Zabbuli 38 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 38:1-22

Zabbuli 38

Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

1Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,

oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.

2Kubanga obusaale bwo bunfumise,

n’omuggo gwo gunkubye nnyo.

3Obusungu bwo bundwazizza nzenna,

n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.

4Omusango gwe nzizizza guyitiridde,

gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.

5Ebiwundu byange bitanye era biwunya,

olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.

6Nkootakoota era mpweddemu ensa,

ŋŋenda nsinda obudde okuziba.

7Omugongo gunnuma nnyo,

ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.

8Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;

nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.

9Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,

n’okusinda kwange okuwulira.

10Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;

n’okulaba sikyalaba.

11Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;

ne bannange tebakyansemberera.

12Abaagala okunzita bantega emitego,

n’abo abangigganya bateesa okummalawo.

Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.

13Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;

nga kiggala, atayogera.

14Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,

atasobola kwanukula.

15Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,

onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.

16Tobakkiriza kunneeyagalirako,

oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.

17Kubanga nsemberedde okugwa,

era nga nnumwa buli kiseera.

18Ddala ddala njatula ebyonoono byange;

nnumirizibwa ekibi kyange.

19Abalabe bange bangi era ba maanyi;

n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.

20Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,

era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.

21Ayi Mukama, tonjabulira;

tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.

22Ayi Mukama Omulokozi wange,

yanguwa okumbeera.