Zabbuli 150
1150:1 a Zab 102:19 b Zab 19:1Mutendereze Mukama!
Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
2150:2 a Ma 3:24 b Zab 145:5-6Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
3150:3 Zab 149:3Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
4150:4 a Kuv 15:20 b Is 38:20Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
5150:5 1By 13:8; 15:16Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!
6150:6 Zab 145:21Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!
Mutendereze Mukama.