New Amharic Standard Version

ምሳሌ 26:1-28

1በረዶ በበጋ፣ ዝናብ በመከር እንደማያስፈልግ ሁሉ፣

ክብርም ለተላላ አይገባውም።

2ክንፎቿን እንደምታርገበግብ ድንቢጥ ወይም ቱር እንደምትል ጨረባ፣

ከንቱ ርግማንም በማንም ላይ አይደርስም።

3ለፈረስ አለንጋ፣ ለአህያ መሸበቢያ፣

ለተላላ ጀርባም በትር ይገባዋል።

4ቂልን እንደ ቂልነቱ አትመልስለት፤

አለዚያ አንተም ራስህ እንደ እርሱ ትሆናለህ።

5ቂልን እንደ ቂልነቱ መልስለት፤

አለዚያ ጠቢብ የሆነ ይመስለዋል።

6በተላላ እጅ መልእክትን መላክ፣

የገዛ እግርን እንደ መቊረጥ ወይም ዐመፃን እንደ መጋት ነው።

7በቂል አንደበት የሚነገር ምሳሌ፣

ሰላላ የሽባ ሰው እግር ነው።

8ለተላላ ክብር መስጠት፣

በወንጭፍ ላይ ድንጋይ እንደ ማሰር ነው።

9በአላዋቂ አንደበት የሚነገር ምሳሌ፣

በሰካራም እጅ እንዳለ እሾኽ ነው።

10ቂልን ወይም የትኛውንም ዐላፊ አግዳሚ የሚቀጥር፣

ፍላጻውን በነሲብ እየወረወረ ወገኖቹን እንደሚያቈስል ቀስተኛ ነው።

11ውሻ ወደ ትፋቱ እንደሚመለስ ሁሉ፣

ተላላም ቂልነቱን ይደጋግማል።

12ራሱን እንደ ጠቢብ የሚቈጥረውን ሰው አይተሃልን?

ከእርሱ ይልቅ ለተላላ ተስፋ አለው።

13ሰነፍ፣ “በመንገድ ላይ አንበሳ አለ፤

አስፈሪ አንበሳ በአውራ ጐዳና ላይ ይጐማለላል” ይላል።

14መዝጊያ በማጠፊያው ላይ እንደሚዞር፣

ሰነፍም በዐልጋው ላይ ይገላበጣል።

15ሰነፍ እጁን ወጭት ውስጥ ያጠልቃል፤

ወደ አፉ ለመመለስ ግን እጅግ ይታክታል።

16በማስተዋል መልስ ከሚሰጡ ከሰባት ሰዎች ይልቅ፣

ሰነፍ ራሱን ጠቢብ አድርጎ ይቈጥራል።

17በሌሎች ጠብ ጥልቅ የሚል መንገደኛ፣

የውሻ ጆሮ እንደሚይዝ ሰው ነው።

18ትንታግ ወይም የሚገድል ፍላጻ እንደሚወረውር ዕብድ፣

19“ቀልዴን እኮ ነው” እያለ

ባልንጀራውን የሚያታልል ሰውም እንደዚሁ ነው።

20ዕንጨት ከሌለ እሳት ይጠፋል፤

አሾክሻኪ ከሌለም ጠብ ይበርዳል።

21ከሰል ፍምን፣ ዕንጨትም እሳትን እንደሚያቀጣጥል፣

አዋኪ ሰውም ጠብን ያባብሳል።

22የሐሜተኛ ቃል እንደ ጣፋጭ ጒርሻ ነው፤

ወደ ሰው ውስጠኛው ክፍል ዘልቆ ይገባል።

23ክፋትን በልብ ቋጥሮ ለስላሳ ቃል የሚናገር ከንፈር፣

በብር ፈሳሽ26፥23 ወይም በሚያብለጨልጭ ነገር እንደ ተለበጠ የሸክላ ዕቃ ነው።

24ተንኰለኛ በከንፈሩ ይሸነግላል፤

በልቡ ግን ክፋትን ይቋጥራል።

25ንግግሩ ማራኪ ቢሆንም አትመነው፤

ሰባት ርኵሰት ልቡን ሞልቶታልና።

26ተንኰሉ በሽንገላው ይሸፈን ይሆናል፤

ነገር ግን ክፋቱ በጉባኤ ይገለጣል።

27ጒድጓድ የሚምስ ራሱ ይገባበታል፤

ድንጋይ የሚያንከባልልም ተመልሶ በላዩ ላይ ይገለበጥበታል።

28ሐሰተኛ ምላስ የጐዳቻቸውን ትጠላለች፤

ሸንጋይ አንደበትም ጥፋትን ታመጣለች።

Luganda Contemporary Bible

Engero 26:1-28

Omusirusiru n’Obusirusiru bwe

126:1 a 1Sa 12:17 b nny 8; Nge 19:10Ng’omuzira bwe gutasaana mu biseera bya kusiga oba enkuba mu makungula,

n’ekitiibwa bwe kitasaanira musirusiru.

226:2 Kbl 23:8; Ma 23:5Ng’enkazaluggya ewabye, ng’akataayi akabuukabuuka,

ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.

326:3 a Zab 32:9 b Nge 10:13Embooko ya mbalaasi, n’olukoba lwa ndogoyi,

n’omuggo gusaanira migongo gya basirusirusiru.

426:4 nny 5; Is 36:21Toyanukulanga musirusiru ng’obusirusiru bwe, bwe buli,

oleme kubeera nga ye.

526:5 nny 4; Nge 3:7Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe, bwe buli,

si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.

626:6 Nge 10:26Omuntu atuma omusirusiru,

aba ng’eyeetemyeko ebigere n’anywa obusungu.

726:7 nny 9Ng’amagulu g’omulema bwe galengejja obulengezzi,

bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’omusirusiru.

826:8 nny 1Ng’atadde ejjinja mu nvuumuulo bw’aba,

n’oyo awa omusirusiru ekitiibwa bw’atyo bw’abeera.

926:9 nny 7Ng’eriggwa bwe lifumita mu mukono gw’omutamiivu,

bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’abasirusiru.

10Ng’omulasi w’akasaale, amala galasa buli gw’asanze,

bw’abeera bw’atyo apangisa omusirusiru oba omuyise yenna gw’asanze.

1126:11 a 2Pe 2:22* b Kuv 8:15; Zab 85:8Ng’embwa bw’eddira ebisesemye by’ayo,

bw’atyo bw’abeera omusirusiru adda mu nsobi ze.

1226:12 a Nge 3:7 b Nge 29:20Olaba omuntu omugezi mu maaso ge ye?

Omusirusiru alina essuubi okumusinga.

1326:13 a Nge 6:6-11; 24:30-34 b Nge 22:13Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma,

empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”

1426:14 Nge 6:9Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo,

bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.

1526:15 Nge 19:24Omugayaavu akoza n’engalo ze mu kibya,

naye olw’obunafu bwe n’atasobola kuzizza mu kamwa.

16Omugayaavu alowooza nti mugezi,

okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.

17Ng’asika embwa amatu,

omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.

18Ng’omulalu akasuka

emmuli ez’omuliro oba obusaale obutta,

19bw’abeera omuntu alimba munne,

n’agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”

2026:20 Nge 22:10Enku bwe zibula omuliro guzikira,

awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.

2126:21 Nge 14:17; 15:18Ng’amanda ku gannaago agaliko omuliro, oba enku ku muliro,

bw’abeera omusajja omuyombi mu kuwakula entalo.

2226:22 Nge 18:8Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,

bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.

23Ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere,

bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.

2426:24 a Zab 31:18 b Zab 41:6; Nge 10:18; 12:20Omuntu ow’enkwe alimbalimba n’emimwa gye

naye ng’aterese obulimba mu mutima gwe.

2526:25 a Zab 28:3 b Yer 9:4-8Wadde nga by’ayogera bisanyusa, tomukkiririzaamu

kubanga eby’emizizo musanvu bijjuza mu mutima gwe.

26Enkwe ze ziyinza okubikkibwa mu kubuzaabuuza,

naye obutali butuukirivu bwe buliggyibwayo mu lukuŋŋaana.

2726:27 a Zab 7:15 b Es 6:13 c Es 2:23; 7:9; Zab 35:8; 141:10; Nge 28:10; 29:6; Is 50:11Buli asima ekinnya y’alikigwamu,

n’oyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.

2826:28 Zab 12:3; Nge 29:5Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita,

n’akamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.