Zabbuli 149 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 149:1-9

Zabbuli 149

1149:1 a Zab 33:2 b Zab 35:18Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,

mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

2149:2 a Zab 95:6 b Zab 47:6; Zek 9:9Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;

n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!

3149:3 Zab 81:2; 150:4Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,

bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.

4149:4 a Zab 35:27 b Zab 132:16Kubanga Mukama asanyukira abantu be,

n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.

5149:5 a Zab 132:16 b Yob 35:10Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;

bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

6149:6 a Zab 66:17 b Beb 4:12; Kub 1:16Batenderezenga Katonda waabwe,

bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,

7bawoolere eggwanga,

babonereze n’amawanga,

8bateeke bakabaka baago mu njegere,

n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,

9149:9 a Ma 7:1; Ez 28:26 b Zab 148:14babasalire omusango ogwabawandiikirwa.

Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.