Zabbuli 123 – LCB & TCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 123:1-4

Zabbuli 123

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1Nnyimusa amaaso gange gy’oli,

Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.

2Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;

n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we123:2 Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe,

n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,

okutuusa lw’alitusaasira.

3Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,

kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.

4Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,

n’okunyoomebwa ab’amalala.

Tagalog Contemporary Bible

Salmo 123:1-4

Salmo 123123 Salmo 123 Ang unang mga salita sa Hebreo: Ang awit habang paakyat.

Dalangin para Kahabagan

1Panginoon, dumadalangin ako sa inyo,

sa inyo na nakaupo sa inyong trono sa langit.

2Kung paanong ang alipin ay naghihintay sa ibibigay ng kanyang amo,

naghihintay din kami Panginoon naming Dios, na tulungan nʼyo at kahabagan.

3Maawa kayo sa amin Panginoon, dahil labis na ang panghahamak sa amin.

4Sobra na ang pangungutya sa amin ng mga taong hambog at walang magawa.