Yoswa 13 – LCB & HCV

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 13:1-33

Amawanga Agaali Tegannawangulwa

1Awo Yoswa13:1 Yoswa yali wakati w’emyaka kyenda n’ekikumi, ate Kalebu ye ng’aweza emyaka kinaana mu etaano bwe yali ng’akaddiye ng’amaze emyaka mingi. Mukama n’amugamba nti, “Okaddiye omaze emyaka mingi naye, wakyaliwo ensi nnyingi nnyo ez’okuwangula.

2“Zino z’ensi ezikyaliwo:

“ensi yonna ey’Abafirisuuti n’Abaseguli 3okuva ku mugga Sikoli oguli ebuvanjuba wa Misiri, n’okwambukira ddala ku nsalo y’e Ekuloni emanyiddwa nga ey’Abakanani, eriyo abafuzi bataano ab’Abafirisuuti, ow’e Gaza, n’ow’e Asudodi, n’ow’e Asukulooni, n’ow’e Gaasi n’ow’e Ekuloni awamu n’Abavi.

4Okuva mu bukiikaddyo ensi yonna ey’Abakanani, ne Meyala ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey’Abamoli,

5n’ensi y’Abagebali,

ne Lebanooni yonna, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’okuva ku Baalugadi wansi w’olusozi Kerumooni okutuuka w’oyingirira e Kamasi.

6“N’abantu bonna ab’omu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira. 7Noolwekyo ojja kugigabanya ng’omugabo eri ebika omwenda era n’ekitundu ky’ekika kya Manase.”

Ensi Ebuvanjuba bwa Yoludaani

8Ekitundu ekirala ekya Manase, n’Abalewubeeni n’Abagaadi ne baweebwa omugabo gwabwe, Musa bwe yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagabira.

9Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni; 10n’ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo y’abaana ba Amoni.

11Era kyatwaliramu Gireyaadi, n’ekitundu ky’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’olusozi lwonna Kerumooni ne Basani yonna okutuukira ddala ku Saleka. 12Obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyali afuga mu Asutaloosi ne mu Ederei, ye yali asigaddewo yekka ku Balefa, bwawangulwa Musa n’atwala ensi yaabwe. 13Naye abaana ba Isirayiri tebaawangula Bagesuli wadde Abamaakasi, bwe kityo Abagesuli n’Abamaakasi ne babeera wakati mu bo ne leero.

14Ekika kya Leevi kyokka Musa ky’ataawa mugabo, ebiweebwayo ebyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda wa Isirayiri, gwe mugabo gwe nga bwe yamugamba.

Ensi ya Lewubeeni

15Musa yagabira ekika ky’abaana ba Lewubeeni ng’enju zaabwe bwe zaali:

16Ensalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba, 17ne Kesuboni, n’ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi, ne Diboni ne Bamosi Baali, ne Besubaalumyoni; 18ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; 19ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw’Ekiwonvu, 20ne Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besu Yesimosi, 21n’ebibuga byonna eby’omu lusenyi, n’obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugira mu Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n’abaami abaali bafuga ab’e Midiyaani, eri ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, n’abalangira ba Sikoni abaabeeranga mu nsi. 22Era ne mu abo be batta n’ekitala, abaana ba Isirayiri battiramu n’omulaguzi Balamu omwana wa Byoli. 23Era n’ensalo y’abaana ba Lewubeeni yali omugga Yoludaani. Ebibuga n’ebyalo byamu Musa yabiwa abaana ba Lewubeeni okuba omugabo gwabwe.

Ensi y’Abagaadi

24Musa yagabira ekika kya Gaadi omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali:

25Ettaka lyabwe lyali Yazeri, n’ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n’ekitundu ky’ensi y’abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri okumpi ne Labba, 26n’okuva e Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu, era n’okuva ku Makanayimu okutuuka mu nsi y’e Debiri, 27ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besu Nimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo ekyobwakabaka bwa Sikoni kabaka ow’e Kesuboni, Yoludaani n’ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw’ennyanja ey’e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba.

28Eyo y’ensi eyafuuka omugabo gw’abaana ba Gaadi ng’enju zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byamu.

Ensi y’Abamanase

29Musa n’awa ekitundu ky’ekika kya Manase omugabo gwabwe, abaana ba Manase ne bagabirwa omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali.

30N’ensalo yaabwe ng’eya Makanayimu, n’eyita mu Basani n’obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n’ebibuga ebya Yayiri, ebiri mu Basani ebibuga nkaaga; 31n’ekitundu ekimu ekya Gireyaadi ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby’obwakabaka bwa Ogi mu Basani byali b’abaana ba Makiri omwana wa Manase, ekitundu eky’abaana ba Makiri ng’enju zaabwe bwe zaali.

32Ogwo gwe mugabo Musa gwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ebuvanjuba bwa Yeriko. 33Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabasuubiza.

Hindi Contemporary Version

यहोशू 13:1-33

कुलों में कनान का विभाजन

1जब यहोशू बहुत बूढ़े हो चुके थे, तब याहवेह ने उनसे यह कहा: “तुम बूढ़े हो चुके हो, और भूमि का एक बड़ा अंश अब भी तुम्हारें अधिकार में नहीं आया हैं.

2“वह देश जो रह गए है:

“फिलिस्तीनियों की समस्त भूमि तथा गेशूरियों का देश; 3मिस्र के पूर्व में स्थित शीहोर से लेकर उत्तर में एक्रोन की सीमा तक, जो कनान देश माना जाता था, हालांकि यह प्रदेश फिलिस्तीनियों के पांच शासकों के कब्जे में था. उनके नगर थे: गाज़ा, अशदोद, अश्कलोन, गाथ,

एक्रोन; तथा दक्षिण में अव्वी, 4कनानियों का पूरा देश तथा मेआराह,

जो सीदोनियों का राज्य था, यह अमोरियों के अफेक की सीमा तक फैला था;

5गिबलियों का देश लबानोन,

बाल-गाद से नीचे की ओर हरमोन पर्वत से लेकर लबो-हामाथ तक.

6“मैं इस्राएलियों के सामने से लबानोन के पर्वतीय क्षेत्र के पूरे निवासियों को, जो मिसरेफोत-मयिम तक बसे हैं, सीदोनियों को, सबको भगा दूंगा. और मेरे कहे अनुसार यह देश इस्राएलियों को मीरास में दिया जायेगा, 7और यह देश नौ गोत्रों तथा मनश्शेह के आधा गोत्र को दे मीरास में दिया जाएगा.”

यरदन के पूर्व की सीमाएं

8मनश्शेह के आधा गोत्र के साथ रियूबेन तथा गाद के गोत्रों ने यरदन के पूर्व में मोशेह द्वारा अपना हिस्सा ले लिया, ठीक जैसा याहवेह के सेवक मोशेह ने उन्हें दिया था:

9आरनोन घाटी की सीमा तक अरोअर से तथा उस नगर से, जो घाटी के बीच में है, तथा मेदेबा से लेकर दीबोन तथा पूरे पठार तक; 10अमोरियों का राजा, जो हेशबोन में शासन करता था, अम्मोन की सीमा तक उसके सब नगर;

11गिलआद, गेशूरियों तथा माकाहथियों का पूरा देश; पूरा हरमोन पर्वत तथा सलेकाह तक पूरा बाशान; 12बाशान में ओग का, जो अश्तारोथ तथा एद्रेइ में राज करता था और रेफाइम में केवल वही बच गया था; क्योंकि मोशेह ने उनको मारकर उनकी प्रजा को देश से निकाल दिया था. 13लेकिन इस्राएल वंश ने गेशूरियों अथवा माकाहथियों को देश से बाहर नहीं निकाला था. आज तक वे इस्राएलियों के बीच ही रह रहे हैं.

14मोशेह ने केवल लेवी के गोत्र को कोई हिस्सा नहीं दिया. इस्राएल के परमेश्वर याहवेह के आदेश के अनुसार, उनके लिए चढ़ाये जानेवाली अन्‍नबलि ही उनका हिस्सा हैं.

15मोशेह ने रियूबेन गोत्र को उनके कुलों के अनुसार हिस्सा दिया:

16अर्थात् आरनोन कि घाटी की सीमा से लगे हुए अरोअर, जिसमें वह नगर भी है, और जो घाटी के बीच में है, उसमें मेदेबा का पूरा मैदान शामिल है; 17हेशबोन तथा मैदानी क्षेत्र के नगर ये हैं: दीबोन, बामोथ-बाल तथा बेथ-बाल-मेओन, 18यहत्स, केदेमोथ तथा मेफाअथ 19किरयथाईम, सिबमाह, ज़ेरेथ-शहर, जो घाटी की पहाड़ी पर है, 20बेथ-पिओर, पिसगाह की ढलान, बेथ-यशिमोथ, 21मैदान में स्थित सभी नगर, हेशबोन में अमोरियों का राजा सीहोन जिसको मोशेह ने मारा था उसके सब नगर; मोशेह ने मिदियानी प्रधान एवी, रेकेम, ज़ुर, हूर तथा रेबा को भी पराजित किये थे. 22इस्राएलियों ने बेओर के पुत्र बिलआम को भी, जो भविष्य बताया करता था, सबके साथ तलवार से मार दिया.

23रियूबेन वंशजों के लिए यरदन नदी सीमा थी. रियूबेन के पुत्रों तथा उनके परिवारों के अनुसार यही नगर तथा गांव उनका हिस्सा था.

24मोशेह ने गाद के गोत्र को उनके परिवारों के अनुसार हिस्सा दिया;

25तथा उनकी सीमा में याज़र तथा गिलआद के सभी नगर तथा अरोअर तक अम्मोनियों का आधा देश, जो रब्बाह के पूर्व में है, 26तथा हेशबोन से रामथ-मिज़पाह, बटोनीम और माहानाईम से दबीर की सीमा तक; 27तथा बेथ-हाराम की घाटी में बेथ-निमराह, सुक्कोथ तथा ज़ेफोन, हेशबोन के राजा सीहोन का बचा हुआ राज्य, जिसकी सीमा यरदन नदी थी तथा पूर्व में यरदन के किन्‍नेरेथ सागर के सीमा तक.

28गाद के पुत्रों को, उनके गोत्रों के अनुसार दिया गया हिस्सा नगर एवं गांव यही थे.

29मोशेह ने मनश्शेह के आधे गोत्र को यह भाग उनके परिवारों के अनुसार दिया:

30उनकी सीमा माहानाईम से लेकर बाशान के राजा, ओग का पूरा राज्य, याईर का पूरा नगर, जो बाशान में, साठ नगर; 31गिलआद का आधा भाग, अश्तारोथ तथा एद्रेइ (बाशान में ओग राजा के नगर थे ये).

ये सभी मनश्शेह के पुत्र माखीर वंश को उनके परिवारों के अनुसार बांट दिया गया.

32ये येरीख़ो के पूर्व में यरदन के पार, मोआब के मैदानों में मोशेह द्वारा बांटी गई थी. 33लेवी के गोत्र को मोशेह ने कोई हिस्सा नहीं दिया. मोशेह ने उन्हें बताया कि, याहवेह, इस्राएल के परमेश्वर ही उनका हिस्सा हैं, जैसा याहवेह ने उनसे कहा था.