New Amharic Standard Version

ዕብራውያን 7:1-28

ካህኑ መልከጼዴቅ

1ይህ መልከጼዴቅ የሳሌም ንጉሥና የልዑል እግዚአብሔር ካህን ነበር፤ እርሱም አብርሃም ነገሥታትን ድል አድርጎ ሲመለስ አግኝቶት ባረከው፤ 2አብርሃምም ከሁሉ ነገር ዓሥራት አውጥቶ ሰጠው። በመጀመሪያ ስሙ “የጽድቅ ንጉሥ” ማለት ነው፤ ኋላም ደግሞ “የሳሌም ንጉሥ” ማለትም “የሰላም ንጉሥ ማለት” ነው። 3አባትና እናት ወይም የትውልድ ሐረግ የለውም፤ ለዘመኑ መጀመሪያ፣ ለሕይወቱም ፍጻሜ የለውም፤ ነገር ግን እንደ እግዚአብሔር ልጅ ለዘላለም ካህን ሆኖ ይኖራል።

4እስቲ እርሱ የቱን ያህል ታላቅ እንደሆነ ዐስቡ፤ ርእሰ አበው የሆነው አብርሃም እንኳ ካገኘው ምርኮ ዓሥራት አውጥቶ ሰጠው። 5ክህነት የተሰጣቸው የሌዊ ልጆች ምንም እንኳ ወንድሞቻቸው የአብርሃም ዘሮች ቢሆኑም፣ ከሕዝቡ ማለት ከገዛ ወንድሞቻቸው ዓሥራት እንዲቀበሉ ሕጉ ያዛል። 6ይህ ግን ትውልዱ ከሌዊ ወገን አይደለም፤ ይሁን እንጂ ከአብርሃም ዓሥራት ተቀበለ፤ የተስፋ ቃል የተቀበለውንም ባረከው። 7ትንሹ በትልቁ እንደሚባረክ ጥርጥር የለውም። 8በአንድ በኩል ዓሥራት የሚቀበሉት ሟች ሰዎች ናቸው፤ በሌላ በኩል ግን ሕያው ሆኖ እንደሚኖር የተመሰከረለት ይቀበላል። 9እንዲያውም ዓሥራት የሚቀበለው ሌዊ፣ ራሱ በአብርሃም በኩል ዓሥራት ከፍሎአል ማለት ይቻላል፤ 10ምክንያቱም መልከጼዴቅ አብርሃምን ባገኘው ጊዜ፣ ሌዊ ገና በአባቱ በአብርሃም አብራክ ነበር።

ኢየሱስ እንደ መልከጼዴቅ

11ፍጹምነት የተገኘውና ሕጉ ለሕዝቡ የተሰጠው በሌዊ ክህነት መሠረት ቢሆን ኖሮ፣ እንደ አሮን ሳይሆን እንደ መልከጼዴቅ ሹመት ያለው ሌላ ካህን መምጣቱ ለምን አስፈለገ? 12የክህነት ለውጥ ካለ ሕጉም ሊለወጥ ግድ ነውና። 13ይህ ሁሉ የተነገረለት እርሱ ከሌላ ነገድ ነው፤ ከዚያም ነገድ በመሠዊያ ያገለገለ ማንም የለም። 14ጌታችን ከይሁዳ ነገድ እንደ መጣ ግልጽ ነውና፤ ሙሴ ስለ ካህናት ሲናገር ይህን ነገድ አስመልክቶ የተናገረው ምንም ነገር የለም። 15እንደ መልከጼዴቅ ያለ ሌላ ካህን ቢነሣ ግን እኛ የተናገርነው ይበልጥ ግልጽ ይሆናል፤ 16እርሱ ካህን የሆነው በማይጠፋ የሕይወት ኀይል መሠረት እንጂ፣ እንደ ትውልዱ የሕግ ሥርዐት አይደለም፤ 17እንዲህ ተብሎ ተመስክሮለታል፤

“እንደ መልከጼዴቅ ሹመት፣

አንተ ለዘላለም ካህን ነህ።”

18የቀድሞው ትእዛዝ ደካማና የማይጠቅም በመሆኑ ተሽሮአል፤ 19ሕጉ ማንንም ፍጹም ሊያደርግ ስለማይችል ወደ እግዚአብሔር የምንቀርብበት የተሻለ ተስፋ መጥቶአል።

20ይህ ያለ መሐላ አልሆነም፤ ሌሎች ካህናት የሆኑት ያለ መሐላ ነው፤ 21እርሱ ግን ካህን የሆነው በመሐላ ነው፤ ምክንያቱም እግዚአብሔር እንዲህ ብሎ ተናግሮለታል፤

“ጌታ ማለ፤

ዐሳቡንም አይለውጥም፤

‘አንተ ለዘላለም ካህን ነህ።’ ”

22ከዚህ መሐላ የተነሣ፣ ኢየሱስ ለተሻለ ኪዳን ዋስ ሆኖአል።

23በአገልግሎታቸው እንዳይቀጥሉ ሞት ስለ ከለከላቸው፣ የቀድሞዎቹ ካህናት ቍጥራቸው ብዙ ነበር፤ 24ኢየሱስ ግን ለዘላለም የሚኖር በመሆኑ፣ ክህነቱ የማይሻር ነው። 25ስለዚህ ስለ እነርሱ እየማለደ ሁል ጊዜ በሕይወት ስለሚኖር፣ በእርሱ በኩል ወደ እግዚአብሔር የሚመጡትን ፈጽሞ7፥25 ወይም ለዘላለም ሊያድናቸው ይችላል።

26እንግዲህ ለእኛ የሚያስፈልገን፣ ቅዱስ፣ ነቀፋ የሌለበት፣ ንጹሕ፣ ከኀጢአተኞች የተለየና ከሰማያት በላይ የከበረ እንደዚህ ያለ ሊቀ ካህናት ነው። 27እርሱም እንደ ሌሎቹ ሊቃነ ካህናት፣ መጀመሪያ ስለ ራሱ ኀጢአት ከዚያም ስለ ሕዝቡ ኀጢአት በየቀኑ መሥዋዕት ማቅረብ አያስፈልገውም፤ ራሱን በሰጠ ጊዜ፣ ስለ ኀጢአታቸው ለአንዴና ለመጨረሻ ጊዜ መሥዋዕት አቅርቦአልና። 28ሕጉ ደካማ የሆኑትን ሰዎች ሊቃነ ካህናት አድርጎ ይሾማልና፤ ከሕግ በኋላ የመጣው መሐላ ግን ለዘላለም ፍጹም የሆነውን ልጅ ሾሞአል።

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 7:1-28

Kabona Merukizeddeeki

17:1 a Mak 5:7 b Lub 14:18-20Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa. 2Ne Ibulayimu n’awa Merukizeddeeki ekitundu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka ow’Obutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka w’e Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka ow’emirembe. 37:3 a nny 6 b Mat 4:3Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda.

47:4 a Bik 2:29 b Lub 14:20Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. 57:5 Kbl 18:21, 26N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe. 67:6 a Lub 14:19, 20 b Bar 4:13Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa. 7Tewali kubuusabuusa omukulu y’asabira omuto omukisa. 87:8 Beb 5:6; 6:20Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu. 9Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu eky’ekkumi, naye yawaayo ekimu eky’ekkumi. 10Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.

117:11 a nny 18, 19; Beb 8:7 b Beb 10:1 c Beb 8:17Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo ky’okuva mu lubu lwa Alooni? 12Kubanga bwe wabaawo okukyusibwa mu bwakababona, era kiba kyetaagisa n’okukyusa mu mateeka. 137:13 a nny 11 b nny 14Oyo ayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutaavanga muntu eyali aweerezaako ku Kyoto. 147:14 Is 11:1; Mat 1:3; Luk 3:33Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa ky’ataayogerako bigambo bya bwakabona. 15Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki, 16atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo. 177:17 Zab 110:4; nny 21; Beb 5:6Kubanga Kristo ayogerwako nti,

“Oli kabona okutuusa emirembe gyonna

ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

187:18 Bar 8:3Ekiragiro ekyasooka kijjululwa olw’obunafu n’olw’obutagasa bwakyo, 197:19 a Bik 13:39; Bar 3:20; Beb 9:9 b Beb 4:16kubanga amateeka tegaliiko kye gatuukiriza, wabula essubi erisinga obulungi, mwe tuyita okusemberera Katonda.

20Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Waliwo abaafuulibwa bakabona awatali kirayiro, 217:21 a 1Sa 15:29 b Zab 110:4naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti,

“Mukama yalayira

era tagenda kwejjusa:

‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ”

227:22 Beb 8:6Yesu kyeyava afuuka omuyima w’endagaano esinga obulungi.

23Bangi abaafuulibwa bakabona kubanga baafanga ne basikirwa. 247:24 nny 28Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka. 257:25 a nny 19 b Bar 8:34Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza.

267:26 a 2Ko 5:21 b Beb 4:14Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bw’atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu, 277:27 a Beb 5:1 b Beb 5:3 c Beb 9:12, 26, 28 d Bef 5:2; Beb 9:14, 28ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi bye ye, n’oluvannyuma olw’ebyo eby’abantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. 287:28 a Beb 5:2 b Beb 1:2 c Beb 2:10Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu n’obunafu bwabwe, naye ekigambo eky’ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna.