Abalabe ba Isirayiri basalirwa omusango
12:1 a 2By 20:4; Yo 1:14 b Yer 3:3; 6:15Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,
mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
22:2 a Is 17:13; Kos 13:3 b Kgb 4:11ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
32:3 a Am 5:6 b Zab 45:4; Am 5:14-15 c Zab 57:1Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,
abakola by’alagira;
munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;
mpozzi mulikwekebwa
ku lunaku olw’obusungu bwe.
Obubaka eri Abafirisuuti
42:4 Am 1:6, 7-8; Zek 9:5-7Gaza kirirekebwawo,
ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
ne Ekuloni kirisimbulibwa.
52:5 a Ez 25:16 b Am 3:1 c Is 14:30Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
so tewaliba asigalawo.
62:6 Is 5:17Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera
luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
72:7 Zab 126:4; Yer 32:44Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
n’akomyawo obugagga bwabwe.
Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni
82:8 a Yer 48:27 b Ez 25:3Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu
n’okusekerera kw’Abamoni
kwe bavumye abantu bange
ne batiisatiisa ensi yaabwe.
92:9 a Is 15:1–16:14; Yer 48:1-47 b Ma 29:23 c Yer 49:1-6; Ez 25:1-7 d Is 11:14 e Am 2:1-3Kale nga bwe ndi omulamu,
bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,
ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,
n’abaana ba Amoni nga Ggomola,
ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,
amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,
n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.
102:10 a Is 16:6 b Yer 48:27Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,
kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
112:11 a Yo 2:11 b Zef 1:4 c Zef 3:9Mukama aliba wa ntiisa gye bali
bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.
Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,
buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.
Obubaka eri Abaesiyopiya
122:12 a Is 18:1; 20:4 b Yer 46:10Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.
Obubaka eri Obwasuli
132:13 a Nak 1:1 b Mi 5:6Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono
n’azikiriza Obwasuli;
n’afuula Nineeve amatongo
era ekikalu ng’eddungu.
142:14 Is 14:23Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
kafakalimbo ajjudde mu miryango,
n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
152:15 a Is 32:9 b Is 47:8 c Ez 28:2 d Nak 3:19Kino kye kibuga ekya kyetwala,
ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,
Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:
nga kifuuse bifulukwa,
ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!
Buli muntu akiyitako aneesoozanga
n’akinyoomoola.