Yobu Akolimira Olunaku kwe Yazaalirwa
1Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. 2N’agamba nti,
33:3 Yob 10:18-19; Yer 20:14-18“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire,
n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
4Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza,
omusana guleme okulwakako,
Katonda aleme okulufaako.
53:5 Yob 10:21, 22; Zab 23:4; Yer 2:6; 13:16Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule,
ekire kirutuuleko,
ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
63:6 Yob 23:17Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage,
luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka,
wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
7Yee, lubeere lugumba,
waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
83:8 Yob 41:1, 8, 10, 25Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire,
n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
93:9 Yob 41:18Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza,
lulindirire ekitangaala kirubulwe,
luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
nneme okulaba obuyinike.
113:11 Yob 10:18“Lwaki saafa nga nzalibwa,
oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
123:12 Lub 30:3; Is 66:12Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako
era n’amabeere okugayonka?
133:13 a Yob 17:13 b Yob 7:8-10, 21; 10:22; 14:10-12; 19:27; 21:13, 23Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde,
nandibadde neebase nga neewummulidde,
143:14 a Yob 12:17 b Yob 15:28wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi,
abezimbira embiri kaakano amatongo,
153:15 a Yob 12:21 b Yob 27:17oba n’abalangira abaalina zaabu,
abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
163:16 Zab 58:8; Mub 6:3Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde,
atalabye ku kitangaala?
173:17 Yob 17:16Eyo ababi gye batatawaanyizibwa,
era n’abakooye gye bawummulira.
183:18 Yob 39:7Abasibe gye bawummulira awamu,
gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19Abakopi n’abakungu gye babeera;
abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.
203:20 1Sa 1:10; Yer 20:18; Ez 27:30-31“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala,
ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
213:21 a Kub 9:6 b Nge 2:4era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja,
n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22abajaguza ekisukkiridde,
ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
233:23 Yob 19:6, 8, 12; Zab 88:8; Kgb 3:7Lwaki okuwa ekitangaala oyo,
atayinza kulaba kkubo,
Katonda gw’akomedde?
243:24 a Yob 6:7; 33:20 b Zab 42:3, 4Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya,
n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
253:25 Yob 30:15Ekintu kye nantiiranga ddala
era kye nakyawa kye kyantukako.
263:26 Yob 7:4, 14Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe,
wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”