Yeremiya 22 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 22:1-30

Omusango eri Bakabaka Ababi

1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda 2olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. 3Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. 4Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. 5‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”

6Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,

“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,

ng’entikko y’olusozi Lebanooni,

ddala ddala nzija kukufuula ddungu,

ng’ebibuga ebitaliimu bantu.

7Ndikusindikira abakuzikiriza,

buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,

era balitema emivule gyo egisinga obulungi

ne bagisuula mu muliro.

8“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ 9Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”

10Temukaabira kabaka afudde

oba okumukungubagira,

wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,

kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.

11Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. 12Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”

13“Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,

ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya

abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere

n’atabasasula mpeera yaabwe.

14Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene

n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’

Kale nnaakola amadirisa amanene

nnaateekamu emivule

era nnaasiigako langi emyufu.

15“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?

Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa?

Yakola ebituufu eby’obwenkanya.

Noolwekyo byonna

byamugendera bulungi.

16Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu

kale byonna ne bimugendera bulungi.

Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”

bw’ayogera Mukama.

17“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe

biri ku magoba ag’obukuusa,

ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango

ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”

18Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,

“Tebalimukungubagira;

‘Kikafuuwe, mukama wange!’

Kikafuuwe,

obugagga bwe!

19Aliziikibwa

nga bwe baziika endogoyi,

akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”

20“Genda mu Lebanooni okaabe,

leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.

Kaabira ku Abalimu,

kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.

21Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga

naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’

Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,

togonderanga ku ddoboozi lyange.

22Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,

n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.

Olwo okwatibwe ensonyi

oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.

23Mmwe abali mu Lebanooni,22:23 lwe lubiri oluli mu Yerusaalemi

abesulira mu bizimbe eby’emivule,

nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!

Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.

24“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. 25“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 26Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

28Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,

ekimenyese, ekitaliiko ayagala?

Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,

basuulibwe mu nsi gye batamanyi?

29Ayi ggwe ensi, ensi,

wulira ekigambo kya Katonda!

30Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako

kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,

alituula ku ntebe ya Dawudi

oba aliddayo okufuga mu Yuda.”

New International Version

Jeremiah 22:1-30

Judgment Against Wicked Kings

1This is what the Lord says: “Go down to the palace of the king of Judah and proclaim this message there: 2‘Hear the word of the Lord to you, king of Judah, you who sit on David’s throne—you, your officials and your people who come through these gates. 3This is what the Lord says: Do what is just and right. Rescue from the hand of the oppressor the one who has been robbed. Do no wrong or violence to the foreigner, the fatherless or the widow, and do not shed innocent blood in this place. 4For if you are careful to carry out these commands, then kings who sit on David’s throne will come through the gates of this palace, riding in chariots and on horses, accompanied by their officials and their people. 5But if you do not obey these commands, declares the Lord, I swear by myself that this palace will become a ruin.’ ”

6For this is what the Lord says about the palace of the king of Judah:

“Though you are like Gilead to me,

like the summit of Lebanon,

I will surely make you like a wasteland,

like towns not inhabited.

7I will send destroyers against you,

each man with his weapons,

and they will cut up your fine cedar beams

and throw them into the fire.

8“People from many nations will pass by this city and will ask one another, ‘Why has the Lord done such a thing to this great city?’ 9And the answer will be: ‘Because they have forsaken the covenant of the Lord their God and have worshiped and served other gods.’ ”

10Do not weep for the dead king or mourn his loss;

rather, weep bitterly for him who is exiled,

because he will never return

nor see his native land again.

11For this is what the Lord says about Shallum22:11 Also called Jehoahaz son of Josiah, who succeeded his father as king of Judah but has gone from this place: “He will never return. 12He will die in the place where they have led him captive; he will not see this land again.”

13“Woe to him who builds his palace by unrighteousness,

his upper rooms by injustice,

making his own people work for nothing,

not paying them for their labor.

14He says, ‘I will build myself a great palace

with spacious upper rooms.’

So he makes large windows in it,

panels it with cedar

and decorates it in red.

15“Does it make you a king

to have more and more cedar?

Did not your father have food and drink?

He did what was right and just,

so all went well with him.

16He defended the cause of the poor and needy,

and so all went well.

Is that not what it means to know me?”

declares the Lord.

17“But your eyes and your heart

are set only on dishonest gain,

on shedding innocent blood

and on oppression and extortion.”

18Therefore this is what the Lord says about Jehoiakim son of Josiah king of Judah:

“They will not mourn for him:

‘Alas, my brother! Alas, my sister!’

They will not mourn for him:

‘Alas, my master! Alas, his splendor!’

19He will have the burial of a donkey—

dragged away and thrown

outside the gates of Jerusalem.”

20“Go up to Lebanon and cry out,

let your voice be heard in Bashan,

cry out from Abarim,

for all your allies are crushed.

21I warned you when you felt secure,

but you said, ‘I will not listen!’

This has been your way from your youth;

you have not obeyed me.

22The wind will drive all your shepherds away,

and your allies will go into exile.

Then you will be ashamed and disgraced

because of all your wickedness.

23You who live in ‘Lebanon,22:23 That is, the palace in Jerusalem (see 1 Kings 7:2)

who are nestled in cedar buildings,

how you will groan when pangs come upon you,

pain like that of a woman in labor!

24“As surely as I live,” declares the Lord, “even if you, Jehoiachin22:24 Hebrew Koniah, a variant of Jehoiachin; also in verse 28 son of Jehoiakim king of Judah, were a signet ring on my right hand, I would still pull you off. 25I will deliver you into the hands of those who want to kill you, those you fear—Nebuchadnezzar king of Babylon and the Babylonians.22:25 Or Chaldeans 26I will hurl you and the mother who gave you birth into another country, where neither of you was born, and there you both will die. 27You will never come back to the land you long to return to.”

28Is this man Jehoiachin a despised, broken pot,

an object no one wants?

Why will he and his children be hurled out,

cast into a land they do not know?

29O land, land, land,

hear the word of the Lord!

30This is what the Lord says:

“Record this man as if childless,

a man who will not prosper in his lifetime,

for none of his offspring will prosper,

none will sit on the throne of David

or rule anymore in Judah.”