Yoswa 3 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 3:1-17

Abayisirayiri Beeteekerateekera Okusomoka Omugga Yoludaani

1Mu makya ennyo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bagolokoka okuva e Sittimu, bwe baatuuka ku mugga Yoludaani ne basooka balindirira awo nga tebannagusomoka. 2Bwe waayitawo ennaku ssatu abakulembeze baabwe ne babayitaayitamu 3nga bwe babalagira nti, “Bwe munaalaba Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama Katonda wammwe, bakabona Abaleevi nga bagisitudde ne mulyoka muva mu kifo kino ne mugigoberera, 4kubanga lino ekkubo temuliyitangamu. Naye wakati wammwe nayo, mulekawo ebbanga nga lya fuuti enkumi ssatu muleme okugisemberera.”

5Awo Yoswa n’agamba Abayisirayiri nti, “Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola ebyamagero mu mmwe.” 6Ate Yoswa n’agamba bakabona nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano era mukulemberemu abantu babagoberere.” Bakabona nabo ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira.

Mukama Asuubiza Yoswa

7Mukama n’agamba Yoswa nti, “Olwa leero ŋŋenda okukugulumiza mu maaso g’Abayisirayiri bonna balyoke bamanye nti nga bwe nnali ne Musa, era bwe ntyo bwe ndi naawe. 8Bw’otyo onoolagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano nti bwe mutuuka ku mugga Yoludaani, muyimirire buyimirizi.” 9Yoswa n’ayita Abayisirayiri nti, “Musembere wano muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe. 10Olwa leero mugenda okutegeera nti Katonda omulamu ali mu mmwe, kubanga anaagobera ddala Abakanani, n’Abakiiti, n’Abakiivi, n’Abaperezi, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abayebusi mmwe nga mulaba. 11Laba, Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama w’ensi zonna y’eneebakulemberamu nga musomoka omugga guno Yoludaani. 12Kale nno mulonde abasajja kkumi na babiri okuva mu bika bya Isirayiri nga buli kika mulondamu omu omu: 13Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama w’ensi zonna, olunaalinnya ebigere byabwe mu mugga Yoludaani, amazzi agabadde gakulukuta gonna ganaayimirira ne geetuuma.”

Mukama Ayisa Abayisirayiri mu Mugga Yoludaani

14Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko y’Endagaano. 15Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani. 16Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko. 17Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约书亚记 3:1-17

走过约旦河

1约书亚清早起来,率领全体以色列人离开什亭,来到约旦河边安营,等候过河。 2过了三天,官长走遍各营,吩咐民众说: 3“你们看见做祭司的利未人抬着你们上帝耶和华的约柜出发时,就要起身跟在后面。 4这样,你们就会知道路,因为你们从来没有走过这条路。但你们要跟约柜保持九百米的距离,不要走近约柜。” 5约书亚又对民众说:“你们要洁净自己,因为明天耶和华要在你们当中行奇事。” 6约书亚又对祭司说:“抬起约柜,率领民众过河吧!”他们就抬起约柜,走在民众前面。

7耶和华对约书亚说:“从今天开始,我要使你在以色列人面前得到尊荣,让他们知道我与你同在,正如从前我跟摩西同在一样。 8你要吩咐抬约柜的祭司走到约旦河边,站在水中。” 9约书亚以色列人说:“你们要来听你们的上帝耶和华的话。 10今天你们会明白永活的上帝就在你们当中,祂必在你们面前赶走迦南人、人、希未人、比利洗人、革迦撒人、亚摩利人和耶布斯人。 11看啊,天下之主的约柜要在你们前面过约旦河。 12现在,你们要从以色列的十二支派中选出十二个人来,每支派选一人。 13当祭司抬着天下之主——耶和华的约柜一踏进约旦河,往下流的河水必会止住,形成一道水堤。”

14-15那时是收割的季节,河水高涨,淹没两岸。民众拔营准备过河的时候,抬约柜的祭司走在前头,当他们的脚刚一踏进河水, 16往下流的水立即止住了,在很远的撒拉但附近的亚当城那里涨成一道水墙。流入亚拉巴海,即盐海的水被完全截断了,民众便走到对面的耶利哥17以色列人过河的时候,抬耶和华约柜的祭司站立在河中间的干地上,直到所有人都从干地上过了约旦河。