1Nze, Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, mpandiikira abaagalwa bonna abaayitibwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumibwa Yesu Kristo.
2Ekisa kya Katonda, n’emirembe, n’okwagala byeyongerenga mu mmwe.
Abayigiriza ab’Obulimba
3Abaagalwa, nnali neesunga nnyo okubawandiikira ku bulokozi bwaffe bwe ntyo nawalirizibwa okubawandiikira nga mbazzaamu amaanyi nga mbegayirira mulwanirire okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. 4Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka.
5Naye njagala okubajjukiza nti newaakubadde nga byonna mubimanyi, nga olunaku lumu Mukama yalokola eggwanga n’aliggya mu nsi y’e Misiri, oluvannyuma n’azikiriza abatakkiriza, 6ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira n’ebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere n’abassa mu kkomera ery’ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango. 7Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.
Okukozesa Olulimi Oluvvoola
8Mu ngeri y’emu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika. 9Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!” 10Naye kale abantu bano bavvoola kye batategeera, era okufaanana ng’ensolo obusolo bakola buli kye baagala, era ebyo bibaleetedde okuzikirira.
11Zibasanze abo! Kubanga bagoberera ekkubo lya Kayini, era bakola buli kye basobola okufunamu ensimbi okufaanana nga Balamu, era ne bajeemera Katonda nga Koola bwe yakola, noolwekyo balizikirizibwa.
12Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ez’okumanyagana, baba ng’amabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ng’ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ng’emiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa n’emirandira; 13oba ng’amayengo ag’oku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ng’emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo eky’olubeerera.
14Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako eby’obunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja n’abatukuvu be abangi ennyo. 15Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olw’ebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, n’olw’ebigambo byonna ebizibu abakozi b’ebibi bye bamwogeddeko eby’obutatya Katonda.” 16Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo eby’okweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ng’omanya nti balina kye bamwagalako.
Okugumiikiriza
17Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo ebigambo bye baayogera edda 18bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ez’oluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.” 19Abo be bo abaleeta enjawukana, ab’omubiri obubiri era abatalina Mwoyo Mutukuvu.
20Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu, 21nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.
22Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza, 23n’abalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi z’omuliro, n’abalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ng’aboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.
Okusaba okw’Okutendereza
24Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu; 25Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.
Pozdrav od Jude
1Od Jude, sluge Isusa Krista i Jakovljeva brata.
Pišem svima koji su pozvani živjeti u ljubavi Boga Oca i u skrbi Isusa Krista.
2Želim vam obilje Božje milosti, mira i ljubavi!
Opasnost od lažnih učitelja
3Ljubljeni prijatelji, kanio sam vam pisati o našemu zajedničkom spasenju, ali sada vidim da moram pisati o nečemu drugome: potaknuti vas da se borite za istinu Radosne vijesti.1:3 U grčkome: da se borite za vjeru. Tu nepromjenljivu istinu Bog je zauvijek dao svojemu svetom narodu. 4Kažem to zato što su se među vas uvukli neki bezbožnici koji govore da nam milost Božjega praštanja dopušta živjeti poročnim životom. Propast takvih već je odavno zapisana jer su se okrenuli protiv našega jedinoga Gospodara i Gospodina, Isusa Krista.
5Želim vas podsjetiti na to—iako to i sami dobro znate—da je Gospodin, pošto je iz Egipta izbavio cijeli izraelski narod, poslije uništio one koji mu nisu ostali vjerni. 6Sjetite se anđela koji su pogazili granicu ovlasti koju im je Bog dao te napustili svoje boravište. Bog ih drži okovane u paklenoj tami, gdje čekaju Dan suda. 7Ne zaboravite Sodomu i Gomoru te obližnje gradove u kojima su se ljudi toliko odavali izopačenu bludu da su pošli i za tijelom druge vrste. Ti su gradovi uništeni ognjem kao primjer kazne vječnim ognjem kojim će biti kažnjeni zlikovci.
8Tako i ti lažni učitelji, sanjari, i dalje žive pokvarenim životom, kaljaju svoje tijelo i ne priznaju Božju vlast te vrijeđaju Slavne.1:8 Vjerojatno zla nebeska bića. 9Čak ni arkanđeo Mihael, jedan od najmoćnijih anđela, nije se u prepirci s đavlom za Mojsijevo tijelo usudio izreći uvredljivu osudu, nego je samo rekao: “Gospodin te ukorio!” 10Ali ti se ljudi rugaju i vrijeđaju ono što ne razumiju. Kao nerazumne životinje, čine sve na što ih potiču tjelesni nagoni i tako srljaju u propast. 11Teško njima jer slijede primjer Kajina koji je ubio svojega brata, jer su, kao i Bileam, spremni učiniti sve za novac te će, poput Koraha, propasti zbog svoje pobune.
12Oni kaljaju vaša zajednička blagovanja kojima proslavljate ljubav Gospodnju i opasni su za vas jer na njima bestidno ugađaju sebi. Poput oblaka su koji suhoj zemlji ne donose kišu. Mnogo obećavaju, ali ništa ne daju. Oni su kao voćke koje u jesen ne donesu ploda. Već mrtve, i drugi put umiru kad se s korijenom iščupaju. 13Poput mahnitih su morskih valova što se pjene vlastitim sramotama, poput lutajućih zvijezda koje će završiti u vječitoj, mračnoj tmini.
14Patrijarh Henok, koji je živio sedam naraštaja nakon Adama, prorokovao je o takvim ljudima:
“Gle, Gospodin dolazi
s desettisućama svojih svetih.
15Osudit će bezbožnike za sva zlodjela
koja su počinili u svojoj pobuni i za sve uvrede što su ih bezbožni grešnici
izgovorili protiv njega.”
16Takvi su ljudi nezadovoljnici koji uvijek prigovaraju, a čine što god im se prohtije. Razmetljivi su hvalisavci i drugima laskaju da bi od njih izvukli korist.
Poziv na vjernost
17Dragi moji, sjetite se što su prorekli apostoli našega Gospodina Isusa Krista: 18Na koncu vremena doći će izrugivači koji će živjeti prema svojim bezbožnim požudama. 19Takvi među vama prave razdore. Žive prema tjelesnim nagonima jer nemaju u sebi Božjeg Duha.
20Ali vi, ljubljeni prijatelji, morate izgrađivati svoj život na temelju svoje svete vjere. Molite se kako vas upućuje Sveti Duh.1:20 U grčkome: molite se u Svetome Duhu. 21Očuvajte sebe u Božjoj ljubavi očekujući milosrđe našega Gospodina Isusa Krista za vječni život! 22Budite milosrdni prema onima koji se kolebaju u vjeri. 23Spašavajte ljude jer ih tako otimate iz samoga paklenog ognja. Ima i takvih kojima treba oprezno iskazivati milosrđe pazeći da njihovi grijesi i vas ne okaljaju.1:23 U grčkome: mrzeći i samu haljinu okaljanu njihovim tijelom.
Hvalospjev Bogu
24Sva slava Bogu, koji vas može očuvati da ne posrnete, koji će vas, čiste od grijeha i radosne, dovesti u svoju slavnu nazočnost. 25Sva slava jedinom Bogu Spasitelju kroz našega Gospodina Isusa Krista. Slava, veličanstvo, sila i vlast pripadali su mu prije početka vremena, pa mu tako pripadaju i danas, i zauvijek. Amen.