The Message

Matthew 18

Whoever Becomes Simple Again

1At about the same time, the disciples came to Jesus asking, “Who gets the highest rank in God’s kingdom?”

2-5 For an answer Jesus called over a child, whom he stood in the middle of the room, and said, “I’m telling you, once and for all, that unless you return to square one and start over like children, you’re not even going to get a look at the kingdom, let alone get in. Whoever becomes simple and elemental again, like this child, will rank high in God’s kingdom. What’s more, when you receive the childlike on my account, it’s the same as receiving me.

6-7 “But if you give them a hard time, bullying or taking advantage of their simple trust, you’ll soon wish you hadn’t. You’d be better off dropped in the middle of the lake with a millstone around your neck. Doom to the world for giving these God-believing children a hard time! Hard times are inevitable, but you don’t have to make it worse—and it’s doomsday to you if you do.

8-9 “If your hand or your foot gets in the way of God, chop it off and throw it away. You’re better off maimed or lame and alive than the proud owners of two hands and two feet, godless in a furnace of eternal fire. And if your eye distracts you from God, pull it out and throw it away. You’re better off one-eyed and alive than exercising your twenty-twenty vision from inside the fire of hell.

10 “Watch that you don’t treat a single one of these childlike believers arrogantly. You realize, don’t you, that their personal angels are constantly in touch with my Father in heaven?

Work It Out Between You

12-14 “Look at it this way. If someone has a hundred sheep and one of them wanders off, doesn’t he leave the ninety-nine and go after the one? And if he finds it, doesn’t he make far more over it than over the ninety-nine who stay put? Your Father in heaven feels the same way. He doesn’t want to lose even one of these simple believers.

15-17 “If a fellow believer hurts you, go and tell him—work it out between the two of you. If he listens, you’ve made a friend. If he won’t listen, take one or two others along so that the presence of witnesses will keep things honest, and try again. If he still won’t listen, tell the church. If he won’t listen to the church, you’ll have to start over from scratch, confront him with the need for repentance, and offer again God’s forgiving love.

18-20 “Take this most seriously: A yes on earth is yes in heaven; a no on earth is no in heaven. What you say to one another is eternal. I mean this. When two of you get together on anything at all on earth and make a prayer of it, my Father in heaven goes into action. And when two or three of you are together because of me, you can be sure that I’ll be there.”

A Story About Forgiveness

21 At that point Peter got up the nerve to ask, “Master, how many times do I forgive a brother or sister who hurts me? Seven?”

22 Jesus replied, “Seven! Hardly. Try seventy times seven.

23-25 “The kingdom of God is like a king who decided to square accounts with his servants. As he got under way, one servant was brought before him who had run up a debt of a hundred thousand dollars. He couldn’t pay up, so the king ordered the man, along with his wife, children, and goods, to be auctioned off at the slave market.

26-27 “The poor wretch threw himself at the king’s feet and begged, ‘Give me a chance and I’ll pay it all back.’ Touched by his plea, the king let him off, erasing the debt.

28 “The servant was no sooner out of the room when he came upon one of his fellow servants who owed him ten dollars. He seized him by the throat and demanded, ‘Pay up. Now!’

29-31 “The poor wretch threw himself down and begged, ‘Give me a chance and I’ll pay it all back.’ But he wouldn’t do it. He had him arrested and put in jail until the debt was paid. When the other servants saw this going on, they were outraged and brought a detailed report to the king.

32-35 “The king summoned the man and said, ‘You evil servant! I forgave your entire debt when you begged me for mercy. Shouldn’t you be compelled to be merciful to your fellow servant who asked for mercy?’ The king was furious and put the screws to the man until he paid back his entire debt. And that’s exactly what my Father in heaven is going to do to each one of you who doesn’t forgive unconditionally anyone who asks for mercy.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Matayo 18

Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu

1Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”

Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.

“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”

“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”

Olugero lw’Endiga Eyabula

10 “Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11 Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula[a].

12 “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13 Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14 Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”

Owooluganda Okusonyiwa Muganda we

15 “Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. 16 Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. 17 Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.

18 “Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.

19 “Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. 20 Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

Olugero lw’Omuddu Atasonyiwa

21 Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?”

22 Yesu n’amuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”

23 Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be. 24 Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta[b] omutwalo gumu. 25 Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.

26 “Naye omuddu oyo n’agwa wansi mu maaso ga mukama we, n’amwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’

27 “Mukama we n’asaasira omuddu oyo n’amusonyiwa ebbanja lyonna!

28 “Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali[c] kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’

29 “Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’

30 “Naye amubanja n’agaana okumuwuliriza, n’amuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. 31 Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye.

32 “Awo mukama we n’atumya omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde, 33 naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’ 34 Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna.

35 “Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”

Footnotes

  1. 18:11 Olunyiriri luno lwateekebwamu kubanga ebigambo ebyo byali ne mu Luk 19:10. Kyokka nga mu biwandiiko eby’Oluyonaani ebyedda tebyalimu
  2. 18:24 Ettalanta ke kasiimo omukozi k’afuna oluvannyuma lw’okukolera emyaka kkumi n’ettaano
  3. 18:28 Eddinaali eddinaali emu y’empeera ey’olunaku olumu