Yoswa 12 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 12:1-24

Bakabaka Abaawangulwa

1Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.

2Sikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,

3ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,

4ne ku nsalo ya Ogi kabaka w’e Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.

5Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.

6Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.

7Bano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu. 8Mu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi ey’obugwanjuba mu Negevu, ensi ez’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi.

9Kabaka w’e Yeriko omu,ne kabaka w’e Ayi ekiriraanye Beseri omu,10ne kabaka w’e Yerusaalemi omu,ne kabaka w’e Kebbulooni omu,11ne kabaka w’e Yalamusi omu,ne kabaka w’e Lakisi omu,12n’ow’e Egulooni omu,n’ow’e Gezeri omu,13ne kabaka w’e Debiri omu,n’ow’e Gederi omu,14n’ow’e Koluma omu,n’ow’e Yaladi omu,15n’ow’e Libuna omu,n’ow’e Adulamu omu,16n’ow’e Makkeda omu,n’ow’e Beseri omu,17ne kabaka ow’e Tappua omu,n’owe Keferi omu,18n’ow’e Afeki omu n’ow’e Lasaloni omu,19n’ow’e Madoni omu,n’ow’e Kazoli omu,20ne kabaka w’e Simuloni Meroni omu,ne kabaka w’e Akusafu omu,21n’ow’e Taanaki omu,n’ow’e Megiddo omu,22n’ow’e Kedesi omu,ne kabaka w’e Yokuneamu ku Kalumeeri omu,23ne kabaka w’e Doli ku lusozi Doli omu,ne kabaka w’e Goyiyimu mu Girugaali12:23 Girugaali Si y’omu ne Girugaali oli aliraanye Yeriko omu,24n’ow’e Tiruza omu.

Thai New Contemporary Bible

โยชูวา 12:1-24

กษัตริย์ทั้งหลายซึ่งถูกอิสราเอลพิชิต

1กษัตริย์ของเมืองทั้งหลายทางฟากตะวันออกของแม่น้ำจอร์แดน ซึ่งถูกอิสราเอลทำลายและเข้าครอบครอง ตั้งแต่โกรกธารอารโนนจดภูเขาเฮอร์โมน รวมแถบตะวันออกทั้งหมดของอาราบาห์ ได้แก่

2กษัตริย์สิโหนแห่งอาโมไรต์ผู้ครอบครองในเฮชโบน ดินแดนของเขาจากอาโรเออร์ซึ่งอยู่ริมโกรกธารอารโนน คือจากตอนกลางของโกรกธารนี้ไปจดแม่น้ำยับบอก ซึ่งเป็นพรมแดนของชาวอัมโมน ครอบคลุมอาณาเขตครึ่งหนึ่งของกิเลอาด 3และอาราบาห์ตะวันออกจากทะเลคินเนเรท12:3 คือ กาลิลีถึงทะเลอาราบาห์ (ทะเลเกลือ12:3 คือ ทะเลตาย) ถึงเบธเยชิโมทและด้านใต้ไปถึงลาดเขาปิสกาห์

4และดินแดนของกษัตริย์โอกแห่งบาชานซึ่งเป็นหนึ่งในเรฟาอิมกลุ่มสุดท้าย ครอบครองอยู่ที่อัชทาโรทและเอเดรอี 5เขาครอบครองภูเขาเฮอร์โมน สาเลคาห์ บาชานทั้งหมด จนถึงชายแดนของชาวเกชูร์และมาอาคาห์ และอีกครึ่งหนึ่งของกิเลอาดจนถึงพรมแดนของกษัตริย์สิโหนแห่งเฮชโบน

6โมเสสผู้รับใช้ขององค์พระผู้เป็นเจ้าและชนอิสราเอลพิชิตพวกเขา และโมเสสผู้รับใช้ขององค์พระผู้เป็นเจ้ามอบดินแดนนี้ให้เป็นกรรมสิทธิ์ของเผ่ารูเบน เผ่ากาด และเผ่ามนัสเสห์ครึ่งเผ่า

7ต่อไปนี้คือรายชื่อกษัตริย์ทั้งหลายซึ่งโยชูวากับชนอิสราเอลพิชิตทางฟากตะวันตกของแม่น้ำจอร์แดน จากบาอัลกาดในหุบเขาเลบานอนจดภูเขาฮาลัก เรื่อยไปจนถึงเสอีร์ (โยชูวายกให้เป็นกรรมสิทธิ์ของอิสราเอลเผ่าต่างๆ ตามแต่ละเผ่า คือ 8แถบเทือกเขา แถบเชิงเขาตะวันตก อาราบาห์ ลาดเขา ถิ่นกันดารและเนเกบ เป็นดินแดนของชาวฮิตไทต์ ชาวอาโมไรต์ ชาวคานาอัน ชาวเปริสซี ชาวฮีไวต์ และชาวเยบุส) ได้แก่

9กษัตริย์แห่งเยรีโคหนึ่งกษัตริย์แห่งอัย (ใกล้เบธเอล)หนึ่ง10กษัตริย์แห่งเยรูซาเล็มหนึ่งกษัตริย์แห่งเฮโบรนหนึ่ง11กษัตริย์แห่งยารมูทหนึ่งกษัตริย์แห่งลาคีชหนึ่ง12กษัตริย์แห่งเอกโลน หนึ่งกษัตริย์แห่งเกเซอร์หนึ่ง13กษัตริย์แห่งเดบีร์หนึ่งกษัตริย์แห่งเกเดอร์หนึ่ง14กษัตริย์แห่งโฮรมาห์หนึ่งกษัตริย์แห่งอาราดหนึ่ง15กษัตริย์แห่งลิบนาห์หนึ่งกษัตริย์แห่งอดุลลัมหนึ่ง16กษัตริย์แห่งมักเคดาห์หนึ่งกษัตริย์แห่งเบธเอล หนึ่ง17กษัตริย์แห่งทัปปูวาห์หนึ่งกษัตริย์แห่งเฮเฟอร์หนึ่ง18กษัตริย์แห่งอาเฟคหนึ่งกษัตริย์แห่งลาชาโรนหนึ่ง19กษัตริย์แห่งมาโดนหนึ่งกษัตริย์แห่งฮาโซร์หนึ่ง20กษัตริย์แห่งชิมโรนเมโรนหนึ่งกษัตริย์แห่งอัคชาฟหนึ่ง21กษัตริย์แห่งทาอานาคหนึ่งกษัตริย์แห่งเมกิดโดหนึ่ง22กษัตริย์แห่งเคเดชหนึ่งกษัตริย์แห่งโยกเนอัมในคารเมลหนึ่ง23กษัตริย์แห่งโดร์ (ในนาโฟทโดร์12:23 หรือที่ราบสูงโดร์)หนึ่งกษัตริย์แห่งโกยิมในกิลกาลหนึ่ง24กษัตริย์แห่งทีรซาห์หนึ่งรวมกษัตริย์ทั้งหมด 31 องค์