New Amharic Standard Version

ኢሳይያስ 14:1-32

1እግዚአብሔር ለያዕቆብ ይራራለታል፤

እስራኤልን እንደ ገና ይመርጠዋል፤

በራሳቸውም አገር ያኖራቸዋል።

መጻተኞች አብረዋቸው ይኖራሉ፤

ከያዕቆብም ቤት ጋር ይተባበራሉ።

2አሕዛብም ይወስዷቸዋል፤

ወደ ገዛ ስፍራቸውም ይመልሷቸዋል።

የእስራኤል ቤት አሕዛብን ርስት ያደርጓቸዋል፤

በእግዚአብሔርም ምድር ወንዶችና ሴቶች ባሪያዎች አድርገው ይገዟቸዋል፤

የማረኳቸውን ይማርኳቸዋል፤

የጨቈኗቸውንም ይገዟቸዋል።

3እግዚአብሔር ከሥቃይህ፣ ከመከራህና ከጽኑ ባርነትህ ባሳረፈህ ቀን፣ 4በባቢሎን ንጉሥ ላይ ትሣለቃለህ፤ እንዲህም ትላለህ፤

ጨቋኙ እንዴት አበቃለት!

አስገባሪነቱስ14፥4 የሙት ባሕር ጥልቅ፣ የሰብዓ ሊቃናት ትርጒምና የሱርስቱ ቅጅ ከዚህ ጋር ይስማማል፤ ነገር ግን በማሶሬቱ ቅጅ የቃሉ ትርጒም በትክክል አይታወቅም። እንዴት አከተመ!

5እግዚአብሔር የክፉዎችን ዘንግ፣

የገዦችንም በትረ መንግሥት ሰብሮአል፤

6ሕዝቦችን በማያቋርጥ ቍጣ የመታውን፣

ያለ ርኅራኄ እያሳደደ

የቀጠቀጠውን ሰብሮአል።

7ምድር ሁሉ ሰላምና ዕረፍት አግኝታለች፤

የደስታም ዝማሬ ታስተጋባለች።

8ጥድና የሊባኖስ ዝግባ እንኳ ደስ ብሎአቸው፣

“አንተም ወደቅህ፤

ዕንጨት ቈራጭም

መጥረቢያ አላነሣብንምቃ አሉ።

9በመጣህ ጊዜ

ሲኦል14፥9 በዚህና በቍጥር 11 እንዲሁም 15 ላይ አንዳንድ ቅጆች፣ መቃብር ይላሉ። ልትቀበልህ ተነሣሥታለች፤

ይቀበሉህም ዘንድ የሙታንን መናፍስት፣

በዓለም ገዥ የነበሩትን ሁሉ ቀስቅሳለች፤

በአሕዛብ ላይ የነገሡትን ነገሥታት

ከዙፋናቸው አውርዳለች።

10እነርሱ ሁሉ ይመልሱልሃል፤

እንዲህም ይሉሃል፤

“አንተም እንደ እኛ ደከምህ፤

እንደ እኛም ሆንህ።”

11ክብርህ፣ ከነበገና ድምፁ

ወደ ሲኦል ወረደ፤

ብሎች ከበታችህ ተነጥፈዋል፤

ትሎችም መደረቢያህ ይሆናሉ።

12አንተ የንጋት ልጅ፣ አጥቢያ ኮከብ ሆይ፤

እንዴት ከሰማይ ወደቅ

አንተ ቀድሞ መንግሥታትን ያዋረድህ፤

እንዴት ወደ ምድር ተጣልህ!

13በልብህም እንዲህ አልህ፤

“ወደ ሰማይ ዐርጋለሁ፤

ዙፋኔንም ከእግዚአብሔር ከዋክብት በላይ ከፍ አደርጋለሁ፤

በተራራው መሰብሰቢያ፣

በተቀደሰውም ተራራ14፥13 ወይም ሰሜኑ፤ በዕብራይስጡ፣ ዛፎን ተብሎ መተርጐም ይችላል። ከፍታ ላይ በዙፋኔ

እቀመጣለሁ፤

14ከደመናዎችም ከፍታ በላይ ዐርጋለሁ፤

ራሴንም እንደ ልዑል አደርጋለሁ።”

15ነገር ግን ወደ ሲኦል፣

ወደ ጥልቁም ጒድጓድ ወርደሃል።

16የሚያዩህም አትኵረው እየተመለክቱህ፣

በመገረም ስለ አንተ እንዲህ ይላሉ፤

“ያ ምድርን ያናወጠ፣

መንግሥታትን ያንቀጠቀጠ፣ ይህ ሰው ነውን?

17ዓለምን ምድረ በዳ ያደረገ፤

ከተሞችን ያፈራረሰ፣

ምርኮኞቹንም ወደ አገራቸው እንዳይሄዱ የከለከለ ይህ ነውን?”

18የአሕዛብ ነገሥታት ሁሉ በክብር አንቀላፍተዋል፤

በየመቃብራቸው ዐርፈዋል።

19አንተ ግን እንደማይፈለግ ቅርንጫፍ፣

ከመቃብር ወጥተህ ተጥለሃል፤

በሰይፍ በተወጉት፣

ወደ ጥልቁ ድንጋዮች በወረዱት፣

በተገደሉትም ተሸፍነሃል።

እንደ ተረገጠም ሬሳ ሆነሃል።

20ከእነርሱ ጋር በመቃብር አትሆንም፤

ምድርህን አጥፍተሃልና፤

ሕዝብህንም ፈጅተሃልና።

የክፉ አድራጊዎች ዘር

ፈጽሞ አይታወስም።

21ተነሥተው ምድርን እንዳይወርሱ፣

ዓለምንም በከተሞቻቸው እንዳይሞሉ፣

ስለ አባቶቻቸው ኀጢአት፣

ወንድ ልጆቹ የሚታረዱበትን ስፍራ አዘጋጁ።

22“በእነርሱ ላይ እነሣለሁ”

ይላል የሰራዊት ጌታ እግዚአብሔር

“ስሟንና ትሩፋኖቿን፣

ዘሯንና ትውልዷን ከባቢሎን እቈርጣለሁ”

ይላል እግዚአብሔር

23“የጃርት መኖሪያ፣

ረግረጋማ ቦታ አደርጋታለሁ፤

በጥፋትም መጥረጊያ እጠርጋታለሁ”

ይላል የሰራዊት ጌታ እግዚአብሔር

በአሦር ላይ የተነገረ ትንቢት

24የሰራዊት ጌታ እግዚአብሔር እንዲህ ብሎ ምሎአል፤

“እንደ ዐቀድሁት በርግጥ ይከናወናል፤

እንደ አሰብሁትም ይሆናል።

25አሦርን በምድሬ ላይ አደቃለሁ፤

በተራራዬም ላይ እረግጠዋለሁ፤

ቀንበሩ ከሕዝቤ ላይ ይነሣል፤

ሸክሙም ከትከሻቸው ላይ ይወርዳል።”

26ለምድር ሁሉ የታሰበው ዕቅድ ይህ ነው፤

በአሕዛብም ሁሉ ላይ የተዘረጋው እጅ ይኸው ነው።

27የሰራዊት ጌታ እግዚአብሔር እንዲህ አስቦአል፤

ማንስ ያግደዋል?

እጁም ተዘርግቶአል?

ማንስ ይመልሰዋል?

በፍልስጥኤማውያን ላይ የተነገረ ትንቢት

28ንጉሡ አካዝ በሞተበት ዓመት እንዲህ የሚል ንግር መጣ፤

29“እናንት ፍልስጥኤማውያን ሆይ፤

የመታችሁ በትር ስለ ተሰበረ ሁላችሁ ደስ አይበላችሁ፤

ከእባቡ ሥር እፉኝት ይወጣልና፤

ፍሬውም ተወርዋሪ መርዘኛ እባብ ይሆናል።

30ከድኻም ድኻ የሆኑት መሰማሪያ ያገኛሉ፤

ችግረኞችም ተዝናንተው ይተኛሉ፤

ሥርህን ግን በራብ እገድላለሁ፤

ትሩፋንህንም እፈጃለሁ።

31በር ሆይ፣ ዋይ በል፤ ከተማ ሆይ ጩኽ፣

ፍልስጥኤማውያን ሆይ፤ ሁላችሁም በፍርሀት ቅለጡ

ጢስ ከሰሜን መጥቶብሃል፤

ከሰልፉ ተነጥሎ የሚቀር የለምና።

32ከዚያ ሕዝብ ለሚመጡ መልእክተኞች ምን መልስ ይሰጣል?

መልሱ፣ “እግዚአብሔር ጽዮንን መሥርቶአል፤

መከራን የተቀበለው ሕዝብም፣

በእርሷ ውስጥ መጠጊያን አግኝቶአል” የሚል ነው።

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 14:1-32

114:1 a Zab 102:13; Is 49:10, 13; 54:7-8, 10 b Is 41:8; 44:1; 49:7; Zek 1:17; 2:12 c Bef 2:12-19Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,

addemu alonde Isirayiri

abazze ku ttaka lyabwe.

Ne bannamawanga balibeegattako

era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.

214:2 a Is 60:9 b Is 49:7, 23 c Is 60:14; 61:5N’amawanga mangi galibayamba

okudda mu nsi yaabwe,

n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu

abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.

Baliwamba abaali babawambye,

bafuge abo abaabakijjanyanga.

314:3 Is 11:10Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa, 414:4 a Kbk 2:6 b Is 9:4oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:

Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo!

Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!

514:5 Zab 125:3Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi,

omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.

614:6 a Is 10:14 b Is 47:6Ogwakubanga olutata

amawanga n’obusungu,

ogwafugisanga amawanga ekiruyi,

ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.

714:7 Zab 98:1; 126:1-3Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe,

era batandise okuyimba.

814:8 Ez 31:16Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni,

nagyo gikuyeeyeereza nti,

“Kasookanga ogwa

tebangayo ajja kututema.”

914:9 Ez 32:21Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo

okukusisinkana ng’ojja,

gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo,

bonna abaali abakulembeze b’ensi;

gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe,

bonna abaali bakabaka baamawanga.

1014:10 Ez 32:21Abo bonna balyogera

ne bakugamba nti,

“Naawe oweddemu amaanyi nga ffe!

Naawe ofuuse nga ffe!”

1114:11 Is 51:8Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,

awamu n’amaloboozi g’ennanga zo;

bakwalidde envunyu,

n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko.

1214:12 a Is 34:4; Luk 10:18 b 2Pe 1:19; Kub 2:28; 8:10; 9:1Ng’ogudde okuva mu ggulu,

ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya!

Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka,

ggwe eyamegganga amawanga!

1314:13 a Dan 5:23; 8:10; Mat 11:23 b Ez 28:2; 2Bs 2:4Wayogera mu mutima gwo nti,

“Ndirinnya mu ggulu,

ndigulumiza entebe yange

okusinga emunyeenye za Katonda;

era nditeeka entebe yange waggulu ntuule

ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;

1414:14 Is 47:8; 2Bs 2:4ndyambuka okusinga ebire we bikoma,

ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”

1514:15 Mat 11:23; Luk 10:15Naye ossibbwa wansi emagombe,

ku ntobo y’obunnya.

1614:16 Yer 50:23Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga

bakwewuunye nga bagamba nti,

“Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi,

ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!

1714:17 Yo 2:3Eyafuula ensi okuba eddungu

n’asuula ebibuga byayo,

atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”

18Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa,

buli omu mu ntaana ye,

1914:19 a Is 22:16-18 b Yer 41:7-9naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go

ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa,

ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala,

abakka eri amayinja g’obunnya;

ng’omulambo ogulinyiriddwa.

2014:20 a Yob 18:19 b Is 1:4 c Zab 21:10Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa

kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo;

ezzadde ly’abo abaakola ebibi

teriryongerwako n’akatono.

2114:21 Kuv 20:5; Lv 26:39Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa

olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe,

baleme okugolokoka ne balya ensi,

ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.

2214:22 1Bk 14:10; Yob 18:19“Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye,

“ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo,

n’omwana n’omuzzukulu,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

2314:23 Is 34:11-15; Zef 2:14“Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,

n’entobazzi

era mwere n’olweyo oluzikiriza,”

bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli

2414:24 a Is 45:23 b Bik 4:28Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,

“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo

era nga bwe nateesa,

bwe kirinywera bwe kityo.

2514:25 a Is 10:5, 12 b Is 9:4 c Is 10:27Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,

era ndimulinnyirira ku nsozi zange.

Ekikoligo kye kiribavaako,

n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”

2614:26 a Is 23:9 b Kuv 15:12Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:

era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.

2714:27 2By 20:6; Is 43:13; Dan 4:35Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?

Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?

Obunnabbi Obukwata ku Bufirisuuti

2814:28 a Is 13:1 b 2Bk 16:20Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.

2914:29 a 2By 26:6 b Is 11:8Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,

kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,

ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,

n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.

3014:30 a Is 3:15 b Is 7:21-22 c Is 8:21; 9:20; 51:19 d Yer 25:16Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,

n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo

naye ekikolo kyo ndikittisa enjala

ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.

3114:31 a Is 3:26 b Yer 1:14Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga,

osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna!

Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka,

eggye ery’abalwanyi omutali munafu.

3214:32 a Is 37:9 b Zab 87:2, 5; Is 44:28; 54:11 c Is 4:6; Yak 2:5Kale kiki kye banaddamu

ababaka b’eggwanga eryo?

Mukama yassaawo Sayuuni,

ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”