New Amharic Standard Version

ኢያሱ 6:1-27

1በዚህ ጊዜ እስራኤላውያንን ከመፍራት የተነሣ፣ ኢያሪኮ ፈጽማ ተዘግታ ነበር፤ ወደ ውጭ የሚወጣም ሆነ ወደ ውስጥ የሚገባ አልነበረም።

2እግዚአብሔርም ኢያሱን እንዲህ አለው፤ “እነሆ፤ ኢያሪኮን ከንጉሥዋና ከተዋጊዎቿ ጋር አሳልፌ በእጅህ ሰጥቻለሁ። 3ከተማዪቱን ከተዋጊዎቻችሁ ጋር አንድ ጊዜ ዙሩ፤ ይህንም ስድስት ቀን አድርጉ። 4ሰባት ካህናት፣ ሰባት ቀንደ መለከት ተሸክመው በታቦቱ ፊት ይውጡ፤ በሰባተኛውም ቀን ካህናቱ መለከት እየነፉ ከተማይቱን ሰባት ጊዜ ይዙሩ። 5የማያቋርጥ የመለከት ድምፅ ሲነፋ በምትሰሙበት ጊዜ፣ ሕዝቡ ሁሉ ከፍ ያለ ጩኸት ያሰማ፤ ከዚያም የከተማዪቱ ቅጥር ይፈርሳል፤ ሕዝቡም ወደ ላይ ይወጣል፤ እያንዳንዱም ሰው በቀጥታ ይገባል።”

6ስለዚህ የነዌ ልጅ ኢያሱ ካህናቱን ጠርቶ፣ “የቃል ኪዳኑን ታቦት ተሸከሙ፤ ሰባት ካህናትም ሰባት ቀንደ መለከት ይዘው በእግዚአብሔር ታቦት ፊት ይሂዱ” አላቸው። 7ሕዝቡንም፣ “ወደ ፊት ሂዱ፤ ከተማዋን ዙሩ፤ የታጠቁ ተዋጊዎችም በእግዚአብሔር ታቦት ፊት ቀድመው ይሂዱ፤ ከተማዪቱንም ዙሩ” ሲል አዘዛቸው።

8ኢያሱም ለሕዝቡ ከተናገረ በኋላ፣ ሰባቱ ካህናት በእግዚአብሔር ፊት ሰባት ቀንደ መለከት ይዘው መለከታቸውን እየነፉ ወደ ፊት ቀደሙ፤ የእግዚአብሔር የቃል ኪዳን ታቦትም ተከተላቸው። 9የታጠቁ ተዋጊዎችም መለከት ከሚነፉት ካህናት ፊት ቀድመው ሲሄዱ፣ ደጀን የሆኑት ጠባቂዎች ደግሞ ታቦቱን ተከተሉ፤ በዚህ ጊዜ ሁሉ መለከቶቹ ባለማቋረጥ ይነፉ ነበር። 10ኢያሱ ሕዝቡን፣ “የማሸበሪያ ጩኸት አታሰሙ፤ ድምፃችሁ ከፍ ብሎ አይሰማ፤ ጩኹ እስከምላችሁም ቀን ድረስ ከአፋችሁ አንዲት ቃል አትውጣ፤ የምትጮኹት ከዚያ በኋላ ነው” ሲል አዘዛቸው።

11ስለዚህ ኢያሱ የእግዚአብሔርን ታቦት ተሸክመው፣ ከተማዪቱን አንድ ጊዜ እንዲዞሩ አደረገ። ከዚያም ሕዝቡ ወደ ሰፈር ተመልሰው ዐደሩ።

12ኢያሱ በማግሥቱ ማልዶ ተነሣ፤ ካህናቱም የእግዚአብሔርን ታቦት ተሸከሙ። 13ሰባቱም ካህናት ሰባት ቀንደ መለከት ይዘው በእግዚአብሔር ታቦት ፊት እየሄዱ፣ መለከቱን ባለማቋረጥ ይነፉ ጀመር፤ የታጠቁ ተዋጊዎችም እነዚህን በመቅደም ሲሄዱ፣ የደጀን ጠባቂዎቹ ደግሞ የእግዚአብሔርን ታቦት ይከተሉ ነበር፤ ካህናቱም ሳያቋርጡ መለከት ይነፉ ነበር። 14በሁለተኛውም ቀን ከተማዪቱን አንድ ጊዜ ከዞሩ በኋላ ወደ ሰፈር ተመለሱ፤ ስድስት ቀን ሙሉም እንዲሁ አደረጉ።

15በሰባተኛው ቀን ገና ጎሕ ሲቀድ ተነሡ፤ እንደ በፊቱም ከተማይቱን ሰባት ጊዜ ዞሩ፤ ከተማዪቱን ሰባት ጊዜ የዞሯትም በዚያን ቀን ብቻ ነው። 16በሰባተኛው ዙር ላይ ካህናቱ መለከቱን ሲነፉ፣ ኢያሱ ሕዝቡን እንዲህ ሲል አዘዘ፤ “እግዚአብሔር ይህችን ከተማ ሰጥቶአችኋልና ጩኹ 17ከተማዪቱና በውስጧ ያለው ሁሉ ለእግዚአብሔር የተለየ ስለ ሆነ ፈጽማችሁ አጥፉ6፥17 የዕብራይስጡ ቃል አንድን ሰው ወይም ነገር ሙሉ በሙሉ በማጥፋት ለእግዚአብሔር መስጠት ማለት ነው።፣ እኛ የላክናቸውን ሰላዮች ስለሸሸገች ጋለሞታዪቱ6፥17 በዚህም ሆነ በቍጥር 22 እና 25 ላይ፣ “የሆቴል ቤት ተጠቃሚ” ተብሎ ሊተረጐም ይችላል። ረዓብ ብቻና ከእርሷ ጋር በቤቷ ውስጥ ያሉት ሁሉ ይትረፉ። 18እናንተ ግን እርም ከሆኑት ነገሮች አንዳች በመውሰድ በራሳችሁ ላይ ጥፋት እንዳታመጡ እጃችሁን ሰብስቡ፤ ያለዚያ የእስራኤልን ሰፈር ለጥፋት ትዳርጋላችሁ፤ ክፉ ነገር እንዲደርስበትም ታደርጋላችሁ፤ 19ብሩና ወርቁ እንዲሁም የናሱና የብረቱ ዕቃ ሁሉ ለእግዚአብሔር የተቀደሰ ስለ ሆነ፣ ወደ እግዚአብሔር ግምጃ ቤት ይግባ።”

20መለከቱ ሲነፋ ሕዝቡ ጮኸ፤ የመለከቱ ድምፅ ተሰምቶ፣ ሕዝቡ በኀይል ሲጮኽ ቅጥሩ ፈረሰ፤ እያንዳንዱ ሰው ሰተት ብሎ ገባ፤ ከተማዪቱም በእጃቸው ወደቀች። 21በከተማዪቱ ውስጥ ያለውን ሁሉ ማለትም ወንዱንና ሴቱን፣ ወጣቱንና ሽማግሌውን፣ ከብቱንና በጒን እንዲሁም አህያውን በሰይፍ ስለት ፈጽመው አጠፉ።

22ኢያሱ ምድሪቱን የሰለሉትን ሁለቱን ሰዎች፣ “ወደ ጋለሞታዪቱ ቤት ሂዱ፤ በማላችሁላትም መሠረት እርስዋንና የእርሷ የሆነውን ሁሉ ከዚያ አውጡ” አላቸው። 23ስለዚህ ሁለቱ ወጣት ሰላዮች ገብተው ረዓብን፣ አባቷንና እናቷን፣ ወንድሞቿንና የእርሷ የሆኑትን ሁሉ ከዚያ አወጧቸው። ቤተ ዘመዶቿንም ሁሉ አውጥተው ከእስራኤል ሰፈር ውጭ አስቀመጧቸው።

24ከዚያም ከተማዪቱን በሙሉ፣ በውስጧ ያለውንም ሁሉ አቃጠሉ፤ ብሩንና ወርቁን፣ የናሱንና የብረቱን ዕቃ ግን በእግዚአብሔር ግምጃ ቤት አኖሩ። 25ኢያሪኮን እንዲሰልሉ ኢያሱ የላካቸውን ሰዎች ስለ ደበቀች፣ ጋለሞታዪቱን ረዓብን፣ ቤተ ሰቧንና የእርሷ የሆኑትን ሁሉ አዳናቸው፤ እርሷም እስከ ዛሬ ድረስ በእስራኤላውያን መካከል ትኖራለች።

26በዚያን ጊዜም ኢያሱ፣ እንዲህ ሲል ማለ፤ “ይህችን ከተማ መልሶ የሚሠራት ሰው በእግዚአብሔር ፊት የተረገመ ይሁን፤

“መሠረቷን ሲጥል፣

የበኵር ልጁ ይጥፋ፤

ቅጥሮቿንም ሲያቆም፣

የመጨረሻ ልጁ ይጥፋ” ብሎ ማለ።

27ስለዚህ እግዚአብሔር ከኢያሱ ጋር ነበር፤ ዝናውም በምድሪቱ ሁሉ ላይ ወጣ።

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 6:1-27

Ekibuga Yeriko kizingizibwa

16:1 Yos 24:11Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira. 26:2 Ma 7:24; Yos 2:9, 24; 8:1Mukama n’agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe. 3Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. 46:4 Lv 25:9; Kbl 10:8Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olw’omusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. 56:5 a Kuv 19:13 b nny 20; 1Sa 4:5; Zab 42:4; Is 42:13Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”

6Bw’atyo Yoswa mutabani wa Nuuni n’ayita bakabona n’abagamba nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano ne bakabona musanvu bakulembere Essanduuko ya Mukama nga bambalidde amakondeere musanvu agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume.” 76:7 Kuv 14:15N’alagira Abayisirayiri nti, “Mweyongere mu maaso, mwetooloole ekibuga abalina ebyokulwanyisa nga bakulembeddemu Essanduuko ya Mukama.”

8Nga Yoswa bwe yabakalaatira, bwe batyo bakabona omusanvu ne bakulemberamu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe omusanvu ezaakolebwa mu mayembe g’endiga eza sseddume, eno nga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama bw’ebavaako emabega. 96:9 nny 13; Is 52:12Abasajja abambalidde ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona ab’amakondeere, olwo eggye ery’emabega ne ligoberera Essanduuko ng’eno amakondeere bwe ganyaanyaagira. 106:10 nny 20Awo Yoswa n’alagira Abayisirayiri nti, “Temuleekaana wadde okwogerera waggulu, mutambule kasirise okutuusa ku lunaku olwo lwe ndibalagira.” 11Bw’etyo Essanduuko ya Mukama ne yeetooloozebwa ekibuga omulundi gumu olunaku olwo, ne beddirayo mu lusiisira lwabwe ne beebaka.

12Yoswa n’akeera nnyo mu makya, ne bakabona ne basitula Essanduuko ya Mukama, 13ne bakabona omusanvu abafuuyi b’amakondeere ne batambula, abalwanyi nga babakulembedde, eggye ery’emabega lyo nga ligoberera Essanduuko ya Mukama, eno amakondeere nga bwe gafuuyibwa. 14Ku lunaku olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga.

Okugwa kwa Yeriko

156:15 1Bk 18:44Ku lunaku olw’omusanvu baakeera mu matulutulu ne beetooloola ekibuga nga bulijjo, kyokka olwo lwe lwali olunaku lwokka lwe baakyetooloola emirundi omusanvu. 16Ku mulundi ogw’omusanvu nga bakabona bamaze okufuuwa amakondeere, Yoswa n’alagira abantu nti, “Muleekaane kubanga Mukama abawadde ekibuga. 176:17 a Lv 27:28; Ma 20:17 b Yos 2:4Era ekibuga n’ebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo n’abantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo. 186:18 a Yos 7:1 b Yos 7:12 c Yos 7:25, 26Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo n’okuzikirira. 196:19 nny 24; Kbl 31:22Kyokka ffeeza ne zaabu n’ebintu byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.”

206:20 a Bal 6:34; Yer 4:21; Am 2:2 b nny 5 c Beb 11:30Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ng’amakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera n’eddoboozi ery’omwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba. 216:21 Ma 20:16Ne bazikiriza byonna ebyakirimu, abasajja n’abakazi, n’abaana abato, n’ente, n’endiga, n’endogoyi ne byonna ne babizikiriza n’ekitala.

Lakabu Atalizibwa

226:22 Yos 2:14; Beb 11:31Awo Yoswa n’agamba abasajja ababiri abaatumibwa okuketta ensi eri nti, “Mugende muleete malaaya oli n’abantu be bonna baali nabo nga bwe mwamusuubiza.” 236:23 Yos 2:13Bwe batyo abavubuka abo abakessi ne bagenda ne bakola nga bwe baalagirwa, ne baleeta Lakabu malaaya, ne kitaawe, ne nnyina, ne bannyina n’abantu be bonna be yali nabo, ne babateeka ebweru w’olusiisira lw’Abayisirayiri. 246:24 nny 19Awo ne balyoka bookya ekibuga ne bazikiriza byonna ebyakirimu okuggyako ffeeza, zaabu n’ebintu eby’ekikomo n’eby’ekyuma bye baggyamu ne babitereka mu ggwanika ly’omu nnyumba ya Mukama. 256:25 a Beb 11:31 b Yos 2:6Yoswa n’alekawo Lakabu malaaya n’ab’ennyumba ye era Lakabu n’abeera mu Isirayiri n’okutuusa kaakano kubanga yakweka abakessi Yoswa be yatuma okuketta ekibuga Yeriko. 266:26 1Bk 16:34Yoswa n’alayira nti,

“Akolimirwe mu maaso ga Mukama omuntu yenna alyaŋŋanga nate okuzimba ekibuga kino Yeriko.

Bw’alyaŋŋanga okuzimba omusingi gwakyo alifiirwa omwana we omubereberye.

Ate era bw’alyaŋŋanga okuwangamu enzigi z’emiryango gyakyo,

alifiirwa omwana we asembayo owoobulenzi.”

276:27 a Lub 39:2; Yos 1:5 b Yos 9:1Bw’atyo Mukama n’abeera ne Yoswa, era ettutumu lya Yoswa ne libuna ensi eyo yonna.