Yokaana 6 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 6:1-71

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano

1Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’asomoka ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa ey’e Tiberiya. 2Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde. 3Awo Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula wansi n’abayigirizwa be. 4Embaga y’Abayudaaya eyitibwa Okuyitako yali eri kumpi okutuuka.

5Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?” 6Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.

7Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.”

8Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, 9“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?”

10Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano. 11Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.

12Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.” 13Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.

14Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!” 15Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.

Yesu Atambulira ku Mazzi

16Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja 17ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka. 19Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. 20Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!” 21Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.

Abantu Banoonya Yesu

22Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato. 23Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza. 24Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.

25Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”

26Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”

28Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?”

29Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”

30Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki? 31Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’ ”

32Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 33Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”

34Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”

35Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta. 36Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza. 37Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru. 38Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange. 39Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero. 40Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.”

Yesu y’Emmere ey’Obulamu

41Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 42Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ”

43Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya. 44Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 45Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi. 46Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe. 47Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo! 48Nze mmere ey’obulamu. 49Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa. 50Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa. 51Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”

52Awo Abayudaaya ne batandika okuwakana bokka na bokka nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?”

53Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe. 54Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 55Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala n’omusaayi gwange kye kyokunywa ddala. 56Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye. 57Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange. 58Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.” 59Ebyo Yesu yabyogera ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu.

Abayigirizwa Abamu Baleka Yesu

60Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola ky’agamba?” 61Awo Yesu bwe yategeera nga n’abayigirizwa be bakyemulugunyako, n’abagamba nti, “Ekyo kibeesittaza? 62Kale mulirowooza ki bwe muliraba Omwana w’Omuntu ng’addayo gye yava? 63Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu. 64Naye era abamu ku mmwe temukkiriza.” Kubanga okuva ku lubereberye Yesu yategeera abatamukkiriza era n’oyo agenda okumulyamu olukwe. 65Awo n’agamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.”

66Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye.

67Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’ababuuza nti, “Nammwe mwagala kugenda?”

68Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. 69Ffe tubikkiriza era tumanyi nti oli Mutukuvu wa Katonda.”

70Awo Yesu kwe kubagamba nti, “Mmwe ekkumi n’ababiri si nze nabalonda? Naye omu ku mmwe Setaani!” 71Yesu yayogera ku Yuda, mutabani wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe.

New International Version

John 6:1-71

Jesus Feeds the Five Thousand

1Some time after this, Jesus crossed to the far shore of the Sea of Galilee (that is, the Sea of Tiberias), 2and a great crowd of people followed him because they saw the signs he had performed by healing the sick. 3Then Jesus went up on a mountainside and sat down with his disciples. 4The Jewish Passover Festival was near.

5When Jesus looked up and saw a great crowd coming toward him, he said to Philip, “Where shall we buy bread for these people to eat?” 6He asked this only to test him, for he already had in mind what he was going to do.

7Philip answered him, “It would take more than half a year’s wages6:7 Greek take two hundred denarii to buy enough bread for each one to have a bite!”

8Another of his disciples, Andrew, Simon Peter’s brother, spoke up, 9“Here is a boy with five small barley loaves and two small fish, but how far will they go among so many?”

10Jesus said, “Have the people sit down.” There was plenty of grass in that place, and they sat down (about five thousand men were there). 11Jesus then took the loaves, gave thanks, and distributed to those who were seated as much as they wanted. He did the same with the fish.

12When they had all had enough to eat, he said to his disciples, “Gather the pieces that are left over. Let nothing be wasted.” 13So they gathered them and filled twelve baskets with the pieces of the five barley loaves left over by those who had eaten.

14After the people saw the sign Jesus performed, they began to say, “Surely this is the Prophet who is to come into the world.” 15Jesus, knowing that they intended to come and make him king by force, withdrew again to a mountain by himself.

Jesus Walks on the Water

16When evening came, his disciples went down to the lake, 17where they got into a boat and set off across the lake for Capernaum. By now it was dark, and Jesus had not yet joined them. 18A strong wind was blowing and the waters grew rough. 19When they had rowed about three or four miles,6:19 Or about 5 or 6 kilometers they saw Jesus approaching the boat, walking on the water; and they were frightened. 20But he said to them, “It is I; don’t be afraid.” 21Then they were willing to take him into the boat, and immediately the boat reached the shore where they were heading.

22The next day the crowd that had stayed on the opposite shore of the lake realized that only one boat had been there, and that Jesus had not entered it with his disciples, but that they had gone away alone. 23Then some boats from Tiberias landed near the place where the people had eaten the bread after the Lord had given thanks. 24Once the crowd realized that neither Jesus nor his disciples were there, they got into the boats and went to Capernaum in search of Jesus.

Jesus the Bread of Life

25When they found him on the other side of the lake, they asked him, “Rabbi, when did you get here?”

26Jesus answered, “Very truly I tell you, you are looking for me, not because you saw the signs I performed but because you ate the loaves and had your fill. 27Do not work for food that spoils, but for food that endures to eternal life, which the Son of Man will give you. For on him God the Father has placed his seal of approval.”

28Then they asked him, “What must we do to do the works God requires?”

29Jesus answered, “The work of God is this: to believe in the one he has sent.”

30So they asked him, “What sign then will you give that we may see it and believe you? What will you do? 31Our ancestors ate the manna in the wilderness; as it is written: ‘He gave them bread from heaven to eat.’6:31 Exodus 16:4; Neh. 9:15; Psalm 78:24,25

32Jesus said to them, “Very truly I tell you, it is not Moses who has given you the bread from heaven, but it is my Father who gives you the true bread from heaven. 33For the bread of God is the bread that comes down from heaven and gives life to the world.”

34“Sir,” they said, “always give us this bread.”

35Then Jesus declared, “I am the bread of life. Whoever comes to me will never go hungry, and whoever believes in me will never be thirsty. 36But as I told you, you have seen me and still you do not believe. 37All those the Father gives me will come to me, and whoever comes to me I will never drive away. 38For I have come down from heaven not to do my will but to do the will of him who sent me. 39And this is the will of him who sent me, that I shall lose none of all those he has given me, but raise them up at the last day. 40For my Father’s will is that everyone who looks to the Son and believes in him shall have eternal life, and I will raise them up at the last day.”

41At this the Jews there began to grumble about him because he said, “I am the bread that came down from heaven.” 42They said, “Is this not Jesus, the son of Joseph, whose father and mother we know? How can he now say, ‘I came down from heaven’?”

43“Stop grumbling among yourselves,” Jesus answered. 44“No one can come to me unless the Father who sent me draws them, and I will raise them up at the last day. 45It is written in the Prophets: ‘They will all be taught by God.’6:45 Isaiah 54:13 Everyone who has heard the Father and learned from him comes to me. 46No one has seen the Father except the one who is from God; only he has seen the Father. 47Very truly I tell you, the one who believes has eternal life. 48I am the bread of life. 49Your ancestors ate the manna in the wilderness, yet they died. 50But here is the bread that comes down from heaven, which anyone may eat and not die. 51I am the living bread that came down from heaven. Whoever eats this bread will live forever. This bread is my flesh, which I will give for the life of the world.”

52Then the Jews began to argue sharply among themselves, “How can this man give us his flesh to eat?”

53Jesus said to them, “Very truly I tell you, unless you eat the flesh of the Son of Man and drink his blood, you have no life in you. 54Whoever eats my flesh and drinks my blood has eternal life, and I will raise them up at the last day. 55For my flesh is real food and my blood is real drink. 56Whoever eats my flesh and drinks my blood remains in me, and I in them. 57Just as the living Father sent me and I live because of the Father, so the one who feeds on me will live because of me. 58This is the bread that came down from heaven. Your ancestors ate manna and died, but whoever feeds on this bread will live forever.” 59He said this while teaching in the synagogue in Capernaum.

Many Disciples Desert Jesus

60On hearing it, many of his disciples said, “This is a hard teaching. Who can accept it?”

61Aware that his disciples were grumbling about this, Jesus said to them, “Does this offend you? 62Then what if you see the Son of Man ascend to where he was before! 63The Spirit gives life; the flesh counts for nothing. The words I have spoken to you—they are full of the Spirit6:63 Or are Spirit; or are spirit and life. 64Yet there are some of you who do not believe.” For Jesus had known from the beginning which of them did not believe and who would betray him. 65He went on to say, “This is why I told you that no one can come to me unless the Father has enabled them.”

66From this time many of his disciples turned back and no longer followed him.

67“You do not want to leave too, do you?” Jesus asked the Twelve.

68Simon Peter answered him, “Lord, to whom shall we go? You have the words of eternal life. 69We have come to believe and to know that you are the Holy One of God.”

70Then Jesus replied, “Have I not chosen you, the Twelve? Yet one of you is a devil!” 71(He meant Judas, the son of Simon Iscariot, who, though one of the Twelve, was later to betray him.)