New Amharic Standard Version

መክብብ 9:1-18

የሁሉም የመጨረሻ ዕጣ ፈንታ

1ስለዚህ ይህን ሁሉ በልቤ አስቤ እንዲህ አልሁ፤ ጻድቃንና ጠቢባን የሚሠሩትም ሥራ በእግዚአብሔር እጅ ነው፤ ነገር ግን ፍቅር ይሁን ወይም ጥላቻ የሚጠብቀውን ማንም አያውቅም። 2ጻድቃንና ኀጥአን፣ ደጎችና ክፉዎች9፥2 ሰብዓ ሊቃናት (አቍዊላ) ቨልጌትና ሱርስት እንዲሁ ሲሆኑ ዕብራይስጡ ግን ክፉዎች የሚለው የለም፣ ንጹሓንና ርኩሳን፣ መሥዋዕት የሚያቀርቡና የማያቀርቡ የሁሉም የመጨረሻ ዕጣ ፈንታ አንድ ነው።

ለደጉ ሰው እንደሆነው ሁሉ፣

ለኀጢአተኛውም እንዲሁ ነው፤

ለሚምሉት እንደሆነው ሁሉ፣

መሐላን ለሚፈሩትም እንዲሁ ነው።

3ከፀሓይ በታች በሁሉም ላይ የሚሆነው ክፋት ይህ ነው፤ የሁሉም የመጨረሻ ዕጣ ፈንታ አንድ ነው። በዚህም ላይ የሰዎች ልብ በክፋት የተሞላ ነው፤ በሕይወት እያሉም በልባቸው ውስጥ እብደት አለ፤ በመጨረሻም ወደ ሙታን ይወርዳሉ። 4በሕያዋን መካከል ያለ ማንኛውም ሰው ተስፋ አለው9፥4 ወይም ታዲያ የሚመረጠው ምንድ ነው? ለሕያዋን ሁሉ ተስፋ አለ፤ በሕይወት ያለ ውሻ ከሞተ አንበሳ ይሻላልና!

5ሕያዋን እንደሚሞቱ ያውቃሉና፤

ሙታን ግን ምንም አያውቁምና፤

መታሰቢያቸው ይረሳል፤

ምንም ዋጋ የላቸውም።

6ፍቅራቸው፣ ጥላቻቸው፣

ቅናታቸውም ከጠፋ ቈይቶአል፤

ከፀሓይ በታች በሚሆነው ነገር ሁሉ፣

ፈጽሞ ዕጣ ፈንታ አይኖራቸውም።

7ሂድ፤ ምግብህን በደስታ ብላ፤ ወይንህንም ልብህ ደስ ብሎት ጠጣ፤ ባደረግኸው ነገር እግዚአብሔር ደስ ብሎታልና። 8ዘወትር ልብስህ ነጭ ይሁን፤ ራስህንም ዘወትር በዘይት ቅባ። 9እግዚአብሔር ከፀሓይ በታች በሰጠህ በዚህ ትርጒም የለሽ የሕይወት ዘመን ሁሉ፣ ከንቱ በሆኑትም ቀኖችህ ሁሉ ከምትወዳት ሚስትህ ጋር ደስ ይበልህ፤ በሕይወትህና ከፀሓይ በታች በምትደክምበት ነገር ሁሉ ይህ ዕድል ፈንታህ ነውና። 10እጅህ የሚያገኘውን ሥራ ሁሉ በሙሉ ኀይልህ ሥራው፤ ልትሄድበት ባለው መቃብር9፥10 በዕብራይስጥ ሲኦል ማለት ነው ውስጥ መሥራትም ሆነ ማቀድ፣ ዕውቀትም ሆነ ጥበብ የለምና።

11ሌላም ነገር ከፀሓይ በታች አየሁ፡

ሩጫ ለፈጣኖች፣

ውጊያም ለኀያላን አይደለም፤

እንጀራ ለጥበበኞች፣

ወይም ባለጠግነት ለብልሆች፣

ወይም ሞገስ ለዐዋቂዎች አይሆንም፤

ጊዜና ዕድል ግን ሁሉን ይገናኛቸዋል።

12ደግሞም የራሱን ጊዜ የሚያውቅ ሰው የለም፤

ዓሦች በክፉ መረብ እንደሚያዙ፣

ወይም ወፎች በወጥመድ እንደሚጠመዱ፣

ሰዎችም ሳያስቡት በሚመጣባቸው፣

በክፉ ጊዜ ይጠመዳሉ።

ጥበብ ከሞኝነት ይበልጣል

13እንዲሁም እጅግ ያስገረመኝን ይህን የጥበብ ምሳሌ ከፀሓይ በታች አየሁ፦ 14ጥቂት ሰዎች የሚኖሩባት አንዲት ትንሽ ከተማ ነበረች፤ አንድ ኀያል ንጉሥም መጣባት፤ ከበባት፤ በላይዋም ትልቅ ምሽግ ሠራባት። 15በዚያችም ከተማ ጥበበኛ የሆነ አንድ ድኻ ሰው ይኖር ነበር፤ በጥበቡም ከተማዋን አዳናት፤ ነገር ግን ያን ድኻ ማንም አላስታወሰውም። 16ስለዚህ፣ “ጥበብ ከኀይል ይበልጣል” አልሁ፤ ሆኖም የድኻው ጥበብ ተንቆአል፤ ቃሉም አልተሰማም።

17ሞኞችን ከሚያስተዳድር ገዥ ጩኸት ይልቅ፣

ጠቢብ በዝግታ የሚናገረው ቃል ይደመጣል።

18ጥበብ ከጦር መሣሪያ ይበልጣል፤

ነገር ግን አንድ ኀጢአተኛ ብዙ መልካም ነገርን ያጠፋል።

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 9:1-18

Ekkubo Bonna lye Bakwata

19:1 Ma 33:3; Yob 12:10; Mub 10:14Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde. 29:2 Yob 9:22; Mub 2:14; 6:6; 7:2Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu.

Nga bwe kiri eri omuntu omulungi,

era bwe kiri n’eri omwonoonyi;

Nga bwe kiri eri abo abalayira,

era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira.

39:3 a Yob 9:22; Mub 2:14 b Yer 11:8; 13:10; 16:12; 17:9 c Yob 21:26Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe. 4Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!

59:5 a Yob 14:21 b Zab 9:6 c Mub 1:11; 2:16; Is 26:14Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa,

naye abafu tebaliiko kye bamanyi:

tebakyagasa

wadde okujjukirwa.

69:6 Yob 21:21Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe,

n’obuggya bwabwe nga bizikiridde;

nga tebakyetaba mu ebyo byonna

ebikolebwa wansi w’enjuba.

79:7 a Kbl 6:20 b Mub 2:24; 8:15Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. 89:8 Zab 23:5; Kub 3:4Yambalanga engoye ennyonjo9:8 Okwambala engoye ennyonjo nga njeru n’okwesiiga amafuta, y’engeri Abayudaaya gye baakuumangamu ennaku zaabwe enkulu., era weesiigenga n’ebyakaloosa. 99:9 a Nge 5:18 b Yob 31:2Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. 109:10 a 1Sa 10:7 b Mub 11:6; Bar 12:11; Bak 3:23 c Kbl 16:33 d Mub 2:24Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

119:11 a Am 2:14-15 b Yob 32:13; Is 47:10; Yer 9:23 c Mub 2:14 d Ma 8:18Ate nalaba nga wansi w’enjuba,

ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka,

era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo,

ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira;

wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo

aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.

129:12 a Nge 29:6 b Zab 73:22; Mub 2:14; 8:7Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.

Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,

oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,

n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,

ebibatuukako nga tebabyetegekedde.

139:13 2Sa 20:22Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino: 14waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene. 159:15 Lub 40:14; Mub 1:11; 2:16; 4:13Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira. 169:16 Nge 21:22; Mub 7:19Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.

17Naye ne bwe kiba kityo, ebigambo eby’ekimpowooze ebiva mu kamwa k’omugezi bissibwako omwoyo,

okusinga okuleekaana kw’omufuzi w’abasirusiru.

189:18 nny 16Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo,

naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.