne Malukiya ne Benaya.

2610:26 nny 2Ku bazzukulu ba Eramu:

Mattaniya, ne Zekkaliya, ne Yekyeri, ne Abudi, ne Yeremoosi ne Eriya.

27Ku bazzukulu ba Zattu:

Eriwenayi, ne Eriyasibu, ne Mattaniya, ne Yeremoosi, ne Zabadi, ne Aziza.

28Ku bazzukulu ba Bebayi:

Yekokanani, ne Kananiya, ne Zabbayi ne Asulaayi.

29Ku bazzukulu ba Bani:

Mesullamu, ne Malluki, ne Adaya, ne Yasubu, ne Seyaali ne Yeremoosi.

30Ku bazzukulu ba Pakasumowaabu:

Aduna, ne Kerali, ne Benaya, ne Maaseya, ne Mattaniya, ne Bezaleeri, ne Binnuyi ne Manase.

31Ku bazzukulu ba Kalimu: Eryeza, ne Isusiya, ne Malukiya,

ne Semaaya, ne Simyoni, 32ne Benyamini, ne Malluki, ne Semaliya.

33Ku bazzukulu ba Kasumu:

Mattenayi, ne Mattata, ne Zabadi, ne Erifereti, ne Yeremayi, ne Manase, ne Simeeyi.

34Ku bazzukulu ba Baani:

Maadayi, ne Amulaamu, ne Uweri, 35ne Benaya, ne Bedeya, ne Keruki, 36ne Vaniya, ne Meremoosi, ne Eriyasibu, 37ne Mattaniya, ne Mattenayi, ne Yaasu,

38ne Bani, ne Binnuyi,

ne Simeeyi, 39ne Seremiya, ne Nasani, ne Adaya, 40ne Makunadebayi, ne Sasayi, ne Salaayi, 41ne Azaleri, ne Seremiya, ne Semaliya, 42ne Sallumu, ne Amaliya ne Yusufu.

43Ku bazzukulu ba Nebo:

Yeyeri, ne Mattisiya, ne Zabadi, ne Zebina, ne Iddo, ne Yoweeri ne Benaya.

44Abo bonna baali bawasizza abakazi bannamawanga, n’abamu ku bo nga babazaddemu abaana.