Zeffaniya 1 – LCB & NIRV

Luganda Contemporary Bible

Zeffaniya 1:1-18

1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.

Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda

2“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.

3“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;

ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga

n’ebyennyanja;

ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;

bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”

bw’ayogera Mukama.

4Ndigololera ku Yuda omukono gwange,

era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;

era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,

bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,

5abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu

ku nnyumba waggulu,

ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama,

ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,

6abo abadda emabega obutagoberera Mukama,

wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.

7Siriikirira awali Mukama Katonda,

kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi.

Mukama ategese ssaddaaka,

era atukuzizza abagenyi be.

8Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama,

ndibonereza abakungu

n’abaana ba Kabaka,

n’abo bonna abambadde

ebyambalo ebitasaana.

9Awo ku lunaku olwo ndibonereza

abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,

n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe

ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.

10Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama,

eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja,

okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri,

n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.

11Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale;

abasuubuzi bammwe bonna zibasanze,

n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.

12Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya,

mbonereze abo bonna abalagajjavu

abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa,

abalowooza nti Mukama

talibaako ne ky’akolawo.

13Obugagga bwabwe bulinyagibwa,

n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe.

Ne bwe balizimba ennyumba

tebalizituulamu,

era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo

tebalinywa wayini wamu.

Olunaku lwa Mukama Olukulu

14Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;

ddala lunaatera okutuuka.

Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,

n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.

15Olunaku olwo lunaku lwa busungu,

lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,

lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,

olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,

olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;

16olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo

ku bibuga ebiriko ebigo

n’eri eminaala emigulumivu.

17Ndireeta, obuyinike ku bantu,

batambule ng’abazibe b’amaaso,

kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,

omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,

n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.

18Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe

tebiriyinza kubataasa

ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.

Ensi yonna erizikirizibwa

omuliro gw’obuggya bwe,

era alimalirawo ddala

abo bonna abali mu nsi.

New International Reader’s Version

Zephaniah 1:1-18

1A message from the Lord came to Zephaniah, the son of Cushi. Cushi was the son of Gedaliah. Gedaliah was the son of Amariah. Amariah was the son of King Hezekiah. The Lord spoke to Zephaniah during the rule of Josiah. He was king of Judah and the son of Amon.

The Lord Will Judge the Whole World

2“I will sweep away everything

from the face of the earth,”

announces the Lord.

3“I will destroy people and animals alike.

I will wipe out the birds in the sky

and the fish in the waters.

I will destroy the statues of gods that cause evil people to sin.

That will happen when I destroy all human beings on the face of the earth,”

announces the Lord.

4“I will reach out my powerful hand against Judah.

I will punish all those who live in Jerusalem.

I will destroy from this place

what is left of Baal worship.

The priests who serve other gods

will be removed.

5I will destroy those who bow down on their roofs

to worship all the stars.

I will destroy those who make promises

not only in my name but also in the name of Molek.

6I will destroy those who stop following the Lord.

They no longer look to him or ask him for advice.

7Be silent in front of him.

He is the Lord and King.

The day of the Lord is near.

The Lord has prepared a sacrifice.

He has set apart for himself

the people he has invited.

8When the Lord’s sacrifice is ready to be offered,

I will punish the officials and the king’s sons.

I will also judge all those who follow

the practices of other nations.

9At that time I will punish

all those who worship other gods.

They fill the temples of their gods

with lies and other harmful things.

10“At that time people at the Fish Gate in Jerusalem

will cry out,” announces the Lord.

“So will those at the New Quarter.

The buildings on the hills will come crashing down

with a loud noise.

11Cry out, you who live in the market places.

All your merchants will be wiped out.

Those who trade in silver will be destroyed.

12At that time I will search Jerusalem with lamps.

I will punish those who are so contented.

They are like wine that has not been shaken up.

They think, ‘The Lord won’t do anything.

He won’t do anything good or bad.’

13Their wealth will be stolen.

Their houses will be destroyed.

They will build houses.

But they will not live in them.

They will plant vineyards.

But they will not drink the wine they produce.

14The great day of the Lord is near.

In fact, it is coming quickly.

The cries on that day are bitter.

The Mighty Warrior shouts his battle cry.

15At that time I will pour out my anger.

There will be great suffering and pain.

It will be a day of horrible trouble.

It will be a time of darkness and gloom.

It will be filled with the blackest clouds.

16Trumpet blasts and battle cries will be heard.

Soldiers will attack cities

that have forts and corner towers.

17I will bring great trouble on all people.

So they will feel their way around like blind people.

They have sinned against the Lord.

Their blood will be poured out like dust.

Their bodies will lie rotting on the ground.

18Their silver and gold

won’t save them

on the day the Lord pours out his anger.

The whole earth will be burned up

when his jealous anger blazes out.

Everyone who lives on earth

will come to a sudden end.”