Yokaana 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 1:1-51

Kigambo

1Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo1:1 Kigambo ye Kristo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. 2Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.

3Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo. 4Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. 5Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.

6Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma, 7eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye. 8Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana.

9Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu. 10Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. 11Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. 12Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. 13Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. 14Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

15Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ” 16Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa. 17Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima. 18Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.

Yokaana Omubatiza Ategeeza nga bw’Atali Kristo

19Bino bye bigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze b’Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?” 20Teyagaana kubaddamu, wabula yayatulira ddala nti, “Si nze Kristo.”

21Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?”

Yokaana Omubatiza n’addamu nti, “Nedda, si nze ye.”

Ne bongera okumubuuza nti, “Ggwe Nnabbi ayogerwako?”

N’addamu nti, “Nedda.”

22Awo ne bamugamba nti, “Abatutumye tunaabagamba nti, Ggwe ani? Weeyita otya?” 23N’abaddamu nti,

“Nze ndi ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’asinziira mu ddungu nti,

‘Mutereeze ekkubo lya Mukama mweteekereteekere okujja kwe, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.’ ”

24Abaatumibwa baava eri Abafalisaayo. 25Awo ne babuuza Yokaana nti, “Kale lwaki obatiza, obanga si ggwe Kristo oba Eriya oba nnabbi oli?”

26Yokaana n’addamu nti, “Nze mbatiza na mazzi, naye waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi, 27anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.” 28Ebyo byali Besaniya, emitala w’omugga Yoludaani, Yokaana Omubatiza gye yabatirizanga.

Yesu Omwana gw’Endiga owa Katonda

29Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi. 30Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’ 31Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n’amazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.”

32Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu, 33n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’ 34Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.”

Abayigirizwa ba Yesu Abaasooka

35Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri, 36Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda.”

37Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu. 38Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, “Mwagala ki?”

Ne bamuddamu nti, “Labbi” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”), “obeera wa?”

39N’abaddamu nti, “Mujje mulabeyo.”

Awo ne bagenda naye gye yali abeera, olunaku olwo ne baluzibiza eyo nga bali naye, obudde bwali ng’essaawa kkumi ez’olweggulo okutuusa akawungeezi.

40Omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera ne bagoberera Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni Peetero. 41Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo). 42Andereya n’atwala Simooni eri Yesu.

Yesu bwe yeetegereza Simooni, n’amugamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa,” amakulu nti Peetero.

Yesu Ayita Firipo ne Nassanayiri

43Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”

44Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero. 45Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”

46Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?”

Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.”

47Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”

48Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?”

Yesu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini.”

49Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”

50Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. 51Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰福音 1:1-51

生命之道

1太初,道已经存在,道与上帝同在,道就是上帝。 2太初,道就与上帝同在。 3万物都是借着祂造的1:3 造的”或译“存在”。,受造之物没有一样不是借着祂造的。 4祂里面有生命,这生命是人类的光。 5光照进黑暗里,黑暗不能胜过1:5 胜过”或译“接受”或“明白”。光。

6有一个人名叫约翰,是上帝差来的。 7他来是要为光做见证,叫世人可以借着他而相信。 8约翰不是那光,他来是为那光做见证。 9那照亮世人的真光来到了世上。 10祂来到自己所创造的世界,世界却不认识祂。 11祂来到自己的地方,自己的人却不接纳祂。 12但所有接纳祂的,就是那些信祂的人,祂就赐给他们权利成为上帝的儿女。 13这些人既不是从人的血缘关系生的,也不是从人的情欲或意愿生的,而是从上帝生的。

14道成为肉身,住在我们中间,充满了恩典和真理。我们见过祂的荣耀,正是父独一儿子的荣耀。

15约翰为祂做见证的时候,高声喊道:“这就是我以前所说的那位,‘祂在我以后来却比我位分高,因为祂在我之前已经存在了。’” 16从祂的丰盛里,我们一次又一次地领受了恩典。 17因为律法是借着摩西颁布的,恩典和真理是借着耶稣基督赐下来的。 18从来没有人见过上帝,只有父怀中的独一上帝1:18 独一上帝”有古卷作“独一儿子”。把祂显明出来。

施洗者约翰的见证

19以下是约翰的见证。犹太人从耶路撒冷派祭司和利未人来找约翰,查问他是谁。 20约翰毫不隐瞒地说:“我不是基督。”

21他们问:“那么,你是谁?是以利亚吗?”

他说:“不是。”

他们又问:“你是那位先知吗?”

他说:“也不是。”

22他们又追问:“你到底是谁?我们好回复差我们来的人。你自己说你是谁?”

23他说:“我就是在旷野大声呼喊‘修直主的路’的那个人,正如以赛亚先知所言。”

24派来的人当中有几个法利赛人1:24 派来的人当中有几个法利赛人”或译“法利赛人派来的那几个人”。,他们问他: 25“你既然不是基督,不是以利亚,也不是那位先知,那你为什么给人施洗呢?”

26约翰答道:“我是用水施洗,但在你们中间有一位你们不认识的, 27祂虽然是在我以后来的,我就是给祂解鞋带也不配。” 28这事发生在约旦河东岸的伯大尼,那里是约翰给人施洗的地方。

上帝的羔羊

29次日,约翰看见耶稣走过来,就说:“看啊!上帝的羔羊,除去世人罪恶的! 30这就是我以前所说的那位,‘有一个人在我以后来却比我位分高,因为祂在我之前已经存在了。’ 31我以前并不认识祂,现在我用水给人施洗,是要把祂显明给以色列人。”

32约翰又做见证说:“我看见圣灵好像鸽子一样从天降下,住在祂身上。 33我本来不认识祂,但那位差我来用水给人施洗的告诉我,‘你看见圣灵降下,住在谁身上,谁就是用圣灵给人施洗的。’ 34我看见了,便做见证,祂就是上帝的儿子。”

第一批门徒

35再次日,约翰和两个门徒站在那里, 36他看见耶稣经过,就说:“看啊!这是上帝的羔羊!” 37两个门徒听见他的话,便跟从了耶稣。 38耶稣转过身来,看见他们跟着,便问:“你们想要什么?”

他们说:“老师1:38 老师”希腊文是“拉比”,特指犹太教的老师,下同。,你住在哪里?”

39耶稣说:“你们来看吧。”他们便跟着去看耶稣住的地方。到了那里大约下午四点了,他们就住在耶稣那里。 40听见约翰的话后跟从耶稣的两个人中,有一个是西门·彼得的弟弟安得烈41他首先去找他哥哥西门,说:“我们找到弥赛亚了!”弥赛亚的意思是基督1:41 希伯来文的“弥赛亚”和希腊文的“基督”都是“受膏者”的意思。42他带着西门去见耶稣。

耶稣看着西门,对他说:“约翰的儿子西门,你要改名为矶法。”矶法的意思是彼得

43又过了一天,耶稣决定去加利利。祂遇见了腓力,就对他说:“跟从我!” 44腓力伯赛大人,与彼得安得烈是同乡。 45腓力去找拿但业,对他说:“我们遇见了摩西律法书和先知书记载的那位!祂是约瑟的儿子耶稣,从拿撒勒来的。”

46拿但业说:“拿撒勒还会出什么好东西?”

腓力说:“你来看看吧!”

47耶稣看见拿但业走过来,就指着他说:“看啊,这是个真正的以色列人!他心里毫无诡诈。”

48拿但业问耶稣:“你怎么会认识我?”

耶稣答道:“腓力还没有去找你之前,我就看见你在无花果树下了。”

49拿但业说:“老师,你是上帝的儿子!你是以色列的王!”

50耶稣说:“我说看见你在无花果树下,你就信我吗?将来你还要看见比这更大的事。 51我实实在在地告诉你们,你们会看见天门敞开,上帝的天使以人子1:51 人子”是耶稣的自称,耶稣在这里自比天梯,背景请参见创世记28:12为梯上上下下。”