Zabbuli 23
Zabbuli ya Dawudi.
1Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
2Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
3Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
4Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
5Onsosootolera emmere
abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe,23:5 Okusiiga omuntu amafuta ku mutwe, kaali kabonero akalaga nti omugenyi ayanirizibbwa ku mukolo.
ekikompe kyange kiyiwa.
6Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
ennaku zonna.