Yoweeri 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yoweeri 1:1-20

1Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.

2Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri,

buli ali mu nsi naye awulirize.

Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe,

oba mu biseera bya bakitammwe?

3Mukibuulire abaana bammwe,

nabo balikibuulira abaana baabwe,

nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.

4Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde,

enzige eziddirira zibirumbye,

ate ezo bye zireseewo,

enzige ento bye ziridde,

ate zino bye zireseewo,

enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!

5Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga;

mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge,

mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe

katuuse okwerabira omwenge omusu.

6Eggwanga lirumbye ensi yange,

ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika.

Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma,

n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.

7Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange,

ne limalawo emitiini gyange.

Lisusumbudde ebikuta byagyo,

byonna biri ku ttaka,

amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.

8Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,

ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.

9Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa

tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.

Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda

bakungubaga.

10Ennimiro ziweddemu ebirime;

ettaka likaze,

Emmere ey’empeke eweddewo,

omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.

11Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,

mmwe abalima emizabbibu mukaabe.

Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,

kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.

12Omuzabbibu gukaze

n’omutiini guyongobedde.

Omukomamawanga, n’olukindu ne apo

n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.

Abantu tebakyalina ssanyu.

Abantu Bayitibwa Okwenenya

13Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.

Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,

mweyale wansi awali ekyoto,

musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,

kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,

eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.

14Mulangirire okusiiba okutukuvu

n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda.

Muyite abakulu abakulembeze

n’abantu bonna ababeera mu nsi,

bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe

bamukaabirire.

15Zitusanze olw’olunaku luli!

Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde.

Lulijja, ng’okuzikiriza

okuva eri Ayinzabyonna.

16Emmere tetuweddeeko

nga tulaba?

Essanyu n’okujaguza

mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?

17Ensigo ziwotokedde

mu ttaka,

amawanika makalu

n’ebyagi by’emmere bikaze,

kubanga emmere ey’empeke eweddewo.

18Ensolo nga zisinda!

Amagana gabuliddwa amagezi;

kubanga tewali muddo,

n’endiga nazo zidooba.

19Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira,

kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira,

n’emiti gyonna egy’omu nnimiro

nagyo giyidde.

20Ensolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba,

emigga gikalidde,

ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.