Yoswa 14 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 14:1-15

Okugabanya ensi ebuvanjuba bwa Yoludaani

1Bino by’ebitundu Abayisirayiri bye baafuna ng’omugabo mu nsi y’e Kanani, Eriyazaali14:1 Eriyazaali Yali mutabani wa Alooni. kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika by’abaana ba Isirayiri bye baabagabira. 2Emigabo baagifunanga nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa olw’ebika omwenda n’ekitundu, 3kubanga Musa yali agabidde ebika ebibiri n’ekitundu omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani, naye Abaleevi bo teyabagabira; 4kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu14:4 Manase ne Efulayimu Yakobo yali yeetwalidde abaana ba Yusufu okuba ababe (Lub 48:5). Noolwekyo baali bateekwa okugabana ku by’obusika ng’abaana abalala bonna aba Yakobo., bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe. 5Abantu ba Isirayiri ne bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.

Kalebu Afuna Kebbulooni

6Abantu ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa e Girugaali, ne Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi n’amugamba nti, “Omanyi Mukama kye yayogera ne Musa omusajja wa Katonda e Kadesubanea ekikwata ku ggwe nange. 7Nalina emyaka amakumi ana, Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi, era namuleteera ekigambo nga bwe kyali mu mutima gwange. 8Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna. 9Era Musa yandayirira nti, ‘Ensi ebigere byo kwe biririnnya, mugabo gwo n’abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogoberedde Mukama Katonda wange n’omutima gwo gwonna.’

10“Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana! 11Nkyalina amaanyi leero nga ge nalina Musa bwe yantuma, amaanyi ge nnina leero galinga ge nalina mu kulwana, mu kufuluma ne mu kuyingira. 12Kale noolwekyo mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogera ku lunaku luli, kubanga wawulira ku olwo ng’Abanaki kwe baali n’ebibuga ebinene ebiriko enkomera. Mukama nga ye mubeezi wange, nnaabagoba nga Mukama bwe yayogera.”

13Yoswa n’amusabira omukisa n’awa Kalebu omwana wa Yefune Omukenezi Kebbulooni okuba omugabo gwe. 14Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri. 15Kebbulooni edda kyayitibwanga Kiriasualuba era Aluba ye yali omukulu asingayo mu Banaki.

Olwo ensi n’eryoka ewummula n’etebaamu ntalo.

Священное Писание

Иешуа 14:1-15

Раздел земель к западу от Иордана

1Вот земли, что исраильтяне получили в надел в земле Ханаана, которые им разделили священнослужитель Элеазар, Иешуа, сын Нуна, и главы семейств в родах Исраила. 2Их наделы были определены по жребию девяти с половиной родам, как повелел Вечный через Мусу. 3Муса дал двум с половиной родам наделы к востоку от Иордана, но не дал между остальными надела роду Леви, 4потому что от сыновей Юсуфа произошли два рода – Манасса и Ефраим. Левиты не получили земельного надела, а только города, чтобы жить в них, с пастбищами для своих отар и стад. 5И исраильтяне разделили землю, как Вечный повелел Мусе.

Хеврон отдан Халеву

6Люди из рода Иуды пришли к Иешуа в Гилгал, и Халев, сын кенезеянина Иефоннии, сказал ему:

– Ты знаешь, что в Кадеш-Барни Вечный сказал пророку Мусе обо мне и о тебе. 7Мне было сорок лет, когда Муса, раб Вечного, послал меня из Кадеш-Барни разведать землю. Я вернулся к нему с правдивыми вестями, 8но мои братья, которые ходили со мной, заставили народ пасть духом, а я от всего сердца следовал Вечному, моему Богу. 9И Муса поклялся мне в тот день: «Земля, по которой ступали твои ноги, будет уделом тебе и твоим детям навеки, потому что ты от всего сердца следовал Вечному, моему Богу»14:9 См. Втор. 1:36..

10И вот, как Вечный и обещал, Он сохранял меня в живых сорок пять лет с того времени, как Он сказал это Мусе, когда Исраил скитался в пустыне. Мне теперь восемьдесят пять лет! 11И я всё ещё так же крепок, как в тот день, когда меня посылал Муса разведать землю. У меня столько же сил для битвы, сколько было тогда. 12Итак, дай мне эти нагорья, о которых говорил в тот день Вечный. Ты сам слышал тогда, что там были анакиты (гиганты) и города у них большие и укреплённые. Может быть, Вечный будет со мной, и я прогоню их, как Вечный и сказал.

13И Иешуа благословил Халева, сына Иефоннии, и дал ему в надел Хеврон. 14С тех пор Хеврон стал наделом Халева, сына кенезеянина Иефоннии, потому что он от всего сердца следовал Вечному, Богу Исраила. 15(Прежде Хеврон назывался Кириат-Арба («город Арбы»), по имени человека, которого звали Арба. Этот Арба был самым великим среди анакитов.)

И земля успокоилась от войны.