New Amharic Standard Version

ኢሳይያስ 37:1-38

የኢየሩሳሌም ዐርነት ታወጀ

1ንጉሡ ሕዝቅያስ ይህን ሲሰማ፣ ልብሱን ቀደደ፤ ማቅ ለበሰ፤ ወደ እግዚአብሔር ቤተ መቅደስ ገባ። 2የቤተ መንግሥቱን አስተዳዳሪ ኤልያቄምንና ጸሓፊውን ሳምናስን እንዲሁም ከካህናቱ ዋና ዋናዎቹን ማቅ ለብሰው ሁሉም ወደ አሞጽ ልጅ ወደ ነቢዩ ኢሳይያስ እንዲሄዱ ላካቸው። 3እነርሱም እንዲህ አሉት፤ “ሕዝቅያስ እንዲህ ይላል፤ ይህ ቀን የጭንቀት፣ የተግሣጽና የውርደት ቀን ነው፤ ሕፃናት ሊወለዱ ሲሉ ብርታት እንደሚታጣበት ቀን ሆኖአል። 4ሕያው አምላክን ይገዳደር ዘንድ ጌታው የአሦር ንጉሥ የላከውን የጦር አዛዡን ቃል እግዚአብሔር አምላክህ ይሰማ ይሆናል፤ እግዚአብሔር አምላክህም ሰምቶ ይገሥጸው ይሆናል፤ ስለዚህ አንተም በሕይወት ለተረፉት ቅሬታዎች ጸልይ።”

5የንጉሡ የሕዝቅያስ መልእክተኞች ወደ ኢሳይያስ መጡ፤ 6ኢሳይያስም እንዲህ አላቸው፤ “ጌታችሁን እንዲህ በሉት፤ ‘እግዚአብሔር እንዲህ ይላል፤ የአሦር ንጉሥ ባሪያዎች እኔን ስለ ሰደቡኝ፣ በሰማኸው ቃል አትሸበር። 7እነሆ፤ በላዩ መንፈስን እሰዳለሁ፤ ወሬም ሰምቶ ወደ አገሩ ይመለሳል፤ በገዛ አገሩም በሰይፍ እንዲወድቅ አደርጋለሁ።’ ”

8የጦር አዛዡም፣ የአሦር ንጉሥ ለኪሶን ለቆ መሄዱን ሲሰማ፣ ከነበረበት ተመለሰ፤ ንጉሡም የልብናን ከተማ ሲወጋ አገኘው።

9ደግሞም ሰናክሬም፣ የኢትዮጵያ ንጉሥ ቲርሐቅ ሊወጋው መምጣቱን ሰማ፤ ይህንንም እንደ ሰማ ወደ ሕዝቅያስ መልእክተኞች ላከ፤ እንዲህም አለ፤ 10“ለይሁዳ ንጉሥ ለሕዝቅያስ እንዲህ በሉት፤ ‘ኢየሩሳሌም በአሦር ንጉሥ አትያዝም’ ብሎ የተማመንህበት አምላክ አያታልህ። 11እነሆ፤ የአሦር ነገሥታት በአገሮች ሁሉ ላይ ያደረጉትን፣ ፈጽሞም እንዳጠፏቸው ሰምተሃል፤ አንተስ የምታመልጥ ይመስልሃልን? 12የቀደሙት አባቶቼ ያጠፏቸውን፣ የጎዛንን፣ የካራንን፣ የራፊስን እንዲሁም በተላሳር የሚኖሩ የዔድንን ሰዎች የአሕዛብ አማልክት አድነዋቸዋልን? 13የሐማት ንጉሥ፣ የአርፋድ ንጉሥ፣ የሴፈርዋይም ከተማ ንጉሥ፣ የሄና ንጉሥ ወይም የዒዋ ንጉሥ የት አሉ?”

የሕዝቅያስ ጸሎት

14ሕዝቅያስ ደብዳቤውን ከመልእክተኞቹ ተቀብሎ አነበበው፤ ወደ እግዚአብሔር ቤተ መቅደስ ወጥቶም ደብዳቤውን በእግዚአብሔር ፊት ዘረጋው። 15ሕዝቅያስም እንዲህ ሲል ወደ እግዚአብሔር ጸለየ፤ 16“በኪሩቤል ላይ የምትቀመጥ፣ የእስራኤል አምላክ፣ የሰራዊት ጌታ እግዚአብሔር ሆይ፤ በምድር ባሉ መንግሥታት ሁሉ ላይ አንተ ብቻ አምላክ ነህ፤ ሰማይንና ምድርንም ፈጥረሃል። 17አቤቱ፣ እግዚአብሔር ሆይ፤ ጆሮህን አዘንብል፤ አድምጥም። እግዚአብሔር ሆይ፤ ዐይኖችህን ክፈት፤ ተመልከትም። ሰናክሬም ሕያው አምላክን ለመሳደብ የላከውን ቃል ስማ።

18እግዚአብሔር ሆይ፤ በርግጥ የአሦር ነገሥታት እነዚህን ሕዝቦች፣ ምድራቸውንም ሁሉ ባድማ አድርገዋል። 19አማልክታቸውን ወደ እሳት ጥለዋል፤ በሰው እጅ የተቀረጹ የድንጋይና የዕንጨት ምስሎች እንጂ አማልክት አልነበሩምና። 20አሁንም፣ እግዚአብሔር አምላካችን ሆይ፤ የምድር መንግሥታት ሁሉ አንተ እግዚአብሔር ብቻ አምላክ እንደሆንህ ያውቁ ዘንድ፣ አቤቱ ከእጁ አድነን።”

የሰናክሬም ውድቀት

21ከዚህ በኋላ የአሞጽ ልጅ ኢሳይያስ እንዲህ የሚል መልእክት ወደ ሕዝቅያስ ላከ፤ “የእስራኤል አምላክ እግዚአብሔር እንዲህ ይላል፤ ‘ስለ አሦር ንጉሥ፣ ስለ ሰናክሬም ወደ እኔ ጸልየሃልና፣ 22እግዚአብሔር በእርሱ ላይ የተናገረው ቃል ይህ ነው፤

“ ‘ድንግሊቱ የጽዮን ልጅ፣

ንቃሃለች፣ አፊዛብሃለች፤

የኢየሩሳሌም ልጅ፣

አንተ ስትሸሽ ራሷን ነቅንቃብሃለች።

23የሰደብኸውና ያቃለልኸው ማንን ነው?

ድምፅህንስ ከፍ ከፍ ያደረግኸው፣

ዐይንህን በትዕቢት ያነሣኸው በማን ላይ ነው?

በእስራኤል ቅዱስ ላይ ነው እኮ!

24በመልእክተኞችህ በኩል፣

በጌታ ላይ ብዙ የስድብ ቃል ተናገርህ፤

እንዲህም አልህ፤

“በሰረገሎቼ ብዛት፣

የተራሮችንም ከፍታ፣

የሊባኖስንም ጫፍ ወጥቻለሁ፤

ረጃጅም ዝግባዎችን፣

የተመረጡ ጥዶችን ቈርጫለሁ፤

እጅግ ወደራቁት ከፍታዎች፣

እጅግ ውብ ወደ ሆኑትም ደኖች ደርሻለሁ፤

25በባዕድ ምድር37፥25 የሙት ባሕር ቅጆች (እንዲሁም 2ነገ 19፥24 ይመ) ከዚህ ጋር ይስማማሉ፤ የማሶሬቱ ቅጅ ግን፣ በባዕድ ምድር የሚለውን ሐረግ አይጨምርም። ጒድጓዶችን ቈፈርሁ፤

ከዚያም ውሃ ጠጣሁ።

የግብፅን ምንጮች ሁሉ፣

በእግሬ ረግጬ አደረቅሁ።”

26“ ‘ይህን ቀድሞ እንደ ወሰንሁት፣

ጥንትም እንዳቀድሁት፣

አልሰማህምን?

አሁን ደግሞ እንዲፈጸም አደረግሁት፤

አንተም የተመሸጉትን ከተሞች የድንጋይ

ክምር አደረግሃቸው።

27የሕዝቦቻቸው ኀይል ተሟጦአል፤

ደንግጠዋል፤ ተዋርደዋልም፤

በሜዳ እንዳሉ ዕፀዋት፣

እንደ ለጋ ቡቃያ፣

በሰገነት ላይ እንደ በቀለ ሣር፣

በእንጭጩ ዋግ እንደ መታው ሆነዋል።

28“ ‘እኔ ግን የት እንዳለህ፣

መምጣት መሄድህ ምን ጊዜ እንደሆነ፣

በእኔም ላይ እንዴት በቍጣ እንደም ትነሣሣ ዐውቃለሁ።

29በእኔ ላይ በቍጣ ስለ ተነሣሣህ፣

እብሪትህም ወደ ጆሮዬ ስለ ደረሰ፣

በአፍንጫህ ስናጌን፣

በአፍህ ልጓሜን አገባለሁ፤

በመጣህበትም መንገድ እንድትመለስ

አደርግሃለሁ።’

30“ሕዝቅያስ ሆይ፤ ይህ ምልክት ይሆንልሃል፤

“በዚህ ዓመት የገቦውን፣

በሚቀጥለው ዓመት ከገቦው የበቀለውን ትበላላችሁ፤

በሦስተኛው ዓመት ግን ትዘራላችሁ፤ ታጭዳላችሁ፤

ወይን ትተክላላችሁ፤ ፍሬውንም ትበላላችሁ።

31እንደ ገናም የይሁዳ ቤት ቅሬታ፣

ሥሩን ወደ ታች ይሰዳል፤ ከላይም ፍሬ ያፈራል፤

32ቅሬታ የሆኑት ከኢየሩሳሌም፣

የተረፉትም ከጽዮን ተራራ ይመጣሉና፤

የሰራዊት ጌታ የእግዚአብሔር ቅናት

ይህን ያደርጋል።

33“ስለዚህ እግዚአብሔር ስለ አሦር ንጉሥ እንዲህ ይላል፤

“ወደዚች ከተማ አይገባም፤

ፍላጻ አይወረውርባትም፤

ጋሻ አንግቦ አይመጣባትም፤

በዐፈር ቍልልም አይከባትም።

34በመጣበት መንገድ ይመለሳል፤

ወደዚች ከተማም አይገባም”

ይላል እግዚአብሔር

35“ስለ ራሴና፣ ስለ አገልጋዬም ስለ ዳዊት፣

ይህችን ከተማ እጋርዳታለሁ፤ አድናታለሁም።”

36ከዚያም የእግዚአብሔር መልአክ ወጣ፤ ከአሦራውያን ሰፈር አንድ መቶ ሰማንያ አምስት ሺህ ሰው ገደለ፤ በሰፈር ያሉት ማለዳ ሲነሡ፤ ቦታው ሬሳ በሬሳ ነበር። 37ስለዚህ የአሦር ንጉሥ ሰናክሬም አመለጠ፤ ወደ ነነዌም ተመልሶ በዚያ ተቀመጠ።

38ሰናክሬም በአምላኩ በናሳራክ ቤተ ጣዖት በሚሰግድበት ጊዜ፣ ልጆቹ አድራሜሌክና ሳራሳር በሰይፍ ገደሉት፤ ከዚያም ወደ አራራት ምድር ኰበለሉ፤ ልጁም አስራዶን በምትኩ ነገሠ።

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 37:1-38

Keezeekiya Akaabirira Mukama

1Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya Mukama. 237:2 Is 1:1N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi. 337:3 Is 26:18; 66:9; Kos 13:13Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala. 437:4 a Is 36:13, 18-20 b Is 1:9Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”

5Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya, 637:6 Is 7:4Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. 737:7 nny 9Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’ ”

837:8 Kbl 33:20Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi.

937:9 nny 7Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti, 1037:10 Is 36:15“Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 1137:11 Is 36:18-20Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona? 1237:12 a 2Bk 18:11 b Lub 11:31; 12:1-4; Bik 7:2Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba? 13Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?”

Okusaba kwa Keezeekiya

14Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15N’asaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti, 1637:16 Ma 10:17; Zab 86:10; 136:2-3“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi. 1737:17 a 2By 6:40 b Dan 9:18Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.

1837:18 2Bk 15:29; Nak 2:11-12“Mazima ddala Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago, 1937:19 a Is 26:14 b Is 41:24, 29ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 2037:20 Zab 46:10Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.”

2137:21 nny 2Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, 2237:22 Yob 16:4kino kye kigambo kye mmwogeddeko:

“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera

akunyooma era akusekerera.

Omuwala wa Yerusaalemi

akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.

2337:23 a nny 4 b Is 2:11Ani gw’ovumye

gw’ovodde?

Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso?

Omutukuvu wa Isirayiri!

2437:24 Is 14:8Okozesezza abaddu bo

okuvuma Mukama n’oyogera nti,

Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi,

ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni;

era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu,

n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi,

era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo,

ekibira kyayo ekisinga obunene.

2537:25 Ma 11:10Waduula nti wasima enzizi

era n’onywa n’amazzi mu mawanga

era nti ebigere by’abajaasi bo

byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’

2637:26 a Bik 2:23; 4:27-28; 1Pe 2:8 b Is 10:6; 25:1 c Is 25:2“Tewawulira nga nakisalawo dda?

Nakiteekateeka dda.

Mu biro eby’edda nakiteekateeka;

era kaakano nkituukirizza,

olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe

okuba ng’entuumo y’amayinja.

2737:27 Zab 129:6Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi,

ne baterebuka

ne bakeŋŋentererwa

ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto,

ng’omuddo ogumera ku nnyumba

ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula.

2837:28 a Zab 139:1-3 b Zab 2:1“Naye mmanyi obutuuliro bwo

era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo

n’obuswandi bw’ondaga.

2937:29 a Is 10:12 b Is 30:28; Ez 38:4 c nny 34Kubanga oneereegeddeko,

okwepanka kw’okoze nkutuuseeko.

Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo,37:29 Abasuli baateekanga amalobo mu nnyindo zaabo be baawambanga, ne baddira n’oluuma ne bafumita mu mimwa gy’abo be baawambanga

n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo,

nkuzzeeyo

ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.”

Katonda Atuukiriza Ekisuubizo kye

30Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti,

“Kano ke kabonero akanaakuweebwa:

Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka.

Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri.

Mu mwaka ogwokusatu

mulirya ku birime byammwe bye musize

era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.

3137:31 Is 27:6Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe

emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.

3237:32 Is 9:7Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo

ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona,

kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe,

yeewaddeyo okukikola.

33“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti,

“Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino

wadde okulasayo akasaale.

Talikisemberera n’engabo

newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.

3437:34 nny 29Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo.

Tajja kuyingira mu kibuga kino,”

bw’ayogera Mukama.

3537:35 a Is 31:5; 38:6 b Is 43:25; 48:9, 11 c 2Bk 20:6“Ndirwanirira ekibuga kino

nkirokole.”

3637:36 Is 10:12Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo. 3737:37 Lub 10:11Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve.

3837:38 Lub 8:4; Yer 51:27Lumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira.