Yeremiya 32 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 32:1-44

Yeremiya Agula Ennimiro

1Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza. 2Amaggye ga kabaka w’e Babulooni gaali gazingizza Yerusaalemi, era ne Yeremiya nnabbi baali bamusibidde mu luggya lw’omukuumi mu lubiri lwa kabaka wa Yuda.

3Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibidde eyo ng’agamba nti, “Lwaki otegeeza obunnabbi mu ngeri eyo? Ogamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama. Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukiwamba. 4Zeddekiya kabaka wa Yuda tajja kuwona mikono gy’Abakaludaaya naye ddala wa kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni era ajja kwogera naye, balabagane amaaso n’amaaso. 5Alitwala Zeddekiya mu Babulooni, gy’alisigala okutuusa lwe ndimujjira. Bwe munaalwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula,’ bw’ayogera Mukama.”

6Yeremiya n’agamba nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira: 7Laba Kanameri mutabani wa Sallumu kojjaawo agenda kujja gy’oli akugambe nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi kubanga ng’owooluganda asinga okuba okumpi guba mukisa gwo era buvunaanyizibwa bwo okugigula.’ 

8“Awo nga Mukama bwe yali agambye, omwana wa kojja wange Kanameri yajja mu luggya lw’omukuumi gye nnali n’aŋŋamba nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi mu kitundu kya Benyamini, kubanga okirinako obuyinza n’obuvunaanyizibwa okukinunulayo n’okyefunira, kyegulire.’

“Olwo ne mmanya nti kino kye kigambo kya Mukama. 9Ne ndyoka ngula ennimiro ey’e Anasosi ku Kanameri omwana wa kojjange, ne mubalira ensimbi, ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza. 10Ne nteeka omukono ku kiwandiiko ky’endagaano okugulirwa ettaka ne nkissaako n’akabonero, ne nfuna abajulirwa, ne mpima ffeeza ku minzaani. 11Ne ntwala ekiwandiiko ekimpa obwannannyini ekirimu enkola era n’ebisuubirwa okugobererwa, era ne kkopi ey’olwatu. 12Ne mpa Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya ekiwandiiko ky’obwannannyini, Kanameri omwana wa kojjange nga waali n’abajulirwa nga weebali abaateeka emikono ku kiwandiiko eky’obwannannyini n’Abayudaaya bonna abaali batudde mu luggya lw’omukuumi.

13“Ne nkuutirira Baluki mu maaso gaabwe nti, 14‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Twala ebiwandiiko bino byombi, ekisibeko envumbo n’ekitali kisibeko obiteeke mu nsumbi ey’ebbumba bisobole okulwawo ebbanga gwanvu. 15Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye Katonda wa Isirayiri nti, Ennyumba, n’ebibanja n’ennimiro ez’emizabbibu biriddamu okugulibwa mu nsi eno.’ 

16“Nga mmaze okuwaayo ekiwandiiko kino eri Baluki mutabani wa Neriya, nasaba Mukama nti,

17“Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu n’ensi n’amaanyi go amangi ennyo, n’omukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema. 18Olaga okwagala kwo eri enkumi n’enkumi ate oleeta ekibonerezo ky’ebibi bya bakitaabwe ku baana baabwe. Ayi Katonda ow’ekitalo era ow’amaanyi, ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye, 19ebigendererwa byo nga binene era n’ebikolwa byo nga bikulu. Amaaso go gatunuulidde amakubo gonna ag’abantu, osasula buli muntu ng’enneeyisa ye bweri era ng’ebikolwa bye bwe biri. 20Wakola obubonero n’ebikolwa ebyamagero mu Misiri era weeyongedde okubikola leero, wonna mu Isirayiri ne mu bantu bonna era erinnya lyo lyeyongedde okwatiikirira. 21Waggya abantu bo Isirayiri mu Misiri n’obubonero n’eby’amagero, n’omukono gwo ogw’amaanyi gwe wagolola n’entiisa ey’amaanyi. 22Wabawa ensi eno gye wali olayidde okuwa bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. 23Baagituukamu ne bagitwala, naye tebaakugondera wadde okugoberera amateeka go, byonna bye wabalagira tebaliiko wadde na kimu kye baakola. Kyewava obaleetako akabi kano konna.

24“Laba entuumo z’omulabe z’atuumye okuzinda ekibuga okukiwamba n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli, ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya abakirumba. Ekyo kye wagamba kituukiridde nga kaakano bw’olaba. 25Era wadde ng’ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya, ggwe Ayi Mukama Katonda oŋŋambye nti, ‘Toola ffeeza weegulire ennimiro era wabeerewo n’abajulirwa.’ ”

26Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 27“Nze Mukama, Katonda w’abantu bonna. Eriyo ekinnema? 28Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri Abakaludaaya ne Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abanaakiwamba. 29Abakaludaaya abanaalumba ekibuga kino bajja kukikumako omuliro, bakyokye kiggye, n’amayumba gonna abantu mwe bankwasiza obusungu nga bootereza Baali obubaane waggulu ku mayumba era n’okuwaayo ebiweebwayo eby’okunywa eri bakatonda abalala.’ 

30“Abantu ba Isirayiri ne Yuda bye bakoze bibi byereere mu maaso gange okuva mu buvubuka bwabwe; era ddala abantu ba Isirayiri tebalina kirala kye bakoze wabula okunnyiiza n’ebyo emikono gyabwe gye gikoze, bw’ayogera Mukama. 31Okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa ne leero, ekibuga kino kindeetedde obusungu bungi n’ekiruyi, noolwekyo nteekwa okukiggya mu maaso gange. 32Abantu ba Isirayiri ne Yuda bannyiizizza olw’ebibi byonna bye bakoze, bo ne bakabaka baabwe n’abakungu baabwe, ne bakabona baabwe ne bannabbi, abasajja ba Yuda n’abantu ba Yerusaalemi. 33Banvaako ne bankuba amabega mu kifo ky’okuntunuulira; wadde nga nabayigiriza ne nkiddiŋŋana emirundi mingi naye tebaawuliriza wadde okufaayo eri okukangavvulwa. 34Baateekawo ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakole n’emikono, eby’omuzizo mu nnyumba eyitibwa Erinnya lyange ne bagyonoona. 35Baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, basaddaake batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro eri Moleki, newaakubadde nga sibalagiranga, wadde okukirowooza mu magezi gange, nti balikola ekintu ekibi ennyo bwe kityo kiviireko Yuda okwonoona.

36“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ekibuga kino okyogerako nti, Kijja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni lwa kitala, n’enjala, ne kawumpuli.’ 37Naye laba, ndibakuŋŋaanya mu mawanga gye mbagobedde n’obusungu bwange n’ekiruyi eky’amaanyi; ndibakomyawo mu kifo kino, mubeere n’emirembe. 38Era balibeera bantu bange, nange mbeere Katonda waabwe. 39Ndibawa omutima gumu n’ekkubo limu, bantyenga emirembe gyonna, olw’obulungi bwabwe, n’obulungi bw’abaana abaliddawo. 40Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako. 41Ndisanyuka olw’okubakolera ebirungi era awatali kubuusabuusa ndibasimba mu nsi eno n’omutima gwange gwonna n’emmeeme yange yonna.

42“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Nga bwe naleeta akabi kano konna ku bantu bano, era nze ndibawa okukulaakulana kwonna kwe mbasuubizza. 43Era nate ennimiro zirigulwa mu ggwanga lino lye mugamba nti, ‘Lifuuse matongo agatagambika, omutali bantu wadde ensolo kubanga kiweereddwayo eri Abakaludaaya.’ 44Ennimiro zirigulibwa ffeeza, era n’ebiwandiiko eby’obwannannyini biteekebweko omukono, bisabikibwe era bifune n’ababijulira mu Benyamini, ne mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu byalo bya Yuda ne mu bibuga eby’omu nsi ey’ensozi, ne mu bibuga eby’omu nsenyi ne mu bibuga eby’omu bukiikaddyo, kubanga ndikomyawo okukulaakulana kwabwe, bw’ayogera Mukama.”

New International Version

Jeremiah 32:1-44

Jeremiah Buys a Field

1This is the word that came to Jeremiah from the Lord in the tenth year of Zedekiah king of Judah, which was the eighteenth year of Nebuchadnezzar. 2The army of the king of Babylon was then besieging Jerusalem, and Jeremiah the prophet was confined in the courtyard of the guard in the royal palace of Judah.

3Now Zedekiah king of Judah had imprisoned him there, saying, “Why do you prophesy as you do? You say, ‘This is what the Lord says: I am about to give this city into the hands of the king of Babylon, and he will capture it. 4Zedekiah king of Judah will not escape the Babylonians32:4 Or Chaldeans; also in verses 5, 24, 25, 28, 29 and 43 but will certainly be given into the hands of the king of Babylon, and will speak with him face to face and see him with his own eyes. 5He will take Zedekiah to Babylon, where he will remain until I deal with him, declares the Lord. If you fight against the Babylonians, you will not succeed.’ ”

6Jeremiah said, “The word of the Lord came to me: 7Hanamel son of Shallum your uncle is going to come to you and say, ‘Buy my field at Anathoth, because as nearest relative it is your right and duty to buy it.’

8“Then, just as the Lord had said, my cousin Hanamel came to me in the courtyard of the guard and said, ‘Buy my field at Anathoth in the territory of Benjamin. Since it is your right to redeem it and possess it, buy it for yourself.’

“I knew that this was the word of the Lord; 9so I bought the field at Anathoth from my cousin Hanamel and weighed out for him seventeen shekels32:9 That is, about 7 ounces or about 200 grams of silver. 10I signed and sealed the deed, had it witnessed, and weighed out the silver on the scales. 11I took the deed of purchase—the sealed copy containing the terms and conditions, as well as the unsealed copy— 12and I gave this deed to Baruch son of Neriah, the son of Mahseiah, in the presence of my cousin Hanamel and of the witnesses who had signed the deed and of all the Jews sitting in the courtyard of the guard.

13“In their presence I gave Baruch these instructions: 14‘This is what the Lord Almighty, the God of Israel, says: Take these documents, both the sealed and unsealed copies of the deed of purchase, and put them in a clay jar so they will last a long time. 15For this is what the Lord Almighty, the God of Israel, says: Houses, fields and vineyards will again be bought in this land.’

16“After I had given the deed of purchase to Baruch son of Neriah, I prayed to the Lord:

17“Ah, Sovereign Lord, you have made the heavens and the earth by your great power and outstretched arm. Nothing is too hard for you. 18You show love to thousands but bring the punishment for the parents’ sins into the laps of their children after them. Great and mighty God, whose name is the Lord Almighty, 19great are your purposes and mighty are your deeds. Your eyes are open to the ways of all mankind; you reward each person according to their conduct and as their deeds deserve. 20You performed signs and wonders in Egypt and have continued them to this day, in Israel and among all mankind, and have gained the renown that is still yours. 21You brought your people Israel out of Egypt with signs and wonders, by a mighty hand and an outstretched arm and with great terror. 22You gave them this land you had sworn to give their ancestors, a land flowing with milk and honey. 23They came in and took possession of it, but they did not obey you or follow your law; they did not do what you commanded them to do. So you brought all this disaster on them.

24“See how the siege ramps are built up to take the city. Because of the sword, famine and plague, the city will be given into the hands of the Babylonians who are attacking it. What you said has happened, as you now see. 25And though the city will be given into the hands of the Babylonians, you, Sovereign Lord, say to me, ‘Buy the field with silver and have the transaction witnessed.’ ”

26Then the word of the Lord came to Jeremiah: 27“I am the Lord, the God of all mankind. Is anything too hard for me? 28Therefore this is what the Lord says: I am about to give this city into the hands of the Babylonians and to Nebuchadnezzar king of Babylon, who will capture it. 29The Babylonians who are attacking this city will come in and set it on fire; they will burn it down, along with the houses where the people aroused my anger by burning incense on the roofs to Baal and by pouring out drink offerings to other gods.

30“The people of Israel and Judah have done nothing but evil in my sight from their youth; indeed, the people of Israel have done nothing but arouse my anger with what their hands have made, declares the Lord. 31From the day it was built until now, this city has so aroused my anger and wrath that I must remove it from my sight. 32The people of Israel and Judah have provoked me by all the evil they have done—they, their kings and officials, their priests and prophets, the people of Judah and those living in Jerusalem. 33They turned their backs to me and not their faces; though I taught them again and again, they would not listen or respond to discipline. 34They set up their vile images in the house that bears my Name and defiled it. 35They built high places for Baal in the Valley of Ben Hinnom to sacrifice their sons and daughters to Molek, though I never commanded—nor did it enter my mind—that they should do such a detestable thing and so make Judah sin.

36“You are saying about this city, ‘By the sword, famine and plague it will be given into the hands of the king of Babylon’; but this is what the Lord, the God of Israel, says: 37I will surely gather them from all the lands where I banish them in my furious anger and great wrath; I will bring them back to this place and let them live in safety. 38They will be my people, and I will be their God. 39I will give them singleness of heart and action, so that they will always fear me and that all will then go well for them and for their children after them. 40I will make an everlasting covenant with them: I will never stop doing good to them, and I will inspire them to fear me, so that they will never turn away from me. 41I will rejoice in doing them good and will assuredly plant them in this land with all my heart and soul.

42“This is what the Lord says: As I have brought all this great calamity on this people, so I will give them all the prosperity I have promised them. 43Once more fields will be bought in this land of which you say, ‘It is a desolate waste, without people or animals, for it has been given into the hands of the Babylonians.’ 44Fields will be bought for silver, and deeds will be signed, sealed and witnessed in the territory of Benjamin, in the villages around Jerusalem, in the towns of Judah and in the towns of the hill country, of the western foothills and of the Negev, because I will restore their fortunes,32:44 Or will bring them back from captivity declares the Lord.”