New Amharic Standard Version

አሞጽ 7:1-17

አንበጣ፣ እሳትና ቱንቢ

1ጌታ እግዚአብሔር ይህን አሳየኝ፤ የንጉሡ የመከር እህል ከተሰበሰበ በኋላ ገቦው መብቀል በጀመረ ጊዜ፣ እርሱ የአንበጣ መንጋ እንዲፈለፈል አደረገ። 2አንበጦች የምድሩን ሣር ግጠው ከጨረሱት በኋላ፣ “ጌታ እግዚአብሔር ሆይ፤ ይቅር እንድትል እለምንሃለሁ፤ ያዕቆብ ይህን እንዴት ሊቋቋመው ይችላል? ታናሽ ነው እኮ!” አልሁ።

3እግዚአብሔርም ስለዚህ ነገር ተጸጸተ፤ እግዚአብሔርም ይህ አይፈጸምም አለ።

4ጌታ እግዚአብሔር ይህንም አሳየኝ፤ ጌታ እግዚአብሔር በእሳት ሊፈርድ ተዘጋጀ፤ እሳቱም ታላቁን ጥልቅ አደረቀ፤ ምድሪቱንም በላ። 5ከዚያም በኋላ፣ “ጌታ እግዚአብሔር ሆይ፤ እንድትተወው እለምንሃለሁ፤ ያዕቆብ ይህን እንዴት ሊቋቋመው ይችላል? ታናሽ ነው እኮ! አልሁ።

6እግዚአብሔር ስለዚህ ነገር ተጸጸተ፤ ጌታ እግዚአብሔር፣ “ይህም ደግሞ አይፈጸምም” አለ።

7ይህንም ደግሞ አሳየኝ፤ ጌታ በእጁ ቱምቢ ይዞ በቱምቢ በተሠራ ቅጥር አጠገብ ቆሞ ነበር። 8እግዚአብሔር፣ “አሞጽ፣ የምታየው ምንድ ነው?” አለኝ።

እኔም፣ “ቱምቢ” አልሁ።

ጌታም እንዲህ አለ፤ “እነሆ፤ በሕዝቤ በእስራኤል መካከል ቱምቢ እዘረጋለሁ፤ ከእንግዲህም ወዲያ አልምራቸውም።

9“የይስሐቅ ማምለኪያ ኮረብታዎች ባድማ ይሆናሉ፤

የእስራኤል መቅደሶች ይፈርሳሉ፤

በኢዮርብዓምም ቤት ላይ በሰይፌ እነሣለሁ።”

አሞጽና አሜስያስ

10ከዚህ በኋላ የቤቴል ካህን አሜስያስ ወደ እስራኤል ንጉሥ ወደ ኢዮርብዓም እንዲህ ሲል መልእክት ላከ፤ “አሞጽ በእስራኤል ቤት መካከል በአንተ ላይ እያሤረ ነው፤ ምድሪቱም ቃሉን ሁሉ ልትሸከም አትችልም፤ 11አሞጽ እንዲህ ሲል ተናግሮ ነበርና፤

“ ‘ኢዮርብዓም በሰይፍ ይሞታል፤

እስራኤልም በእርግጥ ከትውልድ አገሩ

ተማርኮ ይሄዳል።”

12አሜስያስም፣ አሞጽን እንዲህ አለው፤ “አንተ ባለ ራእይ ከዚህ ሂድ! ከይሁዳ ምድር ሽሽ፤ እዚያም እንጀራህን ብላ፤ በዚያም ትንቢት ተናገር። 13ከእንግዲህ ወዲያ ግን በቤቴል ትንቢት አትናገር፤ የንጉሡ መቅደስ፣ የመንግሥቱም መኖሪያ ነውና።”

14አሞጽም ለአሜስያስ እንዲህ ሲል መለሰ፤ “እኔ እረኛና የባሉጥ ፍሬ ለቃሚ ነኝ እንጂ ነቢይ ወይም የነቢይ ልጅ አይደለሁም፤ 15እግዚአብሔር ግን የበግ መንጋ ከምጠብቅበት ቦታ ወስዶ፣ ‘ሂድና ለሕዝቤ ለእስራኤል ትንቢት ተናገር’ አለኝ፤ 16እንግዲህ የእግዚአብሔርን ቃል ስማ።

አንተ፣ “ ‘በእስራኤል ላይ ትንቢት አትናገር፤

በይስሐቅም ቤት ላይ አትስበክ’ ትላለህ።

17“ስለዚህ እግዚአብሔር እንዲህ ይላል፤”

‘ሚስትህ በከተማዪቱ ውስጥ ጋለሞታ ትሆናለች፤

ወንዶችና ሴቶች ልጆችህም በሰይፍ ይወድቃሉ፤

ምድርህም እየተለካ ይከፋፈላል፤

አንተ ራስህ በረከሰ7፥17 ዕብራይስጡ ርኩስ ይለዋል። ምድር ትሞታለህ፤

እስራኤልም ከትውልድ አገሩ፣

ተማርኮ ይሄዳል።’ ”

Luganda Contemporary Bible

Amosi 7:1-17

Okwolesebwa ku by’Omusango

17:1 a Am 8:1 b Yo 1:4Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja by’enzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kw’afuna omusolo. 27:2 a Kuv 10:15 b Is 37:4 c Ez 11:13Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”

37:3 a Ma 32:36; Yer 26:19; Yon 3:10 b Kos 11:8Mukama bwe yawulira okukaaba kuno n’akyusa ekirowoozo kye.

N’agamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”

47:4 a Is 66:16 b Ma 32:22Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu. 57:5 nny 1-2; Yo 2:17Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”

67:6 Yon 3:10Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, n’akyusa ekirowoozo kye.

Era n’agamba nti, “Era n’ekyo tekijja kubeerawo.”

7Ate Mukama n’andaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe. 87:8 a Yer 1:11, 13 b Is 28:17; Kgb 2:8; Am 8:2 c 2Bk 21:13 d Yer 15:6; Ez 7:2-9Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”

Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.”

Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.

97:9 a Lv 26:31 b 2Bk 15:9; Is 63:18; Kos 10:8“Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa,

n’ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo.

N’ennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa n’ekitala.”

Amosi Ne Amaziya

107:10 a 1Bk 12:32 b 2Bk 14:23 c Yer 38:4 d Yer 26:8-11Awo Amaziya kabona w’e Beseri n’aweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ng’agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.” 11Bw’ati Amosi bw’ayogera nti,

“ ‘Yerobowaamu alifa kitala,

ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse

bave mu nsi yaboobwe.’ ”

127:12 Mat 8:34Awo Amaziya n’alyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi7:12 omulabi ye nnabbi. Ddayo mu nsi ya Yuda gy’oba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo. 137:13 Am 2:12; Bik 4:18Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”

147:14 2Bk 2:5; 4:38Amosi n’amuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli. 157:15 a 2Sa 7:8 b Yer 7:1-2; Ez 2:3-4Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo n’aŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’ ” 167:16 Ez 20:46; Mi 2:6Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti,

“ ‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri,

era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’ 

177:17 a Kos 4:13 b 2Bk 17:6; Ez 4:13; Kos 9:3Mukama kyava akuddamu nti,

“ ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga

era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala.

Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala

naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri.

Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse,

ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’ ”